bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Lamentations 4
Lamentations 4
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 5 →
1
Zaabu afumye atya, zaabu omulungi atalazze atya? Amayinja amatukuvu gasaasaanye mu nsonda ya buli luguudo.
2
Batabani ba Siyoni abaali ab'omuwendo ab'ebbeeyi okwenkana zaabu omukuŋŋunte, batwalibwa batya ng'ensumbi ez'ebbumba, omulimu gw'emikono gy'omubumbi?
3
N'ebibe biggyayo amabeere gaabyo ne biyonsa obwana bwabyo; naye muwala w'abantu bange akambuwadde nga maaya mu ddungu.
4
Olulimi lw'omuwere ayonka lumukwatidde ku kibuno olw'ennyonta; amabujje gaasaba emmere, naye tewaali agigawa.
5
Abaalyanga ebicepere bataayira mu nguudo; abaakulira mu ngoye entwakaavu baavulira mu lubungo.
6
Ekibi ky'omuwala w'abantu bange kinene n'okusinga ekya Sodoma, ekyazikirizibwa mu kaseera obuseera nga tewali na mukono gukikutteko.
7
Abakungu baakyo baali basinga omuzira okutukula, nga beeru okusinga amata, emibiri gyabwe nga mimyufu okukira eddulu, mu ndabika baali ng'ejjinja lya saffiro.
8
Naye kati mu ndabika baddugala okusinga enziro, ku nguudo tebakyategeerekeka, ensusu zaabwe zetuggidde ku magumba gaabwe, zikaze okwenkana oluku.
9
Abattibwa ekitala baali kale kale okusinga abaafa enjala; abo abaafumitibwa bakenena olw'okubulwa akookulya okuva mu nnimiro.
10
N'emikono gyabwe abakazi ab'omutima omusaasizi baafumba abaana baabwe; abo ye yali emmere yaabwe nga muwala w'abantu bange azikiriziddwa.
11
Omukama alaze obuswandi bwe bwonna, afukumudde obusungu bwe obwesera, ateekedde omuliro mu Siyoni, oguwemmense emisingi gyakyo.
12
Bakabaka b'ensi tebakkiriza, wadde bonna abasula mu nkulungo y'ensi, nti omulabe n'omuzigu baliyingira mu miryango gya Yeruzaalemu.
13
Naye ekyo kyabaawo olw'ebibi by'abalanzi be n'olw'obugwenyufu bwa bakabona be abaayiwa mu makkati ge omusaayi gw'abatuukirivu.
14
Baatangatanga mu nguudo nga bamuzibe, nga basaabaanye omusaayi, ne wataba n'omu asobola kukwata ku byambalo byabwe.
15
“Mugende, temuli balongoofu,” bwe batyo bwe baabawereekerezanga, “mugende, mugende, temubaako kye mukwatako!” Bwe badduka, baatangatanga, ab'amawanga ne bagamba nti: “Na wano tebajja kusengawo.”
16
Omukama yennyini abasaasaanyizza, takyaddamu kubatunuulira; bakabona tebassibwamu kitiibwa, n'abakadde tebaalagwa kisa.
17
Amaaso gaffe gayimbadde olw'okutunula nga tulinda obuyambi obutajja; twayima mu minaala gyaffe ne tulindirira, eggwanga eritaasobola kutulokola.
18
Basuula enkessi buli we tuyita, tuleme kuyita mu makubo gaffe; entuuko zaffe zisembedde; ennaku zaffe zisigadde mbale, kubanga enkomerero yaffe etuuse.
19
Abaali batuwondera baali bawenyuka okusinga empungu ez'oku ggulu; baatugoba okutuyisa mu nsozi, ne batuteegera mu ddungu.
20
Omukka gw'emivumbo gyaffe, omusiige w'Omukama, yakwatirwa mu mutego gwabwe, oyo gwe twayogerangako nti: “Mu kisiikirize kyo mwe tunaabeeranga nga tuli eyo mu mawanga.”
21
Sanyuka ojaganye, muwala wa Edomu ggwe asula mu nsi y'e Wuuzi; naye n'ewuwo ekikompe kiriweerezebwayo; olitamiira ne weereka bukunya.
22
Ekibonerezo ky'obugwenyufu bwo kiwedde, ayi muwala wa Siyoni, takyakukuumidde mu buwaŋŋanguse nate; naye ggwe, muwala wa Edomu, ajja kubonereza obugwenyufu bwo, ayanike ebibi byo.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5