bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Lamentations 5
Lamentations 5
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
1
Jjukira ayi Mukama, ebitutuuseeko, tunuulira olabe okuswala kwaffe.
2
Ebintu byaffe bitwaliddwa bannamawanga, ennyumba zaffe zirimu bagwira.
3
Bakitaffe battiddwa omulabe, bannyaffe bannamwandu kati.
4
Amazzi tusasulira ge tunywa, era tugula n'enku.
5
Tusibibwa nga mbuzi mu bulago, tukoowa ne tutafuna kiwummulo.
6
Okufuna ke tulya obutafa, tukasaba Bamisiri era n'Abassiriya.
7
Bajjajjaffe abaayonoona tebakyaliwo, naye tubonaabona olw'ebibi byabwe.
8
Tufugibwa baddu, nga tewali wa kutununula mu buyinza bwabwe.
9
Okunoonya emmere tuwaayo bulamu bwaffe, kubanga abatemu babunye buli wantu.
10
Enjala etulwazizza omusujja, ne twokya ng'akabiga!
11
Baakwatira olw'empaka abakazi mu Siyooni, n'abawala mu byalo bya Buyudaaya.
12
Abakungu baffe batwalibwa okuttibwa. Abantu abakulu tebassibwamu kitiibwa.
13
Abavubuka babawaliriza okusa ku lubengo. Abalenzi abato batalantuka nga beetisse ebinywa by'enku.
14
Abantu abakulu tebakyatuula kuteeseza ku mulyango. N'abalenzi n'abawala tebakyayimba.
15
Essanyu mu bulamu bwaffe likomye, tukungubaga mu kifo ky'okuzina.
16
Tetukyalina kituweesa kitiibwa. Zitusanze, kubanga twayonoona.
17
Olw'ekyo twennyamidde mu mitima, amaaso gaffe gazzeeko ekifu,
18
kubanga Olusozi Siyooni lulekeddwa awo ttayo, ebibe bye bikumbirako.
19
Naye ggwe, ayi Mukama, oli kabaka ennaku zonna, era onoofuganga bulijjo.
20
Lwaki okutwerabira bw'otyo! Toliddayo kutujjukira?
21
Tukomyewo gy'oli, ayi Mukama, ozzeewo ebirungi byaffe eby'edda!
22
Oba otusuulidde ddala? Obusungu bwo tebukkakkaneko?
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
All chapters:
1
2
3
4
5