bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Lamentations 2
Lamentations 2
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 3 →
1
Nga Omukama mu busungu bwe abisse muwala wa Siyoni ne kazigizigi! Ekitiibwa kya Yisirayeli akiwanudde okuva mu ggulu n'akikuba ku nsi; mu lunaku lw'obusungu bwe, tajjukidde na muziziko gwa bigere bye.
2
Omukama asaanyizzaawo awatali kusaasira ebisulo bya Yakobo byonna; mu busungu bwe azikirizza ebigo bya muwala wa Yuda; asudde ku ttaka n'aswaza obwakabaka n'abakungu baabwo.
3
Mu busungu bwe obwesera akutuddeko obuyinza bwa Yisirayeli bwonna. Yakisa ddyo we ataasa omulabe bwe yasembera; ayaka mu Yakobo ng'omuliro ogubuubuuka, ogwokya buli kigwetoolodde.
4
Omusaale gwe aguwese ng'omulabe, ddyo we mwetegefu; ng'omulabe asanjaze bonna abaali basanyusa okulaba; ku weema y'omuwala wa Siyoni abunduguddeko essungu lye ng'omuliro.
5
Omukama afuuse ng'omulabe, Yisirayeli amumize bugobo; amize bugobo embiri ze zonna, ebigo bye byonna abisaanyizzaawo, ayongedde obungi eri muwala wa Yuda okukuba ebiwoobe n'okukungubaga.
6
Amenyeewo ekisulo kye ng'ennimiro, azikirizza ekifo kye eky'ensisinkano. Omukama yeerabizza Siyoni embaga ze enkulu eziragiddwa ne Sabbaato; mu busungu bwe anyoomye kabaka ne kabona.
7
Omukama azize omwaliiro gwe, yeenyiye ekitukuvu kye; awaddeyo mu mikono gy'omulabe ebisenge by'amayumba ge. Basitudde oluyoogaano mu nnyumba y'Omukama nga ku mbaga enkulu eziragiddwa.
8
Omukama yamalirira okumenyawo bbugwe abugiriza muwala wa Siyoni; yamupimako n'olukoba olupima, omukono gwe teyaguziyiza kuzikiriza, n'aleka bbugwe n'ekigo okukaaba, byombi ne biyenjebuka.
9
Emiryango gye gisse mu ttaka, emiyingo gye yagyonoona n'agimenya. Kabaka we n'abakungu be bawaŋŋangusiddwa mu mawanga; etteeka tewakyali n'abalanzi be tebakyafuna kulabikirwa kuva wa Mukama.
10
Abakadde ba muwala wa Siyoni batudde ku ttaka mu kasirise; beeyiiridde evvu ku mitwe gyabwe, beesibye ebikutiya; bawala ba Yeruzaalemu embeerera, bakotekedde emitwe gyabwe ku ttaka.
11
Amaaso gange gayimbadde olw'okukaaba; munda mumbabuukirira. Omutima gwange guyiise ku ttaka olw'okuzikirira kw'omuwala w'abantu bange; kubanga omuto n'omuwere bagudde eŋŋanzi mu nguudo z'ekibuga.
12
Bakaabirira bannyaabwe nti: “Eŋŋano n'evviini biruwa?” bwe baabanga bayenjebuse ng'abafumite ku nguudo z'ekibuga, bwe baabanga batondokera ku mibiri gya bannyaabwe.
13
Nnaakwogerako ki, nnaakugeranya ku ki, ayi muwala wa Yeruzaalemu? Nnaakufaananya ki ndyoke nkukubagize, ayi embeerera, muwala wa Siyoni? Ekiwundu kye kyenkana ennyanja obuwanvu; ani anaakuwonya?
14
Abalanzi bo bye baalabikirwa, byali bya bulimba na kuguya; tebaayerula kibi kyo ozze emikisa gyo. Bye baalabikirwanga ku ggwe bwali bulimba na kubuzaabuza.
15
Bonna ababa bayise ekkubo eryo, engalo bazikubamu okubeera ggwe, bafuuwa ekiwa ne bakunyeenyeza omutwe ku lwa muwala wa Yeruzaalemu nti: “Kino kye kibuga kye baayitanga Entikko y'Obulungi, essanyu ly'ensi yonna?”
16
Abalabe bo bakwasamiza akamwa, bonna wamu okukuvuma; bafuuwa ekiwa ne baluma obujiji, ne bagamba nti: “Tumumize bugobo; luno lwe lunaku lwe twalindanga, tutuuse ne tulwerabirako.”
17
Omukama akoze bye yateesa; atuukirizza kye yagamba, kye yalagira okuva edda. Azikirizza awatali kusaasira; alese omulabe n'akweyagalirako, amaanyi g'abalabe bo n'agasukkulumya.
18
Omutima gwabwe guwanjagira Omukama, Ggwe bbugwe w'omuwala wa Siyoni. Leka amaziga go gakulukute ng'omugga emisana n'ekiro; toweera, eriiso lyo tolireka kuwummula.
19
Situka, tema omulanga ekiro, mu masooka g'ebisisimuka; omutima gwo guyiwe ng'amazzi mu maaso g'Omukama; situlira gy'ali emikono gyo, olw'obulamu bw'abaana bo abayenjebuse olw'enjala mu buli masaŋŋanzira ga luguudo.
20
“Ayi Mukama, tunula, wekkaanye: Ani gwe wali oyisizza otyo? Bwe batyo abakazi balye ezzadde lyabwe, abaana be balabiridde n'okwagala? Bakabona n'abalanzi bandittiddwa mu kitukuvu ky'Omukama?
21
“Omwana n'omukadde beebaka wamu mu nfuufu ku luguudo; bawala bange embeerera n'abavubuka bange baafa ekitala; wabatta mu lunaku lw'obusungu bwo, wabasanjaga nga tosaasira.
22
“Wankoowoolera, nga ku lunaku olukulu, ebyentiisa okuva ku njuyi zonna. Ku lunaku lw'obusungu bw'Omukama tewaali kaawonawo, tewaali yasumattuka; be nalera ne nkuza omulabe wange abamazeewo.”
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5