bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Timothy 4
1 Timothy 4
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 5 →
1
Mwoyo agambira ddala kaati, nti mu biseera eby'oluvannyuma abamu balireka okukkiriza ne bawuliriza emyoyo gy'obulimba n'enjigiriza y'emyoyo emibi,
2
olw'obukuusa bw'abalimba, abo emmeeme zaabwe ezaasiriizibwa.
3
Bagaana obufumbo ne balagira okulekayo ebika by'emmere Katonda gye yatondera abo abakkiriza era abamanyi amazima bagirye nga beebaza.
4
Buli kyatondebwa Katonda kirungi; tewali kyandigaaniddwa bwe kiba nga kiriiriddwa n'okwebaza,
5
kubanga kitukuzibwa n'ekigambo kya Katonda n'essaala.
6
Bino bw'onoobigamba abooluganda, onooba muweereza mulungi owa Kristu Yezu, eyaliisibwa ebigambo by'okukkiriza n'eby'enjigiriza ennungi gye wagoberera.
7
Weewalire ddala enfumo omutali ddiini n'eŋŋambo ensirusiru. Weetendeke mu bulamu obusomi.
8
Kwo okutendeka omubiri kugasa, naye katono, naye byo eby'eddiini bigasa mu byonna, engeri gye birina kye bisuubiza mu bulamu buno ne mu bulamu obulijja.
9
Ekyogerwa kino kya mazima era kisaanye okukwatibwa kyonna.
10
Kino kye tukolerera era kye tulafuubanira, kubanga essuubi lyaffe twalissa mu Katonda omulamu, Omulokozi w'abantu bonna, naddala ow'abo abakkiriza.
11
Bino by'oba olagira n'okuyigiriza.
12
Tokkirizanga n'omu kukunyooma olw'obuvubuka, wabula abakkiriza bawe ekyokulabirako mu kwogera, mu mpisa, mu kwagala, mu kukkiriza ne mu butukuvu.
13
Okutuusa nga nzize, nyiikirira okusoma Ebiwandiiko ebitukuvu, okubuulirira n'okuyigiriza.
14
Togayaaliriranga kirabo ky'olina ekyakuweebwa mu kigambo ky'abalanzi ku olwo olukiiko lw'abakadde lwe lwakussaako emikono.
15
Kino ky'oba weefubirira, kino ky'oba weemalirako, bonna balabe bw'ogenda weeyongera.
16
Weefeeko era fa ne ku ky'oyigiriza, okinywerereko; bw'onookola bw'otyo ojja kwewonya, owonye n'abo abakuwuliriza.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6