bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Thessalonians 5
1 Thessalonians 5
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
1
Abooluganda, temwetaaga muntu kubawandiikira ku bifa ku budde ne ku kaseera kennyini.
2
Ndaba nammwe mumanyi ng'olunaku lw'Omukama lulijja ng'omubbi mu kiro.
3
Baliba bakyawoza: “Kiri mulaala, kiri bulungi,” olwo okuzikirizibwa ne kubagwira ng'okulumwa bwe kugwira omukazi ow'olubuto, ate teriba kuwona.
4
Sso mmwe abooluganda, temuli mu nzikiza, olunaku olwo okubazinduukiriza ng'omubbi.
5
Mmwe mwenna muli baana ba kitangaala, muli baana ba misana; tetuli ba kiro oba ba nzikiza.
6
Awo nno tuleme kwebaka ng'abalala bwe bakola; tutunule, nga tetuli batamiivu.
7
Anti abeebaka beebaka kiro, n'abatamiira batamiira kiro.
8
Naye ffe tuli ba misana, awo nno tuleme kuba batamiivu, twambale ekizibawo eky'okukkiriza n'okwagala, ate enkufiira nga lye ssuubi ery'okulokoka.
9
Kubanga ffe Katonda teyatuteebeza busungu, wabula okufuna obulokofu ku bwa Mukama waffe Yezu Kristu,
10
eyatufiirira tulyoke tubeere balamu naye, ne bwe tuba tutunula ne bwe tuba twebase.
11
Kale nno buli omu akubagize munne, buli omu azimbe munne nga bwe mubadde mukola.
12
Abooluganda, tubeegayiridde, ababafaabiinira, ababalabirira mu Mukama, abababuulirira mubategeere.
13
Olw'okubeera omulimu gwabwe, mubasseemu nnyo ekitiibwa era mubaagale; mubeere mirembe ne mu mmwe mwennyini.
14
Abooluganda, era tubakubiriza mukome ku balendera, muzze amaanyi mu baterebeterebe, abanafu mubayambe; bonna mubagumiikirize.
15
Mulabe nti mu mmwe temuli awoolera ggwanga, wabula muluubirire bulijjo okukolera obulungi buli omu ne bonna.
16
Mubeere basanyufu ennaku zonna.
17
Mwegayirire obutasalako;
18
mu byonna mwebaze, kubanga ekyo Katonda ky'abaagaza mu Kristu Yezu.
19
Mwoyo muleke kumuzibiikiriza;
20
temugayanga mulimu gwa bulanzi;
21
kyokka byonna mubyekenneenye; ekirungi mukinywerereko;
22
mwesammule buli kibi.
23
Katonda yennyini ow'emirembe abafuule batuukirivu mwenna. Mwenna nga bwe muli: omutima, emmeeme, n'omubiri, bibeere biramu ebitaliiko musango Mukama waffe Yezu Kristu lw'alijja.
24
Oyo abayita mwesigwa, era ajja kukikola.
25
Abooluganda, nammwe mutusabire.
26
Mulamuse abooluganda bonna n'okunywegeragana okutukuvu.
27
Mbalayizza ddala Omukama nti ebbaluwa eno esomerwe abooluganda bonna.
28
Eneema ya Mukama waffe Yezu Kristu ebeere nammwe.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
All chapters:
1
2
3
4
5