bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Timothy 6
1 Timothy 6
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
1
Bonna abali mu kikoligo ky'obuddu batwalenga bakama baabwe ng'abasaanidde okussibwamu ekitiibwa, erinnya lya Katonda n'enjigiriza yaffe bireme kuvumibwa.
2
Abalina bakama baabwe abakkiriza balemenga kubagaya olw'okwekwasa nti bonna ba luganda; wabula babaweereze bulungi n'okusingawo kubanga abo abaganyulwa mu kuweereza kwabwe bakkiriza era baagalwa. Yigiriza era kubiriza ebintu bino.
3
Singa oli ayigiriza ekirala n'atakkaanya na bigambo biramu ebya Mukama waffe Yezu Kristu n'enjigiriza egendana n'obulamu obw'eddiini,
4
aba mwekuza, atalina ky'amanyi; omuwakuzi w'endasano n'enkaayana ku bigambo; ekiva mu kino, buggya, mpaka, kuvumagana, kulowoozaŋŋanako bubi
5
n'obukuubagano mu bantu abagwagwawadde, abatakyalina mazima, eddiini abagitwala ng'ekkubo erituusa ku kufuna.
6
Mu ddiini ggwe wamma mulimu bingi eby'okufuna, naye eri oyo amanyi okumatira,
7
Kubanga tetulina kye twaleeta mu nsi, era tetulina kye tuyinza kuggya mu nsi;
8
naye bwe tuba n'emmere n'engoye, tunaagira tumatira n'ebyo.
9
Naye abo abayaayaanira okugaggawala bagwa mu bikemo, mu mitego ne mu kwegomba kungi okutaliimu makulu era okw'akabenje, okubbika abantu mu kufaafaagana ne mu kuzikirira.
10
Anti okwagala ssente ye nsibuko y'obugwenyufu bwonna; era waliwo bangi olwa kino abawabye ne bava ku kukkiriza, ne beereetera okulumwa kungi.
11
Kale nno, ggwe omuntu wa Katonda, ebyo byonna bigaye; luubirira obutuukirivu, obulamu obusomi, okukkiriza, okwagala, obumalirivu n'obuteefu.
12
Lwana olutalo olulungi olw'okukkiriza, owangule obulamu obutaggwaawo bwe wayitirwa, n'oyatula obulungi ddala mu maaso g'abajulirwa enkumu.
13
Mu maaso ga Katonda awa byonna obulamu, n'aga Kristu Yezu oyo eyajulira mu maaso ga Ponsiyo Pilato n'ayatula bulungi ddala,
14
nkukubiriza, tuukiriza ekyo ekyakulagirwa awatali kasobye wadde ky'ovunaanibwa okutuusa ku kulabika kwa Mukama waffe Yezu Kristu;
15
okwo okujja okwolesebwa mu budde bwako obutuufu, oyo agulumizibwa era Omuyinza, Kabaka wa bakabaka, Omukama w'abakama;
16
oyo yekka alina obutafa, asula mu kitangaala ekitasemberekeka, atalina muntu yali amulabye, wadde asobola kumulaba, ettendo libeere gy'ali n'obuyinza obw'emirembe n'emirembe, Amiina.
17
Ate abo abagagga mu nsi eno, bagambe baleme kwekuza, baleme kussa ssuubi lyabwe ku bugagga obuteesigika, naye wabula ku Katonda atugabira buli kintu mu bungi tulyoke tusanyuke.
18
Bakolenga ebirungi, babe bagagga mu bikolwa ebirungi, abagabi era abassa ekimu ne bannaabwe,
19
bwe batyo beetuumire obugagga ng'omusingi omulungi olw'obulamu obulijja, basobole okwefunira obulamu obwa nnamaddala.
20
Wattu Timotewo, kuuma ekyakukwasibwa. Weewalenga emboozi omubula ensa omutali ddiini, n'obuwakanyi kw'ekyo abeerimba kye bayita 'amagezi'.
21
Kubanga abamu mu kugaatula bawabye ku kukkiriza. Eneema ebeere naawe!
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
All chapters:
1
2
3
4
5
6