bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
James 4
James 4
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 5 →
1
Entalo n'ennyombo mu mmwe ziva ku ki? Teziva ku kwegomba kwammwe okulwanira mu mibiri gyammwe?
2
Mwagala ebintu naye nga temubirina. Mutta abantu, era mwegomba ebintu, sso nga temusobola kubifuna. Muyomba, era ne mulwana. Bye mwetaaga temubifuna, kubanga temubisaba Katonda.
3
Bwe musaba temufuna kubanga musaba na mutima mubi: musaba bya kwesanyusa bwesanyusa.
4
Mmwe abantu abatali beesigwa, temumanyi nti okukwana ensi buba bulabe eri Katonda? Buli ayagala okuba mukwano gw'ensi, yeefuula mulabe wa Katonda.
5
Oba mulowooza nti ekyawandiikibwa nti: “Katonda abubira nnyo omwoyo gwe yateeka mu ffe,” tekirina kye kitegeeza?
6
Naye ekisa Katonda ky'akwatirwa abantu, kye kisinga amaanyi. Ekyawandiikibwa kigamba nti: “Katonda alwanyisa abeekulumbaza, kyokka abeetoowaza abakwatirwa ekisa.”
7
Kale mube bawulize eri Katonda. Mulwanyise Sitaani, Sitaani anaabadduka.
8
Musemberere Katonda, naye anaabasemberera. Munaabe engalo mmwe aboonoonyi, mutukuze emitima mmwe abakuusa.
9
Munakuwale, mukube ebiwoobe, mukaabe amaziga, okuseka kwammwe kufuuke ebiwoobe, n'essanyu lyammwe lifuuke okunakuwala.
10
Mwetoowaze mu maaso ga Mukama, ye alibagulumiza.
11
Baganda bange, temwogeraganangako bubi. Ayogera obubi ku muntu munne, oba amusalira omusango, aba ayogedde bubi ku Mateeka, era ng'agasalidde omusango. Bw'osalira Amateeka omusango, oba tokwata Mateeka ago, wabula oba ogasalira musango.
12
Eyateeka amateeka era omusazi w'omusango ali omu, era ye ayinza okulokola era n'okuzikiriza. Naye ggwe asalira munno omusango, ggwe ani?
13
Kati nno mmwe abagamba nti: “Olwaleero oba jjo tunaagenda mu kibuga gundi, tumaleyo omwaka gumu nga tusuubula, tufune amagoba”,
14
naye nga temumanyi biribaawo jjo, mumanyi wadde obulamu bwammwe nga bwe buli? Muli ng'olufu olulabika akaseera akatono ne luggwaawo.
15
Mwandigambye nti: “Mukama bw'anaayagala, tunaaba balamu, era tunaakola kino oba kiri.”
16
Naye kaakano mwekulumbaza, ne mwenyumiriza. Okwenyumiriza okw'engeri eyo kwonna kubi.
17
N'olwekyo amanya ekirungi kye yandikoze n'atakikola, aba akoze kibi.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5