bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 John 3
1 John 3
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 4 →
1
Mulabe okwagala Taata kwe yatwagalamu nga bwe kuli, bwe yatuwa okuyitibwa abaana ba Katonda, ate ddala bwe tutyo bwe tuli. Ensi kyeva tetumanya kubanga naye teyamumanya.
2
Abaagalwa, tuli baana ba Katonda kati, naye ekyo kye tuliba tekinnayolekebwa; naye tumanyi nti bw'alyolekebwa, tulimufaanana, kubanga tulimulaba nga ye bw'ali.
3
Na buli omu asuubira bw'atyo mu ye, yeetukuza nga ye bw'ali omutukuvu.
4
Buli akola ekibi aba akoze bujeemu, kubanga ekibi bujeemu.
5
Mumanyi nti yalabika lwa kuggyawo bibi, era nti mu ye temuli kibi.
6
Ali mu ye takola kibi; buli akola ekibi aba teyamulaba oba nga teyamumanya.
7
Bwana, wabulewo abalimba. Akola ekituufu aba mutuukirivu, ye nga bw'ali omutuukirivu.
8
Akola ekibi aba wa Sitaani; kubanga Sitaani mwonoonyi okuva mu masooka. Omwana wa Katonda yalabika lwa kuzikiriza bikolwa bya Sitaani.
9
Buli azaalibwa Katonda takola kibi, kubanga ensigo ya Katonda emubeeramu; tasobola kwonoona, kubanga yazaalibwa Katonda.
10
Ku kino omuntu kwategeerera abaana ba Katonda n'abaana ba Sitaani: buli atakola kituufu taba wa Katonda, era kye kimu n'oyo atayagala muganda we.
11
Buno bwe bubaka bwe mwawulira okuva mu masooka, nti tuteekeddwa okwagalana;
12
si nga Kayini eyali ow'omubi, eyatemula muganda we. Yamutemulira ki? Lwa kubeera ng'ebikolwa ebibye byali bibi, sso ng'ebya muganda we bituukirivu.
13
Temwewuunya, abooluganda, ensi bw'ebakyawa.
14
Tumanyi nti tuvudde mu kufa ne tudda mu bulamu, kubanga twagala abooluganda. Oyo atayagala asigala mu kufa.
15
Buli akyawa muganda we mutemu, ate mumanyi nti mpaawo mutemu alimu bulamu butaggwaawo.
16
Okwagala kuno kwe tukumanyira, nti yawaayo obulamu bwe okubeera ffe, era naffe tusaanye tuweeyo obulamu bwaffe olwa baganda baffe.
17
Naye singa oli aweza ku bintu by'ensi alaba muganda we ng'ali mu bwetaavu, naye n'atamussaako mwoyo, okwagala kwa Katonda kumubeeramu kutya?
18
Bwana, okwagala kwaffe kuleme kubeera mu bigambo bugambo na mboozi, wabula kubeere mu bikolwa ne mu mazima.
19
Kuno kwe tumanyira nti tuli ba mazima, ne tuba bagumu mu maaso ge,
20
emmeeme yaffe buli lw'etulumiriza; kubanga Katonda mukulu okusinga emitima gyaffe, ye amanyi buli kintu.
21
Abaagalwa, emmeeme yaffe bw'eba tetulumiriza, tuli bagumu mu maaso ga Katonda;
22
ne buli kye tusaba tujja kukifuna okuva gy'ali, kubanga tukwata ebiragiro bye ne tukola ekimusanyusa.
23
Ekiragiro kye kye kino, nti tukkirize erinnya ly'Omwana we Yezu Kristu, ate naffe twagalane nga bwe yatulagira.
24
Buli akwata ebiragiro bye abeera mu Katonda, ne Katonda abeera mu ye. Kuno kwe tumanyira nti abeera mu ffe: Mwoyo gwe yatuwa.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5