bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
James 1
James 1
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 2 →
1
Yakobo, omuweereza wa Katonda n'owa Mukama waffe Yezu Kristu. Ya bika ekkumi n'ebibiri ebisaasaanye mu mawanga. Mirembe.
2
Baganda bange, bwe mugwirwanga ebizibu ebitali bimu, mubeerenga basanyufu,
3
anti mumanyi nti okukkiriza kwammwe bwe kugezebwa, kibaviiramu okugumiikiriza.
4
Okugumiikiriza okwo kutuuse ku mulimu ogutukiridde, mulyoke mutuukirire, mubeere abajjuuliridde, abatalina kibabulako.
5
Oba mu mmwe mulimu eyeetaaga amagezi, asabe Katonda, oyo awa bonna nga taganiriza oba okwekansulula, gajja kumuweebwa.
6
Kyokka asaba asabe n'okukkiriza nga tabuusabuusa n'akatono; abuusabuusa aba ng'amayengo g'ennyanja empewo g'esunda n'egazza eno n'eri.
7
Omuntu ow'engeri eyo aleme kulowooza ng'anaabaako k'afuna ew'Omukama,
8
oyo omuntu, nnampawengwa, atalina w'anyweredde mu buli kintu.
9
Owooluganda omutene asaana yeetendere mu kitiibwa ky'afuna,
10
n'omugagga mu kutoowazibwa kwe, kubanga ajja kuyita ng'ekimuli ky'omuddo.
11
Anti enjuba evaayo n'ebbugumu lyayo n'ekaza omuddo; ekimuli kyakyo ne kigwa, n'obulungi bwakyo ne buggwaawo, n'omugagga bw'aliggweerera atyo mu by'aliko.
12
Omuntu agumira ebigezo yeesiimye; kubanga bw'aliwangula okugezebwa, alifuna engule ey'obulamu Katonda gye yasuubiza abamwagala.
13
Tewabanga aba akemeddwa agamba nti: “Katonda y'ankema,” kubanga Katonda takemwa bwonoonefu era ye taliiko gw'akema.
14
Wabula omuntu akemebwa, bw'atwalirizibwa n'asendebwasendebwa okwegomba kwe.
15
Okwegomba bwe kumala okuba olubuto, ne kuzaala ekibi; ekibi bwe kikula, ne kizaala olumbe.
16
Awo nno, baganda bange abaagalwa, muleme kuwubisibwa.
17
Buli kiweebwa ekirungi na buli kirabo ekituukiridde kiva waggulu, kiva wa Taata owa buli kitangaala, ataliiko kufuukafuuka, oba ekisiikirize ekiva mu kukyukakyuka.
18
Yaggya mu ye n'atuzaala n'ekigambo ky'amazima, tubeere ng'ebibala ebibereberye mu bitonde bye.
19
Baganda bange abaagalwa, kino mukimanye. Buli muntu asaana ayanguyire okuwulira, naye aleme kubeera mwangu kwogera na kusunguwala.
20
Kubanga obusungu bw'omuntu tebukola bya butuukirivu bwa Katonda.
21
Kale nno muleke eri buli bugwagwa na buli bugwenyufu bwonna, mu bwetoowaze mwanirize ekigambo ekyabasigibwamu ekisobola okulokola emyoyo gyammwe.
22
Kyokka mubeere abassa ekigambo mu nkola, naye si abakoma ku kuwulira obuwulizi; okwo kubeera kwerimba.
23
Kubanga singa oli akoma ku kuwulira kwokka n'atassa mu nkola, abeera ng'omusajja eyeeraba mu ndabirwamu amaaso ge nga bwe gaakula,
24
ng'amaze okweraba, n'agenda, ate amangu ago ne yeerabira bw'afaanana.
25
Sso eyeetegereza etteeka ettuufu, etteeka ery'eddembe, n'anywera, n'ataba awulira ate ne yeerabira, naye n'assa mu nkola n'atuukiriza, oyo alyeesiima mu by'akola.
26
Oli alowooza nga musomi, sso nga tatangira lulimi lwe, oyo aguya mutima gwe; eddiini ye temuli nsa.
27
Mu maaso ga Katonda era Taata eddiini ennongoofu, eteriiko bbala, y'eno: okulambula bamulekwa ne bannamwandu mu nnaku zaabwe n'okwekuuma ensi eno ereme kutwonoona.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5