bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 John 1
1 John 1
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 2 →
1
Ekyo ekyaliwo okuva mu masooka, kye twawulira, kye twalabako n'amaaso gaffe, kye twatunulako ddala ne tukwatako n'engalo zaffe, kikwata ku Kigambo ow'obulamu -
2
obulamu obwo bwayolekebwa, ne tubulaba, era bwe tutegeeza, era tubabuulira obulamu obutaggwaawo obwalinga ne Taata, obwatwolekebwa.
3
Ekyo kye twalaba, kye twawulira, kye tubabuulira, mulyoke mubeere kimu naffe; anti tuli kimu ne Taata n'Omwana we Yezu Kristu.
4
Bino tubiwandiise essanyu lyaffe lituukirire.
5
Buno bwe bubaka bwe twawulira okuva gy'ali, era bwe tubabuulira, nti Katonda kitangaala, mu ye temuli kizikiza n'akatono.
6
Bwe tugamba nti tuli kimu naye, naye nga tutambulira mu kizikiza, tuba tulimba, tuba tetukola mazima;
7
naye bwe tutambulira mu kitangaala, nga ye bw'ali mu kitangaala, olwo tuba tuli kimu, n'omusaayi gwa Yezu Omwana we gututukuzaako ebibi byonna.
8
Bwe tugamba nti tetuliiko kibi, tuba twerimba, n'amazima tegatuliimu.
9
Bwe twatula ebibi byaffe, ye mwesigwa era mutuufu, ajja kusonyiwa ebibi byaffe, atutukuzeeko buli butali butuukirivu bwonna.
10
Bwe tugamba nti tetukolanga kibi, tumufuula mulimba, n'ekigambo kye kiba tekituliimu.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5