bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ephesians 5
Ephesians 5
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 6 →
1
Kale nga bwe muli abaana ba Katonda, mugezengako okumufaanana,
2
era mwagalanenga, nga Kristo bwe yatwagala, ne yeewaayo eri Katonda ku lwaffe, okuba ekirabo era ekitambiro ekiwunya obulungi.
3
Muli bantu ba Katonda, n'olwekyo obwenzi n'obugwagwa bwonna, n'okwegomba okubi tebisaana na kwogerebwa mu mmwe.
4
Era temusaanira kwogera bya nsonyi, wadde eby'obusiru oba okubalaata, wabula mwebazenga Katonda.
5
Mumanyire ddala kino nti omwenzi, wadde akola eby'ensonyi oba alulunkanira eby'ensi, n'abifuula Katonda we, talina mugabo mu Bwakabaka bwa Kristo ne Katonda.
6
Walemenga kubaawo ababuzaabuza n'ebigambo ebitaliimu, kubanga olw'ebikolwa ebyo, obusungu bwa Katonda bukola ku bantu abajeemu
7
N'olwekyo temwegattanga nabo.
8
Edda mwali ba kizikiza, naye kaakano nga bwe muli aba Mukama, muli ba kitangaala. Kale mutambulenga ng'abantu ab'ekitangaala,
9
kubanga mu kitangaala mwe muva obulungi bwonna obutuufu n'amazima.
10
Mufubenga okumanya ekisanyusa Mukama.
11
Temwegattanga n'abo abakolera mu kizikiza ebyo ebitalina mugaso, wabula mubyatuukirizenga bwatuukiriza,
12
kubanga kya nsonyi n'okubyogerako ebyo bye bakola mu kyama.
13
Byonna bwe bimala okwatuukirizibwa mu kitangaala, birabikira ddala nga bwe biri,
14
kubanga ekyo ekiragibwa, kirabibwa. Kyebava bagamba nti: “Zuukuka ggwe eyeebase, ozuukire, Kristo akwakire.”
15
Kale mubenga beegendereza mu bulamu bwammwe, muleme kuba ng'abatalina magezi, wabula mube ba magezi.
16
Muleme kwonoona biseera, kubanga ennaku zino mbi.
17
N'olwekyo temuba balagajjavu, wabula mutegeere Mukama ky'ayagala.
18
Era muleme kutamiira mwenge, kubanga mujja kweyonoona, wabula mujjuzibwe Mwoyo Mutuukirivu.
19
Munyumizaganyenga mu Zabbuli, ne mu nnyimba, ne mu biyiiye Mwoyo by'abasobozesa okuyiiya. Muyimbire Mukama, nga musaakaanya amaloboozi n'omutima gwammwe gwonna.
20
Bulijjo mwebazenga Katonda Kitaffe olwa byonna, nga muyita mu Mukama waffe Yesu Kristo.
21
Muwuliraganenga olw'okussaamu Kristo ekitiibwa.
22
Abakazi muwulirenga babbammwe, nga bwe muwulira Mukama,
23
kubanga omusajja gwe mutwe gw'omukazi, nga Kristo bw'ali omutwe gw'ekibiina ky'abamukkiriza, gwe mubiri gwe, era ye yennyini ye mulokozi waagwo.
24
Nga ekibiina ky'abakkiriza Kristo bwe kiwulira Kristo, n'abakazi bwe batyo bwe basaana okuwulira babbaabwe mu byonna.
25
Mmwe abasajja mwagalenga bakazi bammwe, nga Kristo bwe yayagala ekibiina ky'abamukkiriza, ne yeewaayo ku lwakyo,
26
akitukuze, ng'akinaaza n'amazzi n'ekigambo,
27
alyoke yeefunire ekibiina ky'abamukkiriza ekyekitiibwa, nga tekiriiko bbala na kamogo, wadde ekintu ekirala ekiri ng'ebyo.
28
N'abasajja bwe batyo bwe basaana okwagala bakazi baabwe, nga bwe baagala emibiri gyabwe gyennyini.
29
Tewali n'omu yali akyaye omubiri gwe, wabula aguliisa, agujjanjaba, nga Kristo bw'ajjanjaba ekibiina ky'abamukkiriza,
30
kubanga tuli bitundu bya mubiri gwe.
31
N'ekyawandiikibwa kigamba nti: “Omusajja kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina, n'anywerera ku mukazi we, bombi ne baba omuntu omu.”
32
Ekyama kino kikulu, era nze ŋŋamba nti kyogera ku Kristo n'ekibiina ky'abamukkiriza.
33
Naye era nammwe, buli musajja ayagalenga mukazi we, nga bwe yeeyagala yennyini, era n'omukazi assengamu bba ekitiibwa.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6