bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 John 2
1 John 2
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 3 →
1
Bwana bwange, bino mbibawandiikira muleke kukola bibi; naye singa oli aba akoze ekibi, tulina omuwolereza eri Taata, ye Yezu Kristu omutuukirivu;
2
ye gwe mutango gw'ebibi byaffe, ate si byaffe byokka, naye n'eby'ensi yonna.
3
Kuno kwe tutegeerera nti tumumanyi, bwe tukwata ebiragiro bye.
4
Oyo agamba nti: “Mmumanyi,” naye nga takwata biragiro bye, mulimba, n'amazima tegamuliimu;
5
naye buli akwata ekigambo kye, mu ye okwagala kubeera kutuukiriridde ddala; kuno kwe tutegeerera nti tuli mu ye.
6
Oli agamba nti ali mu ye, ateekwa okuyisa nga ye bwe yayisa.
7
Abaagalwa, sibawandiikira kiragiro kiggya, wabula ekiragiro ekikadde kye mwalina okuva mu masooka; ekiragiro ekikadde kye kigambo kye mwawulira.
8
Naye ate mbawandiikira kiragiro kiggya, kino kituufu ku ye era ne ku mmwe, kubanga ekizikiza kiyise ate ekitangaala ekituufu kyatandise dda okwaka.
9
Oli agamba nti ali mu kitangaala naye ng'akyawa muganda we, akyali mu kizikiza n'okutuusa kati.
10
Oli ayagala muganda we, ali mu kitangaala, ate mu ye temuli kimuleetera kwesittala.
11
Naye oli akyawa muganda we, ali mu kizikiza, era mu kizikiza mw'atambulira, era tamanyi na gy'agenda, kubanga ekizikiza kimuzibye amaaso.
12
Mbawandiikira mmwe abaana, kubanga ebibi byammwe bisonyiyiddwa olw'okubeera erinnya lye.
13
Mbawandiikira, mmwe abazadde abasajja, kubanga mumumanyi oyo aliwo okuva mu masooka. Mbawandiikira, mmwe abalenzi abavubuka, kubanga muwangudde omubi. Mbawandiikira, mmwe abato, kubanga mumanyi Taata.
14
Mbawandiikira, mmwe abazadde abasajja, kubanga mumanyi oyo aliwo okuva mu masooka. Mbawandiikira, mmwe abalenzi abavubuka, kubanga muli ba maanyi, n'ekigambo kya Katonda kiri mu mmwe, n'omubi mumuwangudde.
15
Temwagalanga nsi oba ebiri mu nsi. Singa oli ayagala ensi, mu ye temuba kwagala Taata.
16
Kubanga byonna ebiri mu nsi: amaddu g'omubiri, amaddu g'okulaba n'olunkulu lw'okufuna, si bya Taata, wabula bya nsi.
17
Ensi yo eyita, wamu n'amaddu gaayo; naye oyo akola Katonda ky'ayagala asigalawo emirembe gyonna.
18
Abaana, kano ke kaseera akavannyuma; mwawulira nti omulabe wa Kristu ajja; kati nno abalabe ba Kristu bangi bazze; bwe tutyo tumanyi nti ke kaseera akavannyuma.
19
Baatuvaamu ne bagenda, naye tebaali baffe, kubanga singa baali baffe, bandisigadde naffe, kiryoke kyeyoleke lwatu nti si baali baffe.
20
Naye mmwe mwasiigibwa n'Omutuukirivu, era mwenna mukimanyi.
21
Mbawandiikidde, si lwa kubera nga temumanyi mazima, naye kubanga mugamanyi, nti era tewali bulimba buva mu mazima.
22
Ate ani mulimba wabula okuggyako oyo agaana nti Yezu si ye Kristu? Oyo ye mulabe wa Kristu, oyo agaana Taata ne Mwana.
23
Buli agaana Mwana talina Taata; buli ayatula Mwana alina ne Taata.
24
Kye mwawulira okuva mu masooka kisigale mu mmwe. Kye mwawulira okuva mu masooka bwe kisigala mu mmwe, olwo nammwe mujja kusigala mu Mwana ne mu Taata.
25
Kino kye kisuubizo kye yatusuubiza: obulamu obutaggwaawo.
26
Kino nkibawandiikidde okubannyonnyola ku abo ababakyamya;
27
naye okusiigibwa kwe mwafuna okuva gy'ali kwabasigalamu, temwetaaga muntu kubayigiriza; byonna okusiigibwa bye kwabayigiriza bya mazima, si bulimba; musigale mu ye nga bwe kwabayigiriza.
28
Kati, bwana, musigale mu ye, olwo bw'alirabika tulyoke tubeere bagumu, ate tuleme kuswala tuve w'ali mu maaso ge.
29
Oba mumanyi nga mutuukirivu, mutegeere nti buli akola ekituufu aba y'amuzadde.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5