bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
James 5
James 5
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
1
Kaakano ate mmwe abagagga, mukaabe era mulire olw'obuyinike obujja okubajjira.
2
Obugagga bwammwe buvunze, n'ebyambalo byammwe biriiriddwa ennyenje.
3
Zaabu wammwe ne ffeeza bitalazze, era obutalagge obwo bwe bulibalumiriza, ne bulya emibiri gyammwe, ng'omuliro bwe gulya. Mukuŋŋaanyizza obugagga, ng'enkomerero y'ensi eri kumpi okutuuka.
4
Empeera y'abakozi abaakola mu nnimiro zammwe, gye mwalyazaamaanya, yiino ereekaana, era omulanga gw'abo abaakola, gutuuse mu matu ga Mukama Omuyinzawaabyonna.
5
Mwesanyusizza ku nsi, ne muwoomerwa ebinyumu. Mugejjedde olunaku olw'okuttibwa.
6
Mwasala omusango okusinga oyo atagulina, ne mumutta nga tabalwanyisa.
7
Kale nno baganda bange, mugumiikirizenga okutuusa Mukama lw'alijja. N'omulimi bw'atyo bw'akola: alindirira ennimiro ye okumubalira ebibala eby'omugaso, ng'agumiikiriza okutuusa lw'alifuna enkuba esooka era n'eyo ejja oluvannyuma.
8
Nammwe mugumiikirizenga, mugume emitima, kubanga Mukama ali kumpi okujja.
9
Baganda bange, temwemulugunyizagananga, muleme okusalirwa omusango. Omulamuzi ali awo kumpi.
10
Baganda bange, mulabire ku balanzi abaayogeranga mu linnya lya Mukama, abaabonaabona, ne bagumiikiriza.
11
Abo abaagumiikiriza, tubayita ba mukisa. Mwawulira Yobu bwe yagumiikiriza, era mumanyi Mukama kye yamukolera oluvannyuma, kubanga Mukama wa kisa era musaasizi.
12
Naye baganda bange, okusingira ddala, temulayiranga newaakubadde eggulu oba ensi, wadde ekintu ekirala kyonna, naye mugambenga nti: “Weewaawo”, nga mutegeeza nti weewaawo; oba nti “Nedda”, nga mutegeeza nti nedda, muleme kuzza musango.
13
Waliwo mu mmwe ali mu buyinike? Kale yeegayirire Katonda. Waliwo asanyuka? Kale ayimbe eby'okutendereza Katonda.
14
Mu mmwe waliwo alwadde? Kale ayite abakulu b'ekibiina ky'abakkiriza Kristo, bamusabire nga bwe bamusiiga n'omuzigo mu linnya lya Mukama.
15
Okusaba okwo okujjudde okukkiriza, kuliwonya omulwadde oyo, Mukama n'amussuusa; era oba nga yakola ebibi, birimusonyiyibwa.
16
Kale nno mwatuliraganenga ebibi byammwe era musabiraganenga, mulyoke muwone. Okusaba kw'omutuukirivu kwa maanyi era kukola.
17
Eliya yali muntu nga ffe. Yasaba nnyo Katonda, enkuba ereme kutonnya ku nsi, era n'etetonnya okumala emyaka esatu n'emyezi mukaaga.
18
N'asaba nate, eggulu ne litonnyesa enkuba, ettaka ne lyeza ebibala.
19
Baganda bange, omu ku mmwe bw'awabanga n'ava ku mazima, omulala n'amukomyawo,
20
amanye nti oyo akomyawo omwonoonyi n'amuggya gy'awabidde, aliwonya omwoyo gwe okufa, era alisonyiyisa ebibi bingi.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
All chapters:
1
2
3
4
5