bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Timothy 2
1 Timothy 2
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 3 →
1
Ekisookera ddala nkubiriza nti okwegayirira, essaala, okusabira n'okwebaza biweerezebwe olw'abantu bonna,
2
olwa bakabaka n'olw'abo bonna abali mu buyinza, tusobole okubeera mu ddembe n'obuteefu, mu bulamu obusomi n'obuntubulamu.
3
Kino kirungi ate kisiimibwa Katonda Mulokozi waffe,
4
ayagala abantu bonna balokoke era batuuke ku kumanya amazima mu bujjuvu.
5
Kubanga Katonda ali omu, n'omutabaganya wa Katonda n'abantu ali omu, yennyini omuntu Kristu Yezu,
6
eyeewaayo ng'omutango olwa bonna; okujulirwa kwa kino okwaweebwa mu kaseera kaakwo akatuufu.
7
Ekyo kye nalonderwa ng'omulangirizi era omutume – kino nkyogera mu mazima, sirimba, - okuba omuyigiriza w'ab'amawanga mu kukkiriza ne mu mazima.
8
Awo nno njagala mu buli kifo abasajja beegayirire nga bawanise emikono gyabwe emitukuvu awatali busungu oba okuyomba.
9
Mu ngeri ye emu, n'abakazi beewoomye mu nnyambala ensaamusaamu, ey'obuwombeefu, ey'ekintukiramu, si na nviiri nnyonde, ne zaabu, n'amalulu n'engoye ez'ebbeeyi,
10
wabula beewoomye n'ebikolwa ebirungi nga bwe kisaanira abakazi abasomi.
11
Mu kuyigirizibwa, omukazi abeere ng'asirise, nga muwombeefu.
12
Sikkiriza mukazi n'omu kuyigiriza oba kukulira basajja; asaana asirike busirisi,
13
Kubanga Adamu ye yasooka okutondebwa ne Eva n'alyoka atondebwa;
14
ne Adamu si ye yalimbibwa, wabula omukazi ye yalimbibwa, n'afuuka omusobya.
15
Kyokka omukazi aliwonyezebwa ng'ayita mu kuzaala abaana, bw'alisigala mu kukkiriza, okwagala, obutuukirivu n'obwetangize.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6