bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Lamentations 2
Lamentations 2
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 3 →
1
Mukama mu busungu bwe abisse ekire ku Siyooni. Obulungi bwa Yisirayeli obwawaggulu Mukama abusudde wansi. Ku lunaku olw'obusungu bwe, tafudde wadde ku Ssinzizo lye.
2
Mukama azikirizza awatali kisa ebyalo by'omu Buyudaaya byonna. Mu busungu bwe obungi, amenyeewo ebigo ebigumu ebikuuma ab'omu Buyudaaya. Aswazizza obwakabaka obwo n'abakungu baamu.
3
Amazeewo amaanyi ga Yisirayeli, ng'aliko ekiruyi. Yagaana okutukwatirako nga tuzindiddwa abalabe. Yatusunguwalira ng'omuliro ogwaka ennyo ne gwokya buli kimu.
4
Yatuleegamu obusaale bwe ng'omulabe. Bonna abaatusanyusanga yabatta. Wano mu Yerusaalemu tuwulidde obukambwe bw'obusungu bwe!
5
Mukama yeefudde ng'omulabe n'azikiriza Yisirayeli. Embiri n'ebigo ebigumu ebyo alese nga matongo. Atuusizza ku b'omu Buyudaaya obulumi obutalojjeka!
6
Amenyeewo Essinzizo mwe twamusinzizanga. Akomezza ennaku enkulu ne Sabbaato, asunguwalidde kabaka ne bakabona.
7
Mukama yesammudde alutaari ye era atamiddwa ekifo kye ekitukuvu. Abalabe abakkirizza okumenya ebisenge by'ennyumba zaamu. Bawangudde ne baleekaanira mwe twasinzizanga nga tusanyuka.
8
Mukama yamalirira okuzikiriza ebisenge bya Siyooni. Yapima nga bwe binaamenyebwa, n'atayimiriza ba kubizikiriza. Eminaala n'ebisenge bigudde wamu mu matongo.
9
Emiryango gyakyo gibulidde mu ttaka. Ebisiba byagyo bimenyeddwa. Kabaka waakyo n'abakungu be bali mu busibe. Amateeka tegakyayigirizibwa. Abalanzi baakyo Mukama takyaliko ky'abalaga.
10
Abantu abakulu mu Yerusaalemu batuula ku ttaka nga basirise, nga beesiize enfuufu ku mitwe era nga beesibye ebikutiya. Abawala abato bakoteka mitwe.
11
Amaaso gange galiko ekifu olw'okukaaba amaziga. Omutima gwange munakuwavu, olw'okuzikirira kw'abantu bange. Abaana abato n'abayonka bazirikira mu nguudo z'ekibuga.
12
Bakaabirira bannyaabwe nga balumwa enjala n'ennyonta. Bazirikira mu nguudo z'ekibuga ng'abafumitiddwa ebiwundu, olwo ne batondokera mu mikono gya bannyaabwe.
13
Leero ŋŋambe ntya, ggwe Yerusaalemu! Nnaakukubagiza ntya? Nkugeraageranye ku ani? Ani yali abonyeebonye nga ggwe? Obuyinike bwo tebukoma, buli nga nnyanja! Essuubi lyo linaava wa?
14
Abalanzi bo baakulimbalimbanga ne batakulaganga bibi byo. Ne bakulowoozesanga nti teweetaaga kwenenya.
15
Bonna abayitawo bakusunga. Banyeenya emitwe gyabwe ne basekerera Yerusaalemu nti: “Kino kye kibuga nno kye baayitanga ekirungi ennyo, ekitenderezebwa ensi yonna?”
16
Abalabe bo bonna bakwogezaako bukyayi. Beesooza ne baluma obujiji, ne bagamba nti: “Tukizikirizza! Luno lwe lunaku lwe twalindiriranga!”
17
Mukama akoze kye yateesa, atuzikirizza awatali kisa nga bwe yatulabula edda. Awadde abalabe baffe okutweyagalirako, ng'abatuusa ku buwanguzi.
18
Ayi Yerusaalemu ebisenge byo byennyini bikaabirire Mukama! Amaziga go gakulukute ng'emigga ekiro n'emisana! Towummula n'akatono, wadde okusumagirako.
19
Zuukuka emirundi mingi mu kiro kyonna, weegayirire Mukama. Fukumula ebikuli ku mutima, osabire abaana bo abato obulamu abakufiirako enjala buli w'oyita mu nguudo.
20
Tunula olabe ayi Mukama, abo b'obonereza bw'otyo. Ddala abakazi abazadde balye abaana baabwe be balera? Era bakabona n'abalanzi battirwe mu Ssinzizo mwennyini?
21
Abavubuka n'abakadde balambaalidde mu nguudo. Abalenzi era n'abawala battiddwa mu lutalo. Obasse n'otosaasirako ku lunaku lw'obusungu bwo.
22
Oyise abalabe bange okuva ku njuyi zonna bajje beekole ekigenyi! Tewali yawonawo wadde eyasigalawo ku lunaku lw'obusungu bwo. Batta abaana bange be nalera nga mbaagala nnyo!
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5