bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Thessalonians 4
1 Thessalonians 4
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 5 →
1
Ekisembayo, abooluganda, tubeegayiridde era tubakubiriza mu Mukama Yezu nti nga bwe mwatuyigirako bwe musaanye okuyisa okusanyusa Katonda, era kati nga bwe mukola, mweyongerere ddala okukola bwe mutyo.
2
Anti mumanyi amateeka ge twabawa mu Mukama Yezu.
3
Katonda kino ky'abaagaza, obutuukirivu bwammwe: mulekere ddala obuseegu;
4
buli omu mu mmwe amanye okwewasiza omukazi mu butuukirivu ne mu kitiibwa,
5
naye si mu kutwalirizibwa kwa maddu ng'ab'amawanga abatamanyi Katonda;
6
wabulewo asobeza munne oba amulyakula mu by'obusuubuzi; kubanga Omukama awoolera eggwanga mu ebyo byonna, ng'era bwe twabagamba luli ng'atukakasiza ddala.
7
Kubanga Katonda teyatuyitira buseegu, wabula butuukirivu.
8
Oli nno agaya bino, tagaya muntu, wabula Katonda abawa Mwoyo we Omutuukirivu.
9
Simwetaaga muntu kubawandiikira ku mpisa ya kwagalana kwe muteekwa okwagalanamu ng'ab'oluganda, anti Katonda yennyini yabayigiriza dda bwe musaanye okwagalana;
10
ndaba mwagala abooluganda bonna wonna mu Masedoniya. Kye tubasaba nno, abooluganda, mwongere bwongezi.
11
Muluubirire okuba mu ddembe, okufa ku bibakwatako, n'okukola n'emikono gyammwe nga bwe twabagamba;
12
bwe mutyo mulabikire bulungi ab'ebweru mu neeyisa yammwe, mubeere nga temujula kantu.
13
Abooluganda, tetwagala muwubwe ku abo abeebase, muleke kunakuwala ng'abantu abalala abatalina ssuubi.
14
Oba tukkiriza nga Yezu yafa n'azuukira, awo nno ne Katonda ng'ayita mu Yezu, abeebase alibakomyawo wamu naye.
15
Kino tukibagamba ng'Omukama bwe yakyogera nti: ffe abakyali abalamu, abakyasigaddewo okutuusa Omukama lw'alijja, si ffe tulisookayo bali abeebase.
16
Anti Omukama yennyini aliva mu ggulu n'akka ekiragiro bwe kiriyita, Ssabamalayika bw'alireekaana n'ekkondeere lya Katonda nga linyaanyaagira. Olwo abafu abali mu Kristu be balisooka okuzuukira;
17
awo naffe abaliba bakyali abalamu, tulikuŋŋunsibwa mu bire wamu nabo okugenda okusisinkana Kristu mu bbanga. Olwo tulibeera n'Omukama ennaku zonna.
18
Kale nno buli omu agumye munne n'ebigambo ebyo.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5