bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 John 5
1 John 5
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
1
Buli akkiriza nti Yezu ye Kristu aba mwana wa Katonda, ate ayagala omuzadde ayagala ne gw'azaala.
2
Kino kwe tumanyira nti twagala abaana ba Katonda, bwe twagala Katonda ne tutuukiriza n'ebiragiro bye.
3
Kubanga kuno kwe kwagala kwa Katonda, nti tukwata ebiragiro bye; ate ebiragiro bye tebizitoowerera.
4
Buli kizaalibwa Katonda kiwangula ensi; buno bwe buwanguzi obuwangula ensi: okukkiriza kwaffe.
5
Ate ani awangula ensi, okuggyako oyo akkiriza nti Yezu ye Mwana wa Katonda?
6
Ono ye yajjira mu mazzi ne mu musaayi, Yezu Kristu; si mu mazzi mwokka, naye mu mazzi ne mu musaayi. Era Mwoyo ye mujulirwa, kubanga Mwoyo ge mazima.
7
Awo nno abajulirwa bali basatu:
8
Mwoyo, amazzi n'omusaayi; ate bonsatule bakkaanya.
9
Oba tukkiriza abantu kye boogera, Katonda ky'ayogera kikirira wala; kubanga kino Katonda kye yayogera, kye yakakasa ku mwana we.
10
Akkiriza Omwana wa Katonda alina obukakafu obwo mu ye. Oyo atakkiriza, Katonda amufudde mulimba, kubanga takkiriza bukakafu Katonda bwe yawa ku Mwana we.
11
Obukakafu obwo bwe buno, nti Katonda yatuwa obulamu obutaggwaawo, ate obulamu obwo buli mu Mwana we.
12
Alina Mwana aba alina obulamu; atalina Mwana wa Katonda talina bulamu.
13
Mbawandiikidde bino mmwe abakkiriza erinnya ly'Omwana wa Katonda, mulyoke mumanye nti mulina obulamu obutaggwaawo.
14
Kino kye kitugumya mu maaso ge, nti bwe tusaba ekintu kyonna, nga kituukanye ne ky'ayagala, atuwulira.
15
Oba tumanyi nti atuwulira mu buli kye tumusaba, olwo tumanyi nga twafunye nadda kye tumusaba.
16
Singa oli alaba muganda we ng'akola ekibi ekitali kya lumbe, asabenga, ne Katonda alimuwa obulamu ku lw'abo ekibi kyabwe ekitali kya lumbe. Waliwo ekibi eky'olumbe, sigamba nti oli yandisabye ku kino.
17
Buli kwonoona kiba kibi, naye waliwo ekibi ekitaba kya lumbe.
18
Tumanyi nti buli azaalibwa Katonda takola kibi, naye oyo azaalibwa Katonda yeekuuma, n'omubi tamukwatako.
19
Tumanyi nti tuli ba Katonda, era nti ensi yonna eri mu buyinza bw'omubi.
20
Era tumanyi nti Omwana wa Katonda yajja era n'atuwa okutegeera, tulyoke tumanye oyo omutuufu; ffe tuli mw'oyo omutuufu, mu Mwana we Yezu Kristu. Ono ye Katonda omutuufu era obulamu obutaggwaawo.
21
Bwana, mwewale balubaale.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
All chapters:
1
2
3
4
5