bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
James 2
James 2
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 3 →
1
Baganda bange, nga bwe mukkiriza Mukama waffe Yezu Kristu, Mukama ow'Ekitiibwa, muleme kubaamu kusosola.
2
Singa bwe muba mukuŋŋaanye, wayingirayo omuntu ayambadde empeta eza zaabu n'engoye amakula, ne wayingirayo n'omwavu ayambadde ebiziina,
3
mumala mufa ku oli ayambadde engoye amakula, ne mumugamba nti: “Ggwe tuulira wano,” omwavu ye ne mumugamba nti: “Yimirira eri,” oba nti: “Tuula awo wansi ku muziziko gw'ebigere byange,”
4
olwo temusosolaganye, temufuuse balamuzi ab'endowooza embi?
5
Muwulirize, baganda bange abaagalwa: Abo abaavu mu nsi Katonda si be yalonda babe abagagga mu kukkiriza, basikire obwakabaka Katonda bwe yasuubiza abamwagala?
6
Naye mmwe omwavu temumussizzaamu kitiibwa. Abagagga si be babanyigiriza? Si be babawalaawala okubatwala mu mbuga?
7
Si be bo abavuma erinnya eddungi lye muyitibwa?
8
Bwe mutuukiriza Etteeka ery'obwakabaka, nga bwe kiri mu Biwandiiko nti: “Oyagalanga munno nga bwe weeyagala,” muba mukoze bulungi.
9
Naye bwe musosola mu bantu, muba mukoze kibi; Etteeka ligubasalira nti mulimenye.
10
Oli aba akutte Etteeka lyonna amala agwa mu kamu ku lyo, aba amenye lyonna.
11
Anti eyagamba nti: “Toyendanga,” era ye yagamba nti: “Tottanga.” Bw'oba toyenda, naye n'otta, Etteeka oba olimenye.
12
Mwogere, era muyise ng'abantu abagenda okulamulibwa mu tteeka ery'eddembe.
13
Atalaga kisa aliramulibwa awatali kisa; sso ekisa kiwangula okulamulibwa.
14
Baganda bange, oli okugamba nti alina okukkiriza, sso nga talina bikolwa, kigasa ki? Okukkiriza kwe kuyinza okumulokola?
15
Muganda wo oba mwannyoko bw'aba ayita bwereere, talina kaakulya aka buli lunaku,
16
omu mu mmwe amala abagamba nti: “Mugende mirembe, mubugume, mukkute,” awatali kubawa ebyo omubiri bye gwetaaga, kigasa ki?
17
N'okukkiriza bwe kubeera, bwe kutabeera na bikolwa, kubeera kufu.
18
Naye oli ayinza okugamba nti: “Ggwe olina okukkiriza, nze nnina ebikolwa.” Kale ndaga okukkiriza kwo okutalina bikolwa, nange nkulage okwange nga nkola ebikolwa.
19
Ggwe okkiriza nga Katonda ali omu; okola bulungi. Naye n'amasitaani gakkiriza ne gakankana n'okukankana.
20
Musiru ggwe, oyagala okumanya ng'okukkiriza okutaliiko bikolwa temuba kantu?
21
Kitaffe Yiburayimu teyayitibwa mutuukirivu bwe yatambira Yizaake omwana we ku mwaliiro?
22
Olabye nno, okukkiriza kwagenderanga wamu n'ebikolwa. Ebikolwa bye byafuulanga okukkiriza okutuukiridde.
23
Olwo Ebiwandiiko ne bituukirira ebigamba nti: “Yiburayimu yakkiriza Katonda; ekyo ne kimubalirwa ng'obutuukirivu,” n'ayitibwa na mukwano gwa Katonda.
24
Mulabye nno, nti omuntu okufuuka omutuukirivu kiva ku bikolwa, si ku kukkiriza kwokka.
25
Kye kimu era ne Rakabu, malaaya, si bikolwa bye byamuyisa omutuukirivu bwe yayaniriza ababaka ate n'abafulumiza mu kkubo eddala?
26
Ng'omubiri awatali mwoyo bwe guba omufu, n'okukkiriza awatali bikolwa bwe kubeera okufu.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5