bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Timothy 1
1 Timothy 1
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 2 →
1
Pawulo, omutume wa Kristu olw'ekiragiro kya Katonda Mulokozi waffe n'ekya Kristu Yezu essuubi lyaffe;
2
ya Timotewo, mutabani wange ddala mu kukkiriza: Eneema, okusaasira n'ekisa okuva ewa Katonda Taata ne Kristu Yezu Mukama waffe.
3
Bwe nali ŋŋenda e Masedoniya, nakugamba osigale mu Efezi olagire abantu abamu baleke kuyigiriza njigiriza ndala,
4
n'okwemalira ku nfumo n'okunonooza endyo ezitaggwa; bino byongera bwongezi kubuusabuusa mu kifo ky'entegeka ya Katonda ey'okununula esimbye ku kukkiriza.
5
Sso ekigendererwa ekikulu ekiri mu kukubiriza kwe kwagala okuva mu mutima omutukuvu, emmeeme ennungi n'okukkiriza okwesimbu.
6
Abamu olw'okuva ku bino bawabidde mu nkaayana ezitaliimu kantu,
7
nga baagala okuba abayigiriza b'Etteeka, naye nga tebamanyi kye boogerako wadde ebyo bye bagenda bakakasa n'amaanyi.
8
Weewaawo tumanyi nti etteeka ddungi, singa oli alyeyamba ng'agoberera amateeka,
9
ng'amanyi nti etteeka teryateekebwawo lwa batuukirivu, wabula olw'ababi, n'abatawulira, n'abatatya Katonda, n'aboonoonyi, n'abatalina mpisa, n'aboonoonefu, n'abatemula bakitaabwe, n'abatemula bannyaabwe, n'abatta abantu,
10
n'abagwagwa, n'abakabawala n'ab'oluse lwabwe, n'abawamba abantu, n'abalimba, n'abawaayiriza, na buli kyonna ekikontana n'enjigiriza ennamu
11
egenda n'Evangili ey'ekitiibwa eya Katonda eyaweebwa omukisa, eyo eyankwasibwa.
12
Neebaza oyo eyampa amaanyi, Kristu Yezu Mukama waffe, kubanga bwe yannonda ku mulimu guno, yantwala okuba omwesigwa,
13
newandibadde ng'edda namujolonga, ne mmuyigganya ne mmuvuma; wabula nasaasirwa, kubanga ebyo nabikolanga mu butamanya na mu butakkiriza.
14
Naye eneema ya Mukama waffe yanzijuzaamu okukkiriza n'okwagala ebiri mu Kristu Yezu.
15
Ekyogerwa ekyo kya mazima era kisaanye okukwatibwa kyonna, nti Kristu Yezu yajja mu nsi okulokola aboonoonyi; ate mu bo nze mubereberye.
16
Naye nasaasirwa olwa kino, nti Yezu Kristu asookere mu nze okwoleka obugumiikiriza bwe bwonna, mbeere ekyokulabirako eri abo abaali ab'okumukkiriza bafune obulamu obutaggwaawo.
17
Eri Kabaka Ssewannaku, atafa, atalabika, Katonda yekka, ebeere ettendo n'ekitiibwa emirembe n'emirembe.
18
Bino bye biragiro bye nkuwa, Timotewo mutabani wange, nga nsinziira ku bigambo abalanzi bye baayogera ku ggwe; nga bikufuuyiridde, olwane bulungi olutalo,
19
ng'olina okukkiriza n'emmeeme ennungi. Abamu olw'okugaana emmeeme yaabwe ky'ebagamba, baleetedde okukkiriza kwabwe okutokomoka;
20
mu abo nga mwe muli ne Yimenewo ne Alekisanduro, be nawaayo eri Sitaani bayige obutavuma Katonda.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6