bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Peter 4
1 Peter 4
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 5 →
1
Kristu yamala okubonaabona mu mubiri gwe, nammwe mubagalire ekirowoozo ekyo ng'ekyokulwanyisa, kubanga oli abonaabona mu mubiri gwe, ebibi aba abivuddeko,
2
ebbanga ly'obulamu bwe erisigadde abeere nga tagoberera maddu ga mubiri, wabula agoberere Katonda ky'ayagala.
3
Ebbanga lye mumaze nga muyisa ng'abakafiiri bwe bayisa limala, nga mugoberera obugwenyufu, amaddu, obutamiivu, ebiduula, okujanjaala n'ekitakkirizibwa eky'okusinza ebitaliimu.
4
Kati bo beewuunya okulaba nga temukyabeegattako mu ddalu ly'obusaasaanyi; kwe kudda mu kubavuma.
5
Naye baliwoza ew'oyo eyeetegese okulamula abalamu n'abafu.
6
Abafu abo newandibadde nga ku nsi baalamulibwa ng'omuntu yenna bw'alamulibwa, naye kubanga nabo wa kubalamula, kyebaava babuulirwa Evangili, basobole okutuuka ku bulamu bwa Katonda mu mwoyo.
7
Enkomerero ya byonna esembedde; awo nno omutima gubabe wamu nga muli bakalangufu olw'okwegayirira.
8
Naye ekisingira ddala obukulu, mwagalanenga awatali kusalawo, kubanga okwagalana kubikka ku bibi bingi.
9
Mwanirizaganye bulungi awatali kwemulugunya.
10
Buli omu yafuna ekitone, akikozesenga ku lwa munne nga bwe kigwanira abawanika abalungi ab'ebitone bya Katonda eby'enjawulo:
11
ayogera, ayogere ng'awa obubaka bwa Katonda; aweereza, aweereze ng'akola ku lwa maanyi Katonda g'awa, Katonda alyoke agulumizibwe mu byonna ku bwa Yezu Kristu Mukama waffe, nnyini kitiibwa n'okufuga emirembe n'emirembe. Amiina.
12
Abaagalwa, muleme kwewuunya olw'okusiyiikibwa okw'okubageza okuliwo kati mu mmwe; muleme kukutwala ng'ekintu ekitali kya bulijjo.
13
Wabula musanyuke nti nammwe mugabanye ku kubonaabona kwa Kristu, olwo mulyoke musanyuke, mujaguze ekitiibwa kye bwe kiryolekebwa.
14
Bwe babavuma okubeera erinnya lya Kristu, mwesiimye, kubanga olwo Mwoyo ow'ekitiibwa, Mwoyo wa Katonda, aba ku mmwe.
15
Naye mu mmwe muleme kubaamu abonaabona kubanga mutemu, mubbi, mukozi wa bubi, oba mutabuzitabuzi.
16
Kyokka oli bw'abonaabona kubanga Mukristu, ekyo kireme kumuswaza, wabula agulumize Katonda olw'okubeera ow'erinnya eryo.
17
Kubanga obudde butuuse okulamula kutandikire ku b'omu nnyumba ya Katonda. Oba kusookedde ku ffe, enkomerero y'abo abatakkiriza Vangili ya Katonda eriba etya?
18
Anti “oba omutuukirivu okulokolebwa kiriba kizibu, abatatya Katonda n'aboonoonyi balirabika wa?”
19
Kale nno abo ababonaabona kubanga Katonda bw'ayagadde, emyoyo gyabwe bagikwase Katonda omwesigwa nga bakola ebirungi.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5