bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
James 1
James 1
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 2 →
1
Nze Yakobo omuweereza wa Katonda era owa Mukama waffe Yesu Kristo, mbalamusa mmwe ab'ebika ekkumi n'ebibiri ebisaasaanye wonna.
2
Abooluganda, bwe mutuukibwangako ebizibu ebya buli ngeri, musanyukenga,
3
nga mumanyi nti okukkiriza kwammwe bwe kugezebwa, kibaviiramu okugumiikiriza.
4
Okugumiikiriza bwe kunywerera ddala mu mmwe, mufuuka bantu abatuukiriridde ddala era abatalina kibabulako.
5
Oba nga mu mmwe waliwo abuliddwa amagezi, asabe Katonda agabira bonna n'ekisa awatali kukodowala, galimuweebwa.
6
Kyokka asabe ng'alina okukkiriza, nga tabuusabuusa n'akatono. Abuusabuusa, afaanaanyirizibwa n'ejjengo ly'ennyanja, empewo ly'etwala n'erizza eno n'eri.
7
Omuntu ow'engeri eyo aleme kulowooza ng'aliko ky'alifuna okuva eri Mukama,
8
kubanga wa myoyo ebiri, buli gy'adda tanywererayo.
9
Owooluganda atali wa kitiibwa, asaanidde asanyuke nga Katonda amugulumizza.
10
N'omugagga naye asaanidde asanyuke nga Katonda amutoowazizza, kubanga omugagga aliggwaawo ng'ekimuli ky'omuddo.
11
Enjuba bw'eyaka n'ebbugumu lyayo eringi, ekaza omuddo, ekimuli kyagwo ne kigwa, n'obulungi bw'endabika yaakyo ne buggwaawo. N'omugagga bw'atyo bw'alikala, ng'ali mu ebyo bye yettanira.
12
Omuntu agumiikiriza mu kugezebwa yeesiimye, kubanga bw'alimala okuwangula, aliweebwa engule ey'obulamu, Katonda gye yasuubiza abamwagala.
13
Omuntu bw'akemebwanga, tagambanga nti: “Katonda ye ankema.” Katonda takemebwa kibi, era ye yennyini takema muntu n'omu.
14
Wabula buli akemebwa, asikirizibwa era asendebwasendebwa kwegomba kwe.
15
Okwegomba okwo ne kulyoka kuba olubuto, ne kuzaala ekibi, ate ekibi ekyo bwe kimala okukula, ne kizaala okufa.
16
Kale nno baganda bange abaagalwa, temulimbibwalimbibwanga.
17
Buli kirabo ekirungi, na buli kitone ekituukiridde, kiva mu ggulu, ne kikka okuva eri Katonda Kitaffe eyatonda ebyakira ku ggulu, atayinza kuba na kufuukafuuka, wadde okulimbalimba.
18
Yateesa ku bubwe, n'atuzaala n'ekigambo eky'amazima, tulyoke tubeere n'ekifo ekisooka mu bitonde bye.
19
Baganda bange abaagalwa, mumanye kino nti buli muntu abeerenga mwangu okuwulira, kyokka alemenga kubuguutanira kwogera, era alemenga kusunguwala mangu,
20
kubanga obusungu bw'omuntu tebukola ebyo Katonda by'ayagala.
21
Kale mulekenga emize gyonna n'empisa embi. Mukkirize n'obuwombeefu ekigambo kya Katonda ekyasigibwa mu mmwe, ekiyinza okulokola obulamu bwammwe.
22
Ekigambo ekyo mukikolerengako, mulemenga kwerimba, nga mukoma ku kukiwulira buwulizi.
23
Awulira obuwulizi ekigambo n'atakikolerako, afaanaanyirizibwa n'omuntu eyeeraba mu ndabirwamu.
24
Yeeraba n'agenda, ate amangwago ne yeerabira bw'afaananye.
25
Kyokka eyeetegereza amateeka amatuufu agatufuula ab'eddembe, n'aganywererako, atali awulira obuwulizi ne yeerabira, wabula omukozi atuukiriza bye galagira, oyo anaaweebwanga omukisa mu by'akola.
26
Buli eyeerowooza nga wa ddiini, kyokka n'atafuga lulimi lwe, oyo yeerimba bwerimbi, eddiini ye teriiko ky'egasa.
27
Eddiini entuufu era eteriiko kamogo mu maaso ga Katonda Kitaffe, ye eno: okulabiriranga bamulekwa ne bannamwandu mu bunaku bwabwe, n'okwekuumanga ensi ereme kutwonoona.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5