bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Peter 5
1 Peter 5
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
1
Nkubiriza abakadde abali mu mmwe, nze nga mukadde munnammwe omujulirwa w'ebibonoobono bya Kristu, era aligabana ku kitiibwa ekijja okwolekebwa,
2
mulabirirenga eggana lya Katonda eryabakwasibwa, si na buwaze, wabula lwa kwagala nga Katonda yennyini bwe yandikoze. Temugobererangamu magoba agaswaza, wabula mukoze kwagala,
3
buli omu ku baamukwasibwa n'atalaga buyinza; wabula mubeere kyakulabirako eri eggana.
4
Omusumba Omukulu bw'alirabika, mufune engule ey'ekitiibwa etafuma.
5
Nammwe abavubuka, muwulirenga abakadde. Mwambale buli omu okwetoowaliza munne, anti Katonda alwanyisa abeekuza, naye abeetoowaze abagirira ekisa.
6
Mwetoowalize omukono gwa Katonda ogw'amaanyi, mu bbanga ttono alyoke abagulumize.
7
Byonna ebibeeraliikiriza mubimukasukire, kubanga abafaako.
8
Mubeere bakalangufu, mutunule, kubanga Sitaani omulabe wammwe ayitaayita ng'empologoma ewuluguma ng'enoonya gw'eneekavvula.
9
Mumuziyize nga muli banywevu mu kukkiriza. Mutegeere ng'ennaku ezibalaba z'eziraba n'abooluganda lwammwe bonna abali ku nsi.
10
Nga mumaze okubonaabonamu akabanga, Katonda nnyini kisa kyonna, eyatuyita okugabana ku kitiibwa ekitaggwaawo mu Yezu Kristu, ye ajja kubazzaawo, abanyweze, abagumye.
11
Oyo obukulu bubeere bubwe emirembe n'emirembe. Amiina.
12
Neeyambye Siluvano owooluganda omwesigwa okubawandiikira mu bimpimpi nga mbeegayirira, n'okukakasa nga bwe nkakasa, nti bino y'eneema ya Katonda. Muginywereremu.
13
Oyo ali mu Babiloni, eyalondebwa nga mmwe, abatumidde; era ne mutabani wange Mariko.
14
Mulamusaganye n'okunywegera okw'okwagala. Emirembe gibeere nammwe mwenna abali mu Kristu.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
All chapters:
1
2
3
4
5