bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
James 3
James 3
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 4 →
1
Baganda bange, bangi mu mmwe muleme kuba bayigiriza, kubanga mumanyi nti ffe abayigiriza tulisalirwa omusango n'obukambwe okusinga abalala.
2
Ffenna emirundi mingi tusobya. Naye oba nga waliwo omuntu atasobya mu by'ayogera, oyo aba atuukiridde, era asobola okufuga omubiri gwe gwonna.
3
Tuteeka ebyuma mu kamwa k'embalaasi, ziryoke zituwulire, ne tuzitwala gye twagala.
4
N'amaato nago, newaakubadde manene, enkasi entono ennyo ye egagoba ne gagenda yonna yonna omugoba gy'aba ayagala.
5
N'olulimi nalwo bwe lutyo: newaakubadde katundu katono ak'omubiri, naye luyinza okwenyumiririza mu bingi. Lowooza ku kibira ekinene bwe kiyinza okwokebwa akaliro akatono.
6
N'olulimi muliro. Lujjudde obubi. Kitundu kya mubiri gwaffe, naye lwonoona omubiri gwonna. Luteekera ebitonde byonna omuliro, nga luguggya mu muliro ogutazikira.
7
Ebika by'ensolo n'eby'ennyonyi, n'eby'ebyewalula, n'eby'ebiramu eby'omu nnyanja, bifugika, era byafugibwa dda abantu.
8
Naye olulimi tewali muntu ayinza kulufuga. Olulimi kye kintu ekibi, ekitafugika, ekijjudde obutwa kattira.
9
Lwe tutenderezesa Mukama era Kitaffe, era lwe tukolimiza abantu, abaatondebwa mu kifaananyi kya Katonda.
10
Mu kamwa ke kamu, mwe muva okutendereza era n'okukolima. Baganda bange, ekyo tekigwanira kuba bwe kityo.
11
Ensulo y'amazzi emu eyinza okuvaamu amazzi agawooma n'agakaawa?
12
Baganda bange, omutiini guyinza okubala emizayiti, oba omuzabbibu okubala emitiini? Era bwe kityo n'amazzi ag'omunnyo tegayinza kuvaamu malungi.
13
Mu mmwe mulimu alina amagezi n'okutegeera? Kale abiragirenga mu mpisa ze ennungi, mu bikolwa bye ebirungi by'akola n'obwetoowaze era n'amagezi.
14
Naye mu mitima gyammwe bwe muba n'obuggya obw'akabi era n'okwefaako mwekka, mulemenga kwewaana n'okulimba nga muwakanya amazima.
15
Amagezi ag'engeri eyo tegava mu ggulu, wabula ga ku nsi, ga bantu buntu, era ga Sitaani.
16
Awaba obuggya n'abantu okwefaako bokka, wabaawo kutabuka era n'ebikolwa ebibi ebya buli ngeri.
17
Naye amagezi agava mu ggulu, okusookera ddala malongoofu, ate ga mirembe, mawombeefu, gawuliriza ensonga, gajjudde ekisa era n'ebikolwa ebirungi; meesimbu, tegaliimu bukuusa.
18
Obwenkanya kye kibala ekiva mu nsigo abaleesi b'emirembe gye basiga, nga bakolerera emirembe.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5