bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Peter 3
1 Peter 3
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 4 →
1
Kye kimu, nammwe abakazi, mugonderenga babbammwe, abatakkiriza kigambo nga balabye abakyala baabwe nga bwe bayisa, bawangulwe nga temulina na kye mubagambye,
2
bwe banaalaba bwe muli ab'eggonjebwa n'empisa entukuvu.
3
Obulungi bwammwe buleme kubeeranga mu bya kungulu, mu kuyonda nviiri, obunyere obwa zaabu n'okwambala ebyambalo,
4
wabula bubeerenga ekyo ekikusike mu mutima n'ebyokwewoomya ebitayonooneka, anti gwe mutima ogw'eddembe, omuteefu; ebyo biba bya muwendo nnyo mu maaso ga Katonda.
5
N'obwedda abakyala abatuukirivu, abaasuubiranga mu Katonda, bwe batyo bwe beewoomyanga nga bagondera babbaabwe,
6
nga Saara bwe yawuliranga Yiburayimu, ng'amuyita mukama we. Nammwe muli bawala be bwe mukola ekirungi, nga temuleka kintu na kimu kubatiisa.
7
Nammwe abasajja, muyisenga na bwegendereza bakazi bammwe, nga mumanyi nti bo ng'abakazi luse lunafu okubasinga, nga mubassaamu ekitiibwa, anti nabo ba kusikira nammwe ekirabo ky'obulamu; mukole mutyo okwegayirira kwammwe kuleme kusanga kiziyizo.
8
Ekisembayo, mubeerenga ba ndowooza emu, abalumirwagana; mwagalenga abooluganda; mubeerenga ba kisa, beetoowaze.
9
Ekibi temukisasuzanga kibi, wadde okuvuma okukusasuza okuvuma; wabula oli mumusabirenga mukisa; anti ekyo kye mwayitirwa, nammwe musikire omukisa.
10
Kubanga “eyeegomba ennaku ennyingi ez'okwesiima, oli ayagala obulamu, olulimi lwe alutangire obugwenyufu, n'emimwa gye agiziyize okwogera eby'obulimba.
11
Ave ku kibi, akole ekirungi; anoonye eddembe era aligoberere.
12
Kubanga amaaso g'Omukama gatunuulira abatuukirivu, n'amatu ge gawuliriza essaala zaabwe. Naye amaaso g'Omukama agavulumulira abayisa obubi.”
13
Oba mutakabana okukola obulungi, ate ani anaabakola akabi?
14
Bwe mubonaabonamu olw'obutuukirivu, mwesiimye. Temubatyanga era temweraliikiriranga.
15
Naye mu mitima gyammwe Omukama Kristu mumutwalenga nti mutukuvu. Mwetegekenga bulijjo okwanukula obulungi buli yenna eyeebuuza ensonga kwe musinziira okusuubira mutyo, wabula mumwanukuzenga buntubulamu n'ekitiibwa.
16
Emmeeme yammwe mugikuumenga nga ntereevu, ababavuma bwe balaba bwe muyisa obulungi mu Kristu, baswale.
17
Kubanga kisinga okubonaabona olw'okuyisa obulungi, Katonda bw'aba nga yaayagadde, okusinga okubonaabona olw'okuyisa obubi.
18
Ne Kristu naye yafa omulundi gumu n'amala olw'okubeera ebibi; omutuukirivu n'afiirira abatali batuukirivu, atuzze bw'atyo eri Katonda. Mu bw'omuntu bwe baamutta, naye mu Mwoyo n'afuulibwa mulamu,
19
n'agendera mu Mwoyo omwo okuyigiriza emyoyo egyali gikyali mu kkomera,
20
egy'abo luli abataawulira, naye Katonda n'abakwasa n'obugumiikiriza mu budde bwa Nowa, mu biseera ekyombo we kyazimbirwa, omwawonera abantu abatono bati, abantu munaana, abaawonera mu mazzi.
21
Kale nno batismu efaananako n'ekyo, ebawonya mmwe, si na kubaggyako kko lya ku mubiri, wabula ng'okwegayirira Katonda abawe emmeeme entereevu olw'okuzuukira kwa Yezu Kristu,
22
eyagenda mu ggulu, atudde ku ddyo ogwa Katonda, nga bamalayika bonna, abafuzi n'ab'obuyinza bassiddwa wansi we.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5