bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 John 4
1 John 4
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 5 →
1
Abaagalwa, temukkiririza mu buli mwoyo; wabula emyoyo mugigeze mulabe oba gya Katonda; kubanga abalanzi ab'obulimba bavuddeyo bangi mu nsi.
2
Kuno kw'omanyira oba omwoyo gwa Katonda: buli mwoyo ogwatula nti Yezu Kristu yajjira mu mubiri, gwa Katonda,
3
ate buli mwoyo ogutaatula Yezu, si gwa Katonda; guno gwe mwoyo gw'omulabe wa Kristu, gwe mwawulirako nti ajja, kati yajja na dda mu nsi.
4
Bwana, muli ba Katonda, era mubawangudde; kubanga ali mu mmwe asingira wala oyo ali mu nsi.
5
Bo ba nsi, awo nno boogera bya mu nsi, n'ensi kyeva ebawuliriza.
6
Tuli ba Katonda. Buli amanyi Katonda atuwuliriza, naye atali wa Katonda tatuwuliriza. Kuno kwe tumanyira omwoyo ogw'amazima n'omwoyo omusobi.
7
Abaagalwa, twagalane; anti okwagala kuva wa Katonda, na buli ayagala aba azaaliddwa Katonda era amanyi Katonda.
8
Atayagala tamanyi Katonda; kubanga Katonda kwagala.
9
Mu kino okwagala kwa Katonda mwe kwayolekerwa mu ffe, nti yatuma Omwana we omu yekka, tulyoke tubeere balamu mu ye.
10
Mu kino mwe muli okwagala: si ffe twayagala Katonda, wabula nti ye ye yatwagala, n'alyoka atuma Omwana we abeere omutango gw'ebibi byaffe.
11
Abaagalwa, obanga Katonda yatwagala okwenkana awo, naffe tuteekeddwa okwagalana.
12
Tewali yali alabye Katonda; naye singa twagalana, Katonda abeera mu ffe, n'okwagala kwe kutuukirira mu ffe.
13
Ku kino kwe tumanyira nti tuli mu ye naye ali mu ffe: kubanga yatugabira ku Mwoyo we.
14
Twalaba era tuli bajulirwa nti Taata yatuma Omwana we ng'Omulokozi w'ensi.
15
Buli ayatula nti Yezu Mwana wa Katonda, Katonda abeera mu ye naye n'abeera mu Katonda.
16
Twamanya era ne tukkiriza okwagala Katonda kw'atwagalamu. Katonda kwagala, buli ayagala abeera mu Katonda, ne Katonda n'abeera mu ye.
17
Mu kino okwagala mwe kutuukirira mu ffe, nti ku lunaku olw'okulamulibwa tuliba bagumu; anti ye nga bw'ali, naffe bwe tuli mu nsi muno.
18
Mu kwagala temuli kutya, wabula okwagala okutuufu kugobawo okutya, kubanga okutya kulimu ekibonerezo, naye oyo atya aba tatuukiridde mu kwagala.
19
Twagala kubanga ye yasooka okutwagala.
20
Singa oli agamba nti: “Katonda mmwagala,” naye n'akyawa muganda we, aba mulimba; kubanga oyo atayagala muganda we gw'alabyeko, tasobola kwagala Katonda gw'atalabanga.
21
Ekiragiro kino kyatuweebwa ye, nti oyo ayagala Katonda asaana ayagale ne muganda we.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5