bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Ephesians 1
Ephesians 1
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 2 →
1
Pawulo, omutume wa Kristo Yesu olw'okwagala kwa Katonda, eri abatukuvu abali mu Efeso n'abakkiriza mu Kristo Yesu.
2
Ekisa kibeerenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo.
3
Yeebazibwe Katonda Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, eyatuweera mu Kristo buli mukisa gwonna ogw'Omwoyo oguva mu bifo eby'omu ggulu;
4
Kubanga yatulondera mu ye ng'ensi tennaba kutondebwa, ffe okubeera abatukuvu era abatalina kyakunnenyezebwa.
5
Yatwawula edda mu kwagala okubeera abaana be okuyita mu Yesu Kristo, nga bwe yasiima olw'okuteesa kwe,
6
ekitiibwa eky'ekisa kye kiryoke kitenderezebwenga, kye yatuwa obuwa mu oyo Omwagalwa.
7
Mu ye tulina okununulibwa okuyita mu musaayi gwe, okusonyiyibwa ebyonoono byaffe, ng'obugagga obw'ekisa kye bwe buli,
8
kye yasukkiriza gyetuli mu magezi gonna n'okutegeera kwonna.
9
Kubanga yatumanyisa mu magezi n'okutegeera ekyama eky'okwagala kwe, nga bwe yasiima yekka, okusinziira ku nteekateeka ze yategeka edda mu Kristo.
10
Entegeka ezatuukirira mu kiseera kyazo, okugattira awamu ebintu byonna mu Kristo, ebiri mu ggulu n'ebiri ku nsi.
11
Mu oyo naffe mwe twafuukira abasika, bwe twayawulibwa edda mu kumalirira kw'oyo akola byonna nga bw'ayagala mu kuteesa kwe.
12
Ffe abaasooka okusuubira mu Kristo, twategekebwa n'okulondebwa tulyoke tubeerewo olw'okutendereza ekitiibwa kye.
13
Mu oyo nammwe, abawulira ekigambo eky'amazima, Enjiri ey'obulokozi n'okukkiriza bwe mwakkiriza, mwateekebwako envumbo ey'Omwoyo Omutukuvu eyasuubizibwa.
14
Oyo gwe musingo gw'obusika bwaffe, okutuusa envuma ya Katonda lw'erinunulibwa, ekitiibwa kye kitenderezebwe.
15
Bwe nnawulira okukkiriza Mukama waffe Yesu okuli mu mmwe, n'okwagala kwe mulaga abatukuvu bonna,
16
kyenva sirekangayo kwebaza, nga mboogerako mu kusaba kwange.
17
Nsaba Katonda wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe ow'ekitiibwa, abawe omwoyo ogw'amagezi n'ogw'okubikkulirwa mu kumutegeera ye.
18
Emyoyo gyammwe bwe gibikkulibwa mulyoke mumanye essuubi ery'okuyita kwe bwe liri, n'obugagga obw'ekitiibwa eky'obusika bwe mu batukuvu bwe buli.
19
Era n'obukulu obw'amaanyi ge agasinga ennyo eri ffe abakkiriza bwe buli, ng'obuyinza bw'amaanyi ge bwe bukola.
20
Ago ge yakozesa mu Kristo, bwe yamuzuukiza okuva mu bafu, n'amutuuza ku mukono gwe ogwa ddyo mu bifo eby'omu ggulu,
21
waggulu ennyo okusinga okufuga kwonna n'obuyinza n'amaanyi n'obwami na buli linnya eryatulwa si mu mirembe gino gyokka naye ne mu egyo egigenda okujja.
22
N'ateeka byonna wansi w'ebigere bye, n'amuteekawo okuba omutwe ku byonna eri ekkanisa,
23
gwe mubiri gwe, okutuukirira ku oyo atuukiriza byonna mu byonna.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6