bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Lamentations 3
Lamentations 3
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 4 →
1
Nze muntu eyalaba ennaku olw'omuggo gw'obusungu bwe.
2
Angobye n'antwala mu nzikiza, si mu kitangaala;
3
mazima ankyusirizza omukono gwe emirundi n'emirundi olunaku lwonna.
4
Olususu lwange n'ennyama abikozzezza, amagumba gange agabwebwetudde.
5
Anzingizza n'anneetoolooza n'obukaawu n'ebizibu.
6
Antadde mu nzikiza mbeere omwo ng'abafu abaafa edda.
7
Anzimbyeko olugo sisobola kutoloka; enjegere zange azongedde obuzito.
8
Ne bwe ndeekaana ne mpanjaga essaala zange azizibiikiriza.
9
Amakubo gange agazibye n'agayinja amabajje, obukubo bwange abunyoddenyodde.
10
Ambeeredde ng'eddubu eriteeze, ng'empologoma mu bukukumo.
11
Ampugudde mu makubo gange n'antaagulataagula, andese ttayo.
12
Awese omusaale gwe n'anzisaawo ng'entomo y'obusaale bwe.
13
Alasizza mu mutima gwange obusaale bw'omufuko gwe.
14
Nfuuse eky'okusekererwa mu bantu bange, era oluyimba lwe bayeeya olunaku lwonna.
15
Anzijuzizza n'obukaawu, antamiizizza n'omususa.
16
Amannyo gange agamenyedde ku nkokoto, antoowazizza mu vvu.
17
Anzigyeeko eddembe, neerabidde n'ekiyitibwa essanyu.
18
Kyenva ŋŋamba nti: “Ettendo lyange lizaamye, n'essuubi lyange mu Mukama.”
19
Jjukira obunaku bwange n'okubungabunga, obukaawu n'endulwe.
20
Omutima gwange gukirowoozaako butamala, omwoyo gwange gunnebbise.
21
Naye bino bye nzijukira, bwe ntyo ne nfuna essuubi:
22
Olw'ekisa ky'Omukama tetuggweekerera, obusaasizi bwe tebukoma.
23
Buli makya bidda buggya; “Oli mwesigwa nnyo!”
24
ŋŋamba nti: “Omukama gwe mugabo gwange; kyennaava mmulindirira.”
25
Omukama mulungi eri abo abasuubira mu ye, eri abo abamunoonya.
26
Kirungi okulindirira mu kasirise okulokola kw'Omukama.
27
Kirungi omuntu okwetikka ekikoligo ng'akyali muto.
28
Atuule yekka mu kasirise, kubanga amuzitoowerezza.
29
Obwenyi bwe abuziike mu nfuufu, osanga mwe muli essuubi.
30
Ateerawo ettama oyo amukuba, ajjule ebivumo.
31
Kubanga Omukama teyeesammula muntu mirembe gyonna.
32
Newandibadde alabya ennaku, naye asaasira, kubanga ekisa kye kiyitirivu obungi.
33
Kubanga tasanyukira mu kunakuwaza n'okubonyaabonya abaana b'abantu.
34
Okulinnyirira n'ebigere abasibe bonna mu ggwanga,
35
okusendera eri eddembe ly'omuntu mu maaso g'Ali Waggulu Ddala,
36
omuntu obutalamulibwa mu bwenkanya, ebyo Omukama tabiraba?
37
Ani oyo eyayogera ne kikolebwa Omukama nga si y'alagidde?
38
Mu kamwa k'Ali Waggulu Ddala si mwe muva ebibi n'ebirungi?
39
Lwaki omuntu omulamu yandyemulugunyizza, omuntu ng'abonerezeddwa olw'ebibi bye?
40
Twekenneenye amakubo gaffe, tugeetegereze, tukomewo eri Omukama.
41
Tusitule emitima n'emikono gyaffe eri Katonda ali mu ggulu, tugambe nti:
42
“Twasobya ne tujeema, naawe tosonyiye.
43
“Weebikka obusungu n'otuwondera, n'otusanjaga awatali kusaasira.
44
Weezingiridde ekire essaala kyeteesobole kuyitamu.
45
Otufudde bisejja na bisasiro mu mawanga.
46
“Abalabe baffe bonna batwasamizza akamwa.
47
Ebitugwiridde ntiisa na kugwa mu bunnya, kuvujagibwa na kusaanyizibwawo.
48
Amaaso gange gakulukuta emyala gy'amaziga olw'abantu bange okuzikirizibwa.”
49
Eriiso lyange liyiwa amaziga obutasalako, awatali kuweerako,
50
okutuusa Omukama mu ggulu lw'anaatunula wansi n'alaba.
51
Amaaso gange gandeetera okunakuwala, olw'ekigudde ku bawala b'ekibuga kyange bonna.
52
Banjigganya ng'akanyonyi abo abankyawa awatali nsonga.
53
Baageza okusaanyaawo obulamu bwange mu kinnya, ne bankasuukirira amayinja.
54
Amazzi gambikka nzenna omutwe, ne ndowooza nti: “Nfudde!”
55
“Nakowoola erinnya lyo, ayi Mukama, nga nnyima ku ntobo y'ekinnya.
56
Wawulira okuwanjaga kwange: ‘Toggala matu go nga mpanjaga onnyambe.’
57
Bwe nakukoowoola, wasembera, n'oŋŋamba nti: ‘Totya.’
58
“Ayi Mukama, otadde omwoyo ku nsonga yange, owonyezza obulamu bwange.
59
Ayi Mukama, olabye akabi ke bankola, lamula ensonga yange.
60
Olabye ekkonda lyabwe bwe lyenkana, byonna bye banneewereddemu.
61
“Ayi Mukama, owulidde okuvuma kwabwe, byonna bye banneewereddemu:
62
obwama n'okumuumuunya kw'abansitukiddemu nga bandiko olunaku lwonna.
63
Laba, babe nga batudde oba nga bayimiridde, nze luyimba lwe bayeeya.
64
“Ayi Mukama, basasule ng'ogerera ku mikono gyabwe bye gyakola.
65
Bawe okuguguba mu mutima, n'ebikolimo byo bibabeereko.
66
Mu busungu bwo bawondere obasaanyeewo wansi w'eggulu lyo, ayi Mukama.”
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5