bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Peter 2
1 Peter 2
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 3 →
1
Mwessammule buli ngeri embi yonna na buli bulimba, obukuusa, obuggya, na buli kuwaayiriza.
2
Ng'amabujje agaakazaalibwa, muyayaanire mata meereere ag'omwoyo gabayambe okutuusa ku kulokoka,
3
olw'okubanga mulezeeko ne mulaba Omukama nga mulungi.
4
Musembere gy'ali, ejjinja eddamu, abantu lye baagaana, sso mu maaso ga Katonda eddondobe era ery'omuwendo;
5
mmwe ng'amayinja amalamu muzimbibwemu ennyumba ey'omwoyo, obwakabona obutukuvu, muweereze ebitambiro eby'omwoyo ebisanyusa Katonda mu Yezu Kristu.
6
Kyova osanga mu Biwandiiko nti: “Laba, nteeka ejjinja mu Siyoni, ejjinja ery'entabiro, eddondobe, ery'omuwendo; oli alimukkiriza, taliswala.”
7
Ku mmwe nno abakkiriza, jjinja lya kitiibwa; naye eri abatakkiriza, “Ejjinja lyennyini abazimbi lye baagaana, lye lyafuuka lukulwe mu nsonda.”
8
Era “Ejjinja abantu kwe beekoona, lwe lwazi kwe beesittala.” Beesittala kubanga tebagondera kigambo nga bwe baali basuubirwa okukola.
9
Sso mmwe muli luse olulondobe, obwakabona obw'obwakabaka, eggwanga ettukuvu, abantu ba Katonda ab'obwebange, okulangirira ebyamagero by'oyo eyabayita n'abaggya mu kizikiza n'abatuusa mu kitangaala kye ekyewuunyizibwa.
10
Edda temwali bantu abali awo, naye kati muli bantu ba Katonda; edda mwali temugiriddwa kisa, naye kati mugiriddwa ekisa.
11
Abaagalwa, mbeegayiridde, nga mmwe abagenyi era abali ku ggwanga, mwetangirenga mu ebyo byonna omubiri bye gwegomba, ebirwanyisa omwoyo gwammwe.
12
Mweyisenga bulungi nga muli mu b'amawanga; bwe banaaboogerangako ng'ababi, beerabireko bennyini ku bikolwa byammwe ebirungi batendereze Katonda ku lunaku olw'okulambulirwako.
13
Olw'okubeera Katonda, mugonderenga buli bufuzi bwa bantu, abeere kabaka nga bwali asinga obukulu,
14
oba abaamasaza, kubanga y'abatuma okujja okubonereza abakola obubi, n'okutenda abakola obulungi.
15
Katonda ekyo ky'ayagala, anti bwe muyisa obulungi, musirisa obutamanya bw'abasiru.
16
Mweyise ng'ab'eddembe, nga temwekwasa ddembe eryo kukola bubi, wabula mubeere ng'abaweereza ba Katonda.
17
Abantu bonna mubawenga ekitiibwa; abooluganda mubaagalenga; Katonda mumutyenga; kabaka mumussengamu ekitiibwa.
18
Abaweereza, mugonderenga bakama bammwe, mubaweerenga ddala ekitiibwa. Si abo bokka abalungi, abateefu, naye n'abakalubo.
19
Okugumiikiriza ku bwa Katonda ennaku oli z'alaba awatali nsonga, ekyo eba neema.
20
Bwe muyisa obubi ne bababonereza, ne mukigumiikiriza, mulimu kitiibwa ki? Naye singa muyisa obulungi, sso ne mubonerezebwa, naye ne mukigumiikiriza, ekyo Katonda akisiima.
21
Ndaba ekyo kye kyabayisa; Kristu yabonaabona ku lwammwe n'abalekera ekyokulabirako, musimbe mu kisinde kye.
22
Ye teyakola kibi na kimu, mu kamwa ke temwasangibwamu bulimba;
23
bwe yavumibwa, teyavuma kwesasuza; bwe yabonaabona, teyawerera muntu; wabula yeereka mu mikono gy'oli alamula mu butuufu.
24
Ebibi byaffe yabyetikka yennyini mu mubiri gwe ku muti, naffe ekibi tukibeerere bafu, tubeere balamu tukole eby'obutuukirivu. Ebiwundu bye bye byabawonya.
25
Anti mwali muwabye ng'endiga; naye kati mukomyewo eri omusumba era omulabirizi w'emyoyo gyammwe.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5