bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
James 3
James 3
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 4 →
1
Baganda bange, abessa ku gw'okuyigiriza muleme kubeera bangi, kubanga mumanyi nga ffe abayigiriza tuliramulibwa n'obukaali obusingawo.
2
Anti ffenna tusobya mu bingi; oli atasobya mu bigambo, oyo musajja atuukiridde, ayinza n'okufuga omubiri gwe gwonna n'aguwuliza.
3
Bwe tussa amalobo mu kamwa k'embalaasi zitugondere, tusobola okufuga omubiri gwazo.
4
Mulabire ku maato; newandibadde nga manene gatya, nga gavugibwa mpewo za maanyi, naye galambikibwa enkasi egoba entono ne gadda omugoba gy'aba ayagadde.
5
N'olulimi bwe luli. Ku mubiri katundu katono, naye lulina ebinene bingi bye lwetenderamu. Tunuulira akaliro, kenkana wa akookya ekibira ekinene?
6
N'olulimi muliro; olulimi nsi nnamba ey'obugwenyufu mu bitundu by'omubiri gwaffe. Luleeta ebbala ebbi ku mubiri gwonna; luteekera omuliro obutonde bwonna; lwo lwennyini Geyenna y'erukoleeza.
7
Buli kika kya nsolo n'eky'ennyonyi, eky'ebyewalula n'eky'ebitonde mu nnyanja omuntu asobola okukifuga, era kifugwa muntu.
8
Naye mpaawo muntu asobola kufuga lulimi; olulimi kabi akatatuulira awo, lujjudde obusagwa namutta.
9
Lwe tweyamba okutendereza Omukama era Taata, sso era lwe tweyamba okuvumirira abantu abaatondebwa mu nfaanana ya Katonda.
10
Mu kamwa ke kamu mwe muva okutendereza n'okuvumirira. Baganda bange, kino si bwe kyandibadde.
11
Ensulo emu eyinza okufumbukula amazzi agawooma n'agakaawa?
12
Baganda bange, omukunyu gubalako oliva, yadde omuzabbibu gubalako entontogolo z'omukunyu? N'amazzi ag'omunnyu bwe gatayinza kuwa mazzi gawooma.
13
Ani mu mmwe omugezi, ategeera? Oyo ayoleke mu ngeri ennungi gy'ayisaamu ayoleke mu ggonjebwa n'amagezi ebikolwa bye.
14
Naye obanga mu mitima gyammwe mukyalinamu obuggya obuka n'omulugube ogw'okwekkusa, muleke kwepanka; muba mulimba amazima.
15
Amagezi ago si geego agakka nga gava waggulu; ga nsi, si ga mwoyo, ga Sitaani.
16
Awali obuggya n'omulugube gw'okwekkussa, awo wabaawo kutabukatabuka na buli bikolwa omutali nsa.
17
Go amagezi agava waggulu, okusookera ddala, gaba matukuvu, ga ddembe, galekera, ga kisa, gajjudde obusaasizi n'ebibala ebirungi, tegeekubiira, tegeeryanya.
18
Ebibala by'obutuukirivu bisigwa mu ddembe abo abaleesi b'emirembe.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5