bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Lamentations 1
Lamentations 1
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 2 →
1
Ekibuga ekyali kikubyeko abantu, nga kirekeddwawo awo ttayo! Ekyali Nnaabakyala mu mawanga, kifuuse nga nnamwandu! Ekyali ekimbejja mu bibuga, kati kye kiwa omusolo!
2
Mu kiro, kikaaba amaziga, ne gakibuna amatama! Mu baganzi baakyo ab'edda tewali akikubagiza. Abeetabanga nakyo, bakiriddemu olukwe kaakati balabe baakyo!
3
Ab'omu Buyudaaya batwaliddwa mu busibe. Bafuuliddwa abaddu, tebakyalina waabwe. Beetooloddwa abalabe, awatali buddukiro.
4
Enguudo ezituuka mu Siyooni kaakano zikungubaga: abaziyitamu tewali okwambuka okusinza Katonda. Emiryango gyakyo myereere. Abawala abaakiyimbirangamu, kati bakulukusa maziga. Bakabona bali mu kusinda!
5
Abalabe baakyo bawangudde, kiri mu mikono gyabwe, kubanga Mukama akibonerezza olw'ebibi byakyo ebingi. Abaana baakyo bawambiddwa, ne batwalibwa omulabe.
6
Ekyali ekitiibwa kya Siyooni, kati kifumwa bufumwa. Abakungu baakyo bali ng'ennangaazi ezitakyalina muddo, era eziweddemu amaanyi nga zigobebwa abayizzi.
7
Yerusaalemu ajjuukirira mu nnaku ye ne mu buyinike bwe obungi ekitiibwa kye eky'edda. Bwe yalumbibwa abalabe ne wataba bamudduukirira, abalabe be beesekera, ne bamukudaalira ng'agudde.
8
Yerusaalemu yayonoona nnyo, afuuse atali mulongoofu. Abaamussangamu ekitiibwa, bonna bamunyoomoola nga balaba ali bwereere. Naye yennyini alinda, ne yeebwalabwala ng'aswadde.
9
Obwonoonefu bwe bwalabika, kyokka n'atafaayonako ku kabi akaliddirira. Ekyo ne kimusuula wala, nga takyakubagizika. Abalabe bamuwangudde, olwo kwe kuwanjagako nti: “Zinsanze! Ayi Mukama nnyamba!”
10
Abalabe beenyagidde ebyobugagga bye byonna. Alabye nga bayimiridde mu Ssinzizo lyennyini, Mukama lye yagaanamu bannamawanga.
11
Abantu be bonna basinda nga banoonya ebyokulya. Bawaayo obugagga bwabwe, bafuneyo akamere kwe banaakuumira obulamu. Ekibuga kikaaba nti: “Ayi Mukama, tunulako gye ndi! Laba sikyaliko bwe ndi!”
12
Era ne kigamba nti: “Abange, temufaayo mmwe, abayitawo mwenna? Eriyo alina obulumi obwenkana buno obwange, Mukama bwe yantuusaako, ng'ansunguwalidde?
13
“Yaweereza omuliro okuva waggulu n'agusindika mu magumba gange. Yantega ekitimba n'ankuba wansi, n'anjabulira nga ndi mu bulumi!
14
“Yekkaanya ebibi byange byonna, n'abisiba ng'ekikoligo n'akinsiba mu bulago. Obuzito bwakyo bummazeemu amaanyi. Mukama yampaayo mu balabe, be siyinza kulwanyisa n'akatono.
15
“Mukama asekeredde abaserikale be nnina abasingira ddala amaanyi. Ansindikidde eggye okuzikiriza abavubuka bange. Asambiridde abantu bange, ng'emizabbibu mu ssogolero.
16
“Kyenva nkaaba olw'ebyo ne nkulukusa amaziga. Tewali ayinza kunkubagiza, wadde anzizaamu amaanyi. Abalabe bampangudde, abantu bange basigalidde awo.
17
“Nkanda kuwanika mikono, naye tewali ampa buyambi. Mukama alagidde baliraanwa bange bafuuke abalabe bange. Bambalira mu batali balongoofu.
18
“Naye Mukama mwenkanya, kubanga nze najeemera ebiragiro bye. Muwulire mmwe amawanga gonna, mutunuulire obuyinike bwange. Batabani bange ne bawala bange batwaliddwa nga basibe.
19
“Nayita mikwano gyange naye ne batannyamba. Bakabona n'abakulembeze bange baafiira mu nguudo z'ekibuga, nga bagenda beenoonyeza akamere kwe banaakuumira obulamu.
20
“Laba, ayi Mukama, obuyinike bwange, era nneeraliikirira nnyo. Omutima gwange gumenyese, nga nneenenya olw'ebibi byange. Obutemu bwe buli mu nguudo, n'okufa kwe kuli mu nnyumba.
21
“Bawulidde bwe nsinda ne wataba ankubagiza. Abalabe bange basanyuse olw'akabi k'ontuusizzaako. Tuusa olunaku lwe walangirira, nabo baboneebone nga nze.
22
“Basingise omusango olw'ebibi byabwe, obabonereze nga bw'obonerezza nze olw'ebibi byange. Nsinda olw'obuyinike, omutima gunnyongobedde.”
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5