bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Thessalonians 3
1 Thessalonians 3
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 4 →
1
N'olwekyo kyaddaaki nga tetukyayinza kugumiikiriza, kwe kuteesa okusigala ffekka e Atena,
2
ne tubatumira muganda waffe Timotewo, omuweereza wa Katonda ali ku mulimu gw'okuyigiriza Evangili ya Kristu, ajje abagumye era abanyweze mu kukkiriza kwammwe,
3
ebizibu bino bibuleko gwe binyeenya; anti nammwe mumanyi nti kino kye kitulindiridde.
4
Sso era bwe twali ewammwe, twabagambirawo nti ennaku twali ba kuziraba, ng'era bwe bibaddewo, nga nammwe bwe mumanyi.
5
Nange nno nalaba sikyayinza kugumiikiriza, kwe kutuma gye muli, ntegeere okukkiriza kwammwe nga bwe kuli. Nali ntya nti sikulwa ng'omukemi yabakema omulimu gwaffe ne gufa busa.
6
Kati Timotewo bw'akomyewo eno okuva ewammwe, atubuulidde amawulire amalungi ku kukkiriza kwammwe ne ku kwagala; era n'atugamba nti mukyatujjukira bulungi, nti bulijjo mwegomba okutulabako nga naffe bwe twegomba okubalaba.
7
Ggwe wamma, abooluganda, olw'okukkiriza kwammwe, mutukubagizza mu bikalubo byonna ne mu bizibu bye tulimu.
8
Kati naffe tuwulira ku bulamu, kubanga mugumye mutyo mu Mukama.
9
Tunaayinza tutya okwebaza Katonda okubeera mmwe, olw'essanyu lino lyonna lye mutuleetedde mu maaso ga Katonda waffe?
10
Twegayirira nga twesengereza emisana n'ekiro, tusobole okuddamu okubalabako ate, tumalirize ebikyabula ku kukkiriza kwammwe.
11
Katonda yennyini oyo era Taata ne Mukama waffe Yezu Kristu baluŋŋamye olugendo lwaffe olutuleeta ewammwe.
12
Omukama abawe mweyongere era musukkulume mu kwagalana mwekka na mwekka ne mu kwagala abantu bonna, kyenkana nga naffe bwe tubaagala,
13
agumye bw'atyo emitima gyammwe mu butuukirivu, nga temuliiko musango mu maaso ga Katonda era Taata ku luli Mukama waffe lw'alijja wamu n'abatuukirivu be bonna.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5