bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Lamentations 3
Lamentations 3
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 4 →
1
Ndi muntu eyabonaabona olw'okubonerezebwa Mukama.
2
Yantambuliza mu kizikiza, omutali katangaala.
3
Tata kumbonereza olunaku lwonna.
4
Ankaddiyizza omubiri n'olususu, ammenyeemenye amagumba.
5
Ansibidde mu kkomera, omuli obuyinike n'obulumi.
6
Antadde mu kizikiza ng'abo abaafa edda.
7
Antaddeko olukomera sirina bwe ntoloka. Ansibye ku lujegere olunene.
8
Ne bwe neekubira ku nduulu okumusaba annyambe, bye nsaba abiziimuula.
9
Akomedde amakubo gange ng'agazimbamu ebisenge eby'amayinja amaase.
10
Anfuukidde eddubu eteega, anfubutukidde ng'empologoma.
11
Angobye n'ankwatira ku mabbali g'ekkubo. Antaaguddetaagudde n'andeka awo!
12
Anaanudde omutego gwe n'andeegamu akasaale ke.
13
Afumise obusaale bwe mu mubiri gwange.
14
Abantu bonna bansekerera, era bannyimba olunaku lwonna.
15
Anzikusizza obubalagaze, annyiyizza ebikaawa.
16
Ammekesezza oluyinjayinja, anjiye evvu mu maaso.
17
Mbuliddwako emirembe, neerabidde essanyu bwe lifaanana.
18
Awo ne ŋŋamba nti: “Nzigweddemu amaanyi, n'essuubi mu Mukama libuze!
19
“Okulowooza ku bulumi ne ku kubungeeta, binkaayirira ng'omususa.
20
Era mbirowoozaako lunye ne sirema kwennyamira.
21
Naye ate nziramu essuubi, bwe nzijukira kino nti
22
olw'okusaasirwa Mukama tetusaanyizibwawo, kubanga ekisa kye tekiggwaawo.
23
Kibeera kiggya buli nkya. Kigumu nnyo kyesigika.
24
Mukama bwe bugagga bwange Kyenva nsuubira mu ye.
25
“Mukama mulungi eri buli amwesiga.
26
Kirungi omuntu agumiikirizenga asuubire era alindirire Mukama okumulokola.
27
Era kirungi omuntu okuva obuto ng'ayize obugumiikiriza.
28
“Omuntu ng'abonaabona kirungi atuuleko yekka asirike,
29
agonde yeetoowaze, wandiba nga wakyaliwo essuubi.
30
Ne bw'avumwa n'akubibwa, abigumira byonna.
31
“Mukama ajjudde ekisa tatusuulirira lubeerera.
32
Newaakubadde atuleetera okunakuwala naye atukwatirwa ekisa, kubanga okwagala kwe kungi.
33
Ky'agenderera si kulumya na kubonyaabonya bantu.
34
“Okulinnyirira abasibe mu makomera gonna,
35
abantu okummibwa ebyabwe ebyabaweebwa Omutonzi,
36
n'okusaliriza mu misango, ebyo Mukama tabisiima.
37
“Ani aliko ky'atuukiriza Mukama nga takkirizza?
38
Ka kibe kirungi oba kibi, Lugaba amala kukkiriza.
39
Omuntu akyali omulamu, yeemulugunyiza ki bw'abonerezebwa olw'ebibi bye?
40
“Twekebere tulabe empisa zaffe, tukyuke tudde eri Mukama.
41
Tuyimuse emitima n'emikono gyaffe eri Katonda mu ggulu tugambe nti:
42
‘Tukoze ebibi era tujeemye, era ggwe totusonyiye.’
43
“Otusibidde obusungu n'otuyigganya, n'otutta nga tosaasira.
44
Weebisseeko ekire, okusaba kwaffe kuleme kukutuukako.
45
Otufudde ntuumu ya busa na bisasiro mu bantu bonna ku nsi.
46
“Tunyoomebwa ne tuvumibwa abalabe baffe bonna.
47
Entiisa n'okunyagibwa bitutuuseeko tuli mu kabi ka kuzikirira.
48
Amaaso gange gakulukusa emigga gy'amaziga olw'okuzikirizibwa kw'abantu bange.
49
“Amaziga gange ganaakulukuta mu ngezi etakalira,
50
okutuusa Mukama mu ggulu lw'anaatunulako wansi n'atulaba.
51
Omutima gwange gwennyamira olw'ebyo ebituuse ku bantu ab'omu kibuga kyaffe.
52
“Abalabe bange banjizze ng'abayigga ekinyonyi, awatali kye bannanga.
53
Bankutte ndi mulamu, ne bansuula mu bunnya, ne basaanikirako ejjinja.
54
Amazzi gaakulukuta, nga gayita ku mutwe gwange ne ŋŋamba nti: ‘Nfudde biwedde!’
55
“Nakukoowoola, ayi Mukama, nga nsinziira ku ntobo y'obunnya.
56
Nasaba owulire bwe nkaaba, era n'owulira.
57
Wanziramu n'oŋŋamba nti: ‘Totya!’
58
“Wanziruukirira, ayi Mukama, n'owonya obulamu bwange.
59
Nsalira omusango nsinge, olabye okujoogebwa kwange.
60
Olabye bwe bampalana, n'enkwe zonna ze bansalira.
61
“Owulidde bwe banvuma, ayi Mukama, n'enkwe zonna ze bansalira.
62
Banjogerako olunaku lwonna, ne banteesaako.
63
Laba, bannyimba nga banjeeyereza buli we babeera.
64
“Ayi Mukama, babonereze, olw'ebyo bye bakoze.
65
Bakolimire, obakakanyaze emitima.
66
Bayigganye, ayi Mukama, obasaanyeewo wansi w'eggulu lyo.”
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5