bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Thessalonians 1
1 Thessalonians 1
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 2 →
1
Pawulo, Siluvano ne Timotewo. Ya Ekleziya w'ab'e Tessalonika, mu Katonda Taata n'Omukama Yezu Kristu. Eneema ebeere nammwe ko n'emirembe.
2
Bulijjo Katonda tumwebaza ku lwammwe mwenna; tubajjukira butasalako mu ssaala zaffe,
3
nga tujjukira mu maaso ga Katonda waffe era Taata, omulimu ogukoleddwa okukkiriza kwammwe, okwewaayo kw'okwagala kwammwe n'obunywevu bw'essuubi lye mulina mu Mukama waffe Yezu Kristu.
4
Abooluganda Katonda b'ayagala, tumanyi nga yabalonda;
5
kubanga Evangili yaffe teyabatuukako mu bigambo byokka, naye ne mu maanyi ne mu Mwoyo Mutuukirivu, wamu mu mutima omumativu ddala. Nammwe mumanyi bwe tweyisa nga tuli ewammwe olw'okubeera mmwe.
6
Nammwe mwatufaanana ne mufaanana n'Omukama kubanga ekigambo mwakyaniriza mu nnaku ennyingi awamu n'essanyu eriva mu Mwoyo Mutuukirivu;
7
ne mufuuka bwe mutyo ekyokulabirako eri abakkiriza bonna mu Masedoniya ne mu Akayiya.
8
Ekigambo kya Katonda kyava mu mmwe ne kigenda nga kivuga; si mu Masedoniya ne mu Akayiya mwokka, wabula ne wonna okukkiriza kwammwe mu Katonda kubunyeeyo, n'olwekyo ekyo tetwetaaga na kukyogerako kantu.
9
Eyo banyumya nga bwe mwatwaniriza, ne bwe mwakyuka ne mudda eri Katonda, ne muva ku balubaale, mulyoke muweereze Katonda omulamu ow'amazima,
10
era mulindirire Omwana we aliva mu ggulu, gwe yazuukiza mu bafu, Yezu atuwonya obusungu obulijja.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5