bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Lamentations 4
Lamentations 4
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 5 →
1
Zaabu waffe ng'afumye! Zaabu omulungi afuuse! Amayinja ag'Essinzizo gasaasaanyiziddwa mu nguudo.
2
Abavubuka b'omu Siyooni abaali ab'omuwendo nga zaabu bayisibwa nga ebisuwa eby'ebbumba.
3
Era n'emisege giyonsa abaana baagyo, naye abantu bange bali nga mmaaya akambuwalira abaana be.
4
Baleka abaana baabwe abawere okufa enjala n'ennyonta. Abaana abato basaba emmere, ne watabaawo agibawa.
5
Abantu abaalyanga emmere esingira ddala obulungi, bafiira enjala mu nguudo. Abaakuzibwa mu kwejalabya, kati beenoonyeza kye banaalya mu ntuumu z'ebisaaniiko!
6
Abantu bange babonerezeddwa n'okusinga abantu b'e Sodoma, Mukama kye yasaanyaawo mu kaseera akatono.
7
Abakungu baffe baali batukula okusinga omuzira, nga beeru okusinga amata. Emibiri gyabwe gyali mimyufu okusinga amayinja amatwakaavu; era baali banyirivu nga kinya ekyakeeyubula.
8
Kati bagubye ku maaso okusinga n'ebisiriiza. Tewakyaliwo abamanya gye bagudde mu nguudo! Olususu lwabwe lwerangidde ku magumba, lukaze ng'oluku.
9
Abattirwa mu lutalo abo kalekaleko okusinga bano abakalambadde enjala, abatondose empolampola olw'okubulwa kye balya.
10
Akabi akatuuse ku bantu bange nga katiisa! Abakazi abazadde abajjudde okwagala okungi, bafumbye abaana baabwe ne babalya!
11
Mukama asumuludde obusungu bwe obukambwe n'akoleeza omuliro ku Siyooni, ne gukyokya okuggwaawo!
12
Teri n'omu yakkiriza wadde abafuzi mu mawanga, nti omulabe yandiyinzizza okuwaguza n'ayingira mu miryango gya Yerusaalemu!
13
Naye ekyo kyasoboka olw'ebibi by'abalanzi ne bakabona baamu, abattiramu abantu abatalina musango.
14
Baabungeetera mu nguudo zaakyo nga bali nga bamuzibe, nga tebayinza kukwatikako, kubanga boonoonese olw'omusaayi.
15
Abantu ne babeegobako nti: “Muveewo, temutusemberera! Temutukoonanako, temuli balongoofu.” Ne babungeetera mu mawanga nga teri babaaniriza.
16
Mukama takyabaliko: yennyini yabasaasaanya. Bakabona n'abakulembeze tebakyassibwamu kitiibwa.
17
Twakanda kutunula ne tukoowa nga tulinda obuyambi obutajja. Twalindirira obuyambi bw'eggwanga eritayinza kutuwonya.
18
Omulabe yali atukuuma butiribiri nga tetuyinza kutambula mu nguudo zaffe. Obwaffe bwali bukomye, ng'enkomerero yaffe etuuse.
19
Abatuyigganya baasinga empungu mu kuwenyuka amangu; baatusimbako emisinde mu nsozi, era baatuteegera mu ddungu!
20
Baakwasa mu bunnya bwabwe kabaka waffe era obulamu bwaffe, omusiige wa Mukama: oyo gwe twali twesiga okututaasa mu mawanga.
21
Musanyuke mujaguze mmwe Abeedomu n'ab'e Wuuzi! Naye akabi kalibajjira nammwe! Mulitagatta, mweyambule, muswale!
22
Siyooni asasudde olw'ebibi bye, Mukama talituleka mu busibe. Naye mmwe Abeedomu Mukama alibabonereza! Alibikkula ebibi byammwe!
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5