bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
James 5
James 5
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
1
Mulabe eno, mmwe abagagga, mwekaabireko nga musindogoma olw'ennaku ezijja okubagwira.
2
Obugagga bwammwe buvunze n'ebyambalo byammwe ennyenje zibiridde.
3
Zaabu wammwe ne ffeeza bitalazze; obutalagge obwo bwe bulibalumiriza; bulirya emibiri gyammwe. Mweterekedde omuliro mu nnaku ez'oluvannyuma.
4
Mulabe, empeera y'abapakasi abaalima ennimiro zammwe gye mwesigaliza, ereekaana; omulanga gw'abaabalimira gutuuse mu matu g'Omukama w'Amagye.
5
Ku nsi mubadde mu kwesanyusa na mu kwejalabya; mu budde obw'okusanjaga mmwe mwali mukkusa mitima gyammwe.
6
Mwasalidde omutuukirivu omusango, ne mumutta; tabalwanyisa.
7
Kale nno, abooluganda, mugumiikirize okutuusa Omukama lw'alijja. Mulabe, omulimi agumiikiriza n'alindirira ebibala by'ettaka eby'omuwendo okutuusa lw'abifuna mu mwaka ogusooka oba ogusembayo.
8
Nammwe nno mugumiikirize, mugumye emitima gyammwe, anti amajja g'Omukama gasembedde.
9
Abooluganda, muleke ono okwemulugunyiza oli, sikulwa nga mulamulibwa; laba omulamuzi ali awo ku miryango.
10
Abooluganda, ng'ekyokulabirako eky'okubonaabona n'obugumiikiriza, mulabire ku balanzi abaayogera mu linnya ly'Omukama.
11
Twesiimisa abo abaaguma. Mwawulira Yobu bwe yaguma, era mwalaba enteekateeka y'Omukama, ng'Omukama bw'ali ow'ekisa, omusaasizi.
12
Naye okusinga byonna, baganda bange, temulayiranga ggulu oba ensi, oba okulayira mu ngeri endala yonna; wabula bwe mugamba nti: “Yee”, mutegeeze yee, bwe mugamba nti: “Nedda”, mutegeeze nedda, sikulwa nga musalirwa omusango.
13
Mu mmwe mulimu ali mu bulumi? Yeegayirire. Mulimu omusanyufu? Ayimbe ennyimba ezitendereza.
14
Mu mmwe mulimu omulwadde? Atumye abakadde b'Ekleziya; bano bamusabire nga bamusiiga omuzigo mu linnya ly'Omukama.
15
Essaala ey'okukkiriza erirokola omulwadde n'Omukama n'amuzza engulu; bw'aliba akoze ebibi, birimusonyiyibwa.
16
Mwatuliragane nno ebibi byammwe ate musabiragane, mulyoke muwonyezebwe. Essaala y'omutuukirivu eteddirira ekola n'amaanyi.
17
Eliya yali muntu wa nkula ye emu nga ffe, yeegayirira n'asaba enkuba ereme kutonnya, nayo n'emala emyaka esatu n'emyezi mukaaga nga tetonnya ku nsi.
18
Ate n'addamu ne yeegayirira, eggulu ne litonnyesa enkuba, n'ettaka ne lireeta ekibala kyalyo.
19
Baganda bange, singa omu mu mmwe awaba n'aleka okukkiriza, wamala wabaawo amukomyawo,
20
oyo ategeere nti buli akomyawo omwonoonyi okuva mu ngeri ze enkyamu, aba alokodde omwoyo gwe mu kufa, era aba abisse ku nnamunkukumbo w'ebibi.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
All chapters:
1
2
3
4
5