bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Lamentations 1
Lamentations 1
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 2 →
1
Kisigadde kitya ettayo ekibuga ekyali kijjudde abantu? Kifuuse kitya nga nnamwandu olumu ekyali ekitutumufu mu mawanga? Ekyali omumbejja mu matwale, kati kissiddwa ku kasanvu.
2
Akaaba obutasiriikirira ekiro kyonna, amaziga gamukulukutira ku matama. Mu baganzi be bonna temuli amukubagiza; mikwano gye bonna bamusalidde enkwe, bamufuukidde balabe.
3
Yuda yagenda mu buwaŋŋanguse oluvannyuma lw'ennaku n'okutuntuzibwa. Asula eyo mu mawanga, naye tasanga buweerero. Abamukijjanya bonna bamukutte wakati mu nnaku ze.
4
Amakubo ga Siyoni gakungubaga kubanga tewali bajja ku mbaga ze enkulu eziragiddwa. Emiryango gye gyonna mikalu, ne bakabona be basinda; bawala be embeerera badooba, naye yennyini ennaku emuyinze.
5
Abalabe be kati be bakama be; bo abalabe be bali mirembe. Omukama amulabizza ennaku olw'okubeera emisango gye emingi. Abaana be bagenze mu busibe, be bakulembeddemu omulabe.
6
Muwala wa Siyoni ekitiibwa kimuwedde, abakungu be bali ng'ennangaazi ezibuliddwako eddundiro; badduka nga tebaliimu twanyi mu maaso g'ababagoba.
7
Yeruzaalemu ajjukira ennaku z'okubonaabona kwe n'okubungabunga n'eby'obugagga bwe byonna mu nnaku ez'edda; abantu be lwe baagwa mu mikono gy'abalabe, waabula adduukirira; abalabe be bamutunuulira ne baseka okulaba ng'azikirira.
8
Yeruzaalemu yayonoonera ddala, kyavudde afuuka ekintu ekyenyinyalwa, bonna abaamugulumizanga bamugaya, kubanga baalaba obwereere bwe; ye yennyini asinda n'akyukira eri.
9
Obujama bwe bukwatidde ku mivuluya gye, teyalowooza ku binaamujjira. Engwa ye kyeyava yeewuunyisa, nga talina n'amukubagiza. “Ayi Mukama, laba bwe mbonaabona, kubanga omulabe wange awangudde!”
10
Omulabe yakuba amagalo ku byobugagga bwe byonna. Yalaba ab'amawanga bwe bayingira mu kitukuvu kye, abo be wali ogaanyi okuyingira mu lukuŋŋaana lwo.
11
Abantu be bonna basinda, banoonya akookulya; eby'omuwendo byabwe baabiwaayo bagule emmere bezzeemu ku twanyi. “Ayi Mukama, tunula, naawe olabe, kubanga nnyoomeddwa.”
12
“Kino tekibakwatako, mwenna abayita wano? Mutunule, mulabe: waliyo ennaku eri ng'ennaku yange gye bandabisa, Omukama gye yantegekera ku lunaku olw'okwesera kw'obusungu bwe?
13
“Yansindikira omuliro okuva waggulu, n'agusenseza mu magumba gange; ebigere byange n'abitaayiza n'ekitimba; anzizizza ennyuma, andese matongo, olunaku lwonna ndi awo nnyenjebuse.
14
“Emisango gyange yagisibamu ekikoligo, n'engalo ze ati n'agitugga wamu; ginnyambaziddwa mu bulago; amaanyi gange aganafuyizza. Omukama ampaddeyo mu mikono gy'abo be siyinza kuziyiza.
15
“Omukama azize abatabaazi bange bonna abali ewange; ayise eggye linnwanyise, libetente abavubuka bange. Omukama asogola mu ssogolero ly'evviini, asambiridde embeerera muwala wa Yuda.
16
“Kyenva nkaaba olwa bino byonna; amaaso gange gattulukuka amaziga, kubanga eyandinkubagizza andi wala, oyo eyandinzizizzaamu amaanyi. Abaana bange balekeddwa awo ttayo, kubanga omulabe asinzizza amaanyi.
17
“Siyoni akubiira emikono, naye tewali amukubagiza. Omukama alagidde ku Yakobo nti baliraanwa be bafuuke balabe be. Yeruzaalemu afuuse ng'ekyenyinyalwa mu makkati gaabwe.
18
“Omukama mutuukirivu, kubanga najeemera ekiragiro kye. Ayi amawanga mwenna, muwulire, era mulabe ennaku zange: bawala bange embeerera n'abavubuka bagenze mu busibe.
19
“Nayita mikwano gyange, naye bandese mu bbanga; bakabona bange n'abakadde bazikiriridde mu kibuga nga banoonya akamere bezzeemu ku ndasi.
20
“Ayi Mukama, laba bwe ndi mu nnaku, munda mumbabuukirira; omutima gunfuukuuse muli, kubanga ddala nali mujeemu. Ebweru ekitala kiwemmenta, ate ekiri mu nyumba kiri ng'olumbe.
21
“Wulira bwe nsinda, naye tewali ankubagiza. Abalabe bange bonna bawulidde ku kabi ke ndimu, ne basanyukira kye wakola. Leeta olunaku lwe walangirira, nabo bafaanane nga nze.
22
“Okwonoona kwabwe kwonna kujje mu maaso go; nabo bakole nga bwe wankola olw'emisango gyange gyonna. Okusinda kwange kungi, n'omutima gwange muyenjebufu.”
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5