bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
James 2
James 2
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 3 →
1
Baganda bange, mmwe abakkiriza Mukama waffe Yesu Kristo oweekitiibwa, temusosolanga mu bantu.
2
Omuntu ayambadde engoye ennungi, n'empeta eya zaabu, bw'ayingira mu kkuŋŋaaniro lyammwe, n'omwavu ayambadde enziina naye n'ayingira,
3
ne mwaniriza ayambadde engoye ennungi, ne mumugamba nti: “Ggwe tuula wano awalungi”, ate ne mugamba omwavu nti: “Ggwe yimirira eri”, oba nti: “Tuula wansi, we nteeka ebigere byange”,
4
muba temwefudde balamuzi abalina endowooza embi?
5
Muwulire baganda bange abaagalwa! Abaavu mu nsi, Katonda si be yalonda okuba abagagga mu kukkiriza, n'okufuna Obwakabaka bwe yasuubiza abamwagala?
6
Naye mmwe munyooma omwavu. Abagagga si be babanyigiriza mmwe, ne babasikaasikanya okubatwala mu mbuga z'amateeka?
7
Si be bo abavvoola erinnya eddungi lye muyitibwa?
8
Naye bwe mutuukiriza etteeka erisingira ddala amateeka gonna, nga bwe kyawandiikibwa nti: “Yagalanga muntu munno nga bwe weeyagala ggwe wennyini,” muba mukoze bulungi.
9
Naye bwe musosola mu bantu, muba mukoze bubi, era etteeka libasingisa omusango ogw'abamenyi b'amateeka.
10
Buli akwata amateeka gonna, kyokka n'asobya mu limu, aba n'omusango ogw'okumenya amateeka gonna,
11
kubanga eyagamba nti: “Toyendanga”, era ye yagamba nti: “Tottanga muntu”. Kale bw'otoyenda, naye n'otta omuntu, oba mumenyi wa mateeka.
12
N'olwekyo mwogerenga era mukolenga ng'ab'okusalirwa omusango, ng'amateeka agatufuula ab'eddembe bwe gali.
13
Atalina kisa, alisalirwa omusango eri Katonda awatali kisa. Naye ekisa kiwonya omuntu okusingibwa omusango.
14
Baganda bange, kigasa ki omuntu bw'agamba nti alina okukkiriza, sso nga talina bikolwa birungi? Okukkiriza okwo kuyinza okumulokola?
15
Bwe wabaawo owooluganda omusajja oba omukazi atalina ky'ayambala, era atalina kyakulya kimumala buli lunaku,
16
omu ku mmwe n'amugamba nti: “Genda mirembe, obugume era okkute,” kyokka nga tamuwadde bye yeetaaga, ekyo kigasa ki?
17
N'okukkiriza bwe kutyo: bwe kuba kwokka, nga tekuliiko bikolwa birungi, kuba kufu.
18
Naye oli ayinza okugamba nti: “Ggwe olina okukkiriza, nze nnina ebikolwa ebirungi.” Ndaga omuntu bw'aba n'okukkiriza, nga talina bikolwa birungi, nange nkulage okukkiriza kwange, nga nsinziira ku bikolwa byange ebirungi.
19
Okkiriza nga Katonda ali omu? Kirungi. Naye n'emyoyo emibi gikikkiriza, era ne gikankana olw'okutya.
20
Musirusiru ggwe, oyagala okumanya nti okukkiriza okutalina bikolwa birungi tekuliiko kye kugasa?
21
Jjajjaffe Aburahamu, teyasiimibwa Katonda lwa bikolwa bye, bwe yawaayo omwana we Yisaaka ku kyoto okumwokya?
22
Olaba nti okukkiriza kwe, kwagendera wamu n'ebikolwa bye, okukkiriza ne kutuukirira olw'ebikolwa.
23
Olwo ekyawandiikibwa ne kituukirira ekigamba nti: “Aburahamu yakkiriza Katonda, era olw'okukkiriza kwe, Katonda n'amukakasa okuba omutuukirivu, era n'amuyita mukwano gwe.”
24
Mulaba nti omuntu asiimibwa Katonda lwa bikolwa birungi by'akola, sso si lwa kukkiriza kwokka.
25
Ne ku Rahabu malaaya si bwe kyali? Teyasiimibwa Katonda lwa bikolwa bye ebirungi, kubanga yayaniriza ababaka, n'abayamba okudduka ng'abayisa mu kkubo eddala?
26
Kale nno ng'omubiri ogutaliimu mwoyo bwe guba omufu, n'okukkiriza bwe kutyo: bwe kutabaamu bikolwa birungi, kuba kufu.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5