bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Peter 1
1 Peter 1
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 2 →
1
Petero Omutume wa Yezu Kristu. Yaabo abalondemu abali ku ggwanga abasaasaanye mu Ponto, Galasiya, Kappadokiya, Aziya ne mu Bisiniya,
2
Katonda Taata be yalobozaamu okuva edda n'abatukuza mu Mwoyo Mutuukirivu bagondere Yezu Kristu era bamansibweko omusaayi gwe. Eneema ebeere nammwe n'emirembe gyeyongere obungi.
3
Katonda Kitaawe wa Mukama waffe Yezu Kristu agulumizibwe! Mu kisa kye ekingi yatuwa okuzaalibwa obuggya tufune essuubi eddamu olw'okuzuukira kwa Yezu Kristu mu bafu;
4
tufune obusika obutagooka, obutaliiko bbala, obutafuma, obwabaterekerwa mu ggulu.
5
Amaanyi ga Katonda gabakuumye mu kukkiriza, mulyoke mufune obulokofu obulyolekebwa ku nkomerero y'obudde.
6
Ekyo kimala okubaleetera essanyu, yadde nga mukyalina okuyita mu kugezebwa okumala akaseera n'ebigezo eby'enjawulo,
7
bigeze ensa eri mu kukkiriza kwammwe okw'omuwendo okusinga ne zaabu, newandibadde ng'alongoosebwa mu muliro, naye era aggwaawo, kusobole okugulumizibwa, okutendebwa n'okussibwamu ekitiibwa luli Mukama waffe Yezu Kristu lw'alirabika.
8
Temumulabangako, sso mumwagala; na buli kati temunnamulaba, sso mumukkiriza ne mujaganya n'essanyu eritayogerekeka ery'ekitiibwa,
9
ne mufuna ekigendererwa ky'okukkiriza kwammwe, anti kwe kulokoka kw'emyoyo gyammwe.
10
Abalanzi abaalanga eneema gye mwali mujja okufuna, baanoonyereza ne beekebejja okulokoka kuno.
11
Baanoonyereza obudde n'ebiseera Mwoyo wa Kristu eyabalimu lwe yali ow'okulaga ebibonoobono bya Kristu n'ekitiibwa ekiribiddirira.
12
Baabikkulirwa ne bategeera ng'omulimu baali tebakola beeweereze, wabula baweereze mmwe okubatuusaako ebyo kati ababayigiriza Evangili bye bababuulirira ku bwa Mwoyo Mutuukirivu eyatumibwa ng'ava mu ggulu, ebintu ne bamalayika bye beegomba okutunulako.
13
Kale nno mwesibe mubeere beetegefu mu myoyo gyammwe, temubaamu butamiivu; essuubi lyammwe lyonna mulimalire ku neema gye mulifuna luli Yezu Kristu lw'alirabika.
14
Ng'abaana abawulize, muleme kudda mu by'amaddu ge mwagobereranga luli edda olw'obutamanya.
15
Nga Katonda eyabayita bw'ali omutukuvu, nammwe mubeere batukuvu mu buli ngeri yonna gye muyisaamu,
16
anti kyawandiikibwa nti: “Mubeere batukuvu, kubanga nange ndi mutukuvu.”
17
Oba Katonda mumukowoola nti Taata, oyo alamula buli muntu nga teyeekubiira ng'asinziira ku by'akola, mweyise n'obwegendereza mu budde buno nga muli eyo ku ggwanga.
18
Mumanyi nga mwanunulibwa okuva mu ngeri ezitaliimu kantu ze mwaggya ku bajjajjammwe, si na bintu ebiggwaawo nga zaabu oba ffeeza,
19
wabula n'omusaayi gwa Kristu ogw'omuwendo ng'ogw'akaliga akataliiko bbala oba ekizigiro.
20
Yamanyibwa dda nga n'ensi tennabangibwawo, kyokka yayolesebwa ku lwammwe mu biseera ebivannyuma.
21
Mwayita mu ye ne mutuuka ku kukkiriza Katonda, oyo eyamuzuukiza mu bafu n'amugulumiza; olw'okubeera ekyo, mukkiriza Katonda ne musuubira mu ye.
22
Olw'okugondera amazima, emyoyo gyammwe mwagitukuza, ne musobola okwagalana ng'abooluganda, mwagalanire ddala nga muggyira ddala mu mutima.
23
Mwazaalibwa buggya, nga temuzaalibwa zzadde eriggwaawo, wabula ezzadde eritaggwaawo, kye kigambo kya Katonda ekiramu ekisigalawo.
24
“Anti abantu bonna muddo, n'ekitiibwa kyabwe kyonna kiri ng'ekimuli ky'omuddo.” Omuddo gukala, n'ekimuli ne kigwa,
25
sso ekigambo ky'Omukama kisigalawo emirembe gyonna. Ekigambo ekyo ge mawulire amalungi agaababuulirwa.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5