bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
James 4
James 4
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 5 →
1
Entalo ziva wa, n'empaka ziva wa eziri mu mmwe? Teziva ku kino: amaddu gammwe agatabaala mu bitundu by'omubiri gwammwe?
2
Mubaako kye mwegomba ne mutakifuna; ne mutemula ne mukwatibwa ensaalwa naye ne wataba kye mutuukako; olwo ne mulwana, ne mukola entalo. Temulina kubanga temusaba.
3
Musaba, naye ne mutafuna, kubanga musaba bubi, nga mugenderera kubimalira ku maddu gammwe.
4
Mmwe abatali beesigwa! Temumanyi ng'omukwano n'ensi eno gwa bulabe ne Katonda? Buli yenna ateesa okuba mukwano gw'ensi, yeefuula mulabe wa Katonda.
5
Mulowooza Ebiwandiiko byogera bya busa bwe bigamba nti: “Ayayaanira n'obuggya Mwoyo gwe yatusindikira asule mu ffe”?
6
Kyokka eneema gy'awa ekirawo. Kyava agamba nti: “Katonda alwanyisa abeekuza, naye abeetoowaze abagirira ekisa.”
7
Kale nno Katonda mumugondere; Sitaani mumulwanyise, ajja kubadduka.
8
Musembere eri Katonda, naye ajja kubasemberera. Mmwe aboonoonyi, munaabe engalo zammwe zirongooke; mutukuze emitima gyammwe, mmwe bannampawengwa.
9
Munakuwale, mukungubage, mukaabe. Enseko zammwe zifuuke amaziga n'essanyu lifuuke ekyobeera.
10
Mwetoowaze mu maaso ga Katonda, ajja kubagulumiza.
11
Abooluganda, muleke kwogera bubi ku bannammwe; ayogera obubi ku wooluganda aba amulamula, aba ayogedde bubi ku Tteeka; Etteeka ly'aba alamudde. Bw'oba olamudde Etteeka, oba tokola kye ligamba, wabula oba mulamuzi.
12
Awa Etteeka ali omu era ye mulamuzi, y'oyo asobola okuwonya oba okuzikiriza. Ggwe ani olyoke olamule munno?
13
Mulabe eno, mmwe mugamba nti: “Leero oba enkya tujja kugenda mu kibuga kino oba kiri, tumaleyo omwaka nga tusuubula, twefunireyo amagoba”;
14
sso nno temumanyi na bya nkya. Obulamu bwammwe kye ki? Anti buli ng'olufu olulabika akabanga obubanga ne luggwaawo.
15
Sso mwandigambye nti: “Omukama ng'ayagadde, bwe tunaaba abalamu, tunaakola kino oba kiri.”
16
Naye kati mwetendera mu kwekuluntaza kwammwe. Okwetenda okwo kwonna kubi.
17
Buli amanyi ekirungi eky'okukola, n'atakikola, aba akoze ekibi.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5