bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Timothy 5
1 Timothy 5
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 6 →
1
Akusinga obukulu tomukangavvulanga, wabula mubuulirire nga bwe wandikoze kitaawo; abalenzi abavubuka bayisenga nga baganda bo,
2
abakazi abakulu nga bazadde bo, abakazi abato nga bannyoko mu butukuvu bwonna.
3
Bannamwandu bassengamu ekitiibwa, bwe baba nga bannamwandu aba namaddala.
4
Nnamwandu bw'aba n'abaana oba abazzukulu, abaana basooke bayige obuvunaanyizibwa bwabwe obutukuvu ku maka gaabwe, baddizeewo bazadde baabwe, kubanga kino kisiimibwa mu maaso ga Katonda.
5
Omukazi nnamwandu owa namaddala, asigadde ku bubwe yekka, essuubi lye alissa mu Katonda, era anyiikirira okwegayirira n'essaala ekiro n'emisana;
6
naye oyo ali mu kwejalabya, oyo afudde akyali mulamu.
7
Kino ky'oba obakuutira, babe nga tebaliiko kibavunaanibwa.
8
Oli bw'aba talabirira ŋŋanda ze, naddala ab'omu maka ge, okukkiriza aba akusudde eri, era mubi n'okusinga atakkiriza.
9
Nnamwandu bw'aba nga takka wansi wa myaka nkaaga egy'obukulu, awandiikibwe, singa yali muka musajja omu;
10
ateekwa okuba ng'amanyiddwa olw'ebikolwa bye ebirungi, nga yakuza bulungi abaana be, yayanirizanga abagenyi, yanaazanga ebigere by'abatuukirivu, yadduukiriranga abali mu bizibu, era nga yajjumbiranga buli mulimu mulungi.
11
Naye tokkiriza bannamwandu bato, kubanga bwe balaluka ku Kristu, olwo baagala okuddamu okufumbirwa,
12
bwe batyo ne bavunaanibwa okumenya obweyamo bwabwe obwasooka.
13
Si ekyo kyokka, bayiga n'okulendera, ne bagenda nga babuna amayumba; tebakoma ku kulendera kyokka, naye bazunza n'eŋŋambo, ne beeyingiza mu bitabakwatako n'okwogera bye batandyogedde.
14
Nze ŋŋamba nti bannamwandu abato bandifumbiddwa, bazaale abaana, balabirire amaka gaabwe, baleme kuwa mulabe mukisa gwa kutwogezaako bubi,
15
kubanga abamu bawabidde eri Sitaani.
16
Omukazi omukkiriza bw'aba alina eŋŋanda ze bannamwandu, abalabirire, Ekleziya aleme kubinikibwa mugugu, wabula asobole okuyamba abo bannamwandu aba namaddala.
17
Abakadde abakulembera obulungi bagwanira ekitiibwa kya mirundi ebiri, naddala abo abakola okubuulira ekigambo n'okuyigiriza;
18
Kubanga Ebiwandiiko ebitukuvu bigamba nti: “Ente ewuula eŋŋano, togisibanga mumwa,” era nti: “Omukozi asaanira empeera ye.”
19
Tokkirizanga musango guvunaanibwa mukadde okuggyako ng'alumiriziddwa obujulizi bwa bantu babiri oba basatu.
20
Ate abo abakola ebibi bakangavvule mu maaso ga bonna, abalala batye.
21
Mu maaso ga Katonda n'aga Kristu Yezu n'ag'abamalayika abalonde, nkukuutira okukuuma amateeka gano awatali kusosolamu, nga toliimu kyekubiira.
22
Toyanguyirizanga kussaako mikono, era teweetabanga mu kibi kya mulala; weekuumenga ng'oli mutukuvu.
23
Lekera awo okunywa amazzi gokka, wabula nywangako ne ku vviini entonotono olw'okubeera olubuto lwo n'olw'obulwadde bwo obutatadde.
24
Ebibi by'abantu abamu birabikirawo, era bibakulembeddemu okubalaza ku kibonerezo, naye ebibi by'abalala birabika luvannyuma.
25
Era bwe kityo n'ebikolwa ebirungi birabikirawo, naye ne bwe biba tebirabise, tebisobola kusigala nga byekisizza.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6