bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Ephesians 2
Ephesians 2
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 3 →
1
Era nammwe yabazuukiza bwe mwali nga mufiiridde mu byonoono n'ebibi byammwe,
2
bye mwatambulirangamu edda ng'emirembe egy'ensi eno bwe giri, okugobereranga omukulu w'obuyinza obw'omu bbanga, omwoyo ogukola kaakano mu baana abajeemu.
3
Naffe fenna abo be twatambulirangamu edda mu kwegomba kw'omubiri gwaffe, nga tukolanga omubiri n'ebirowoozo bye byagala, ne tubeeranga olw'obuzaaliranwa abaana b'obusungu, nga n'abalala.
4
Naye Katonda, kubanga ye mugagga w'ekisa, olw'okwagala kwe okungi kwe yatwagala ffe,
5
bwe twali nga tufiiridde mu byonoono byaffe, yatufuula abalamu awamu ne Kristo (mwalokoka lwa kisa),
6
n'atuzuukiza wamu naye, n'atutuuza wamu naye mu bifo eby'omu ggulu mu Kristo Yesu.
7
Bwatyo mu mirembe egigenda okujja alyoke alage obugagga obusinga ennyo obw'ekisa kye mu bulungi obuli gyetuli mu Kristo Yesu.
8
Kubanga mwalokoka lwa kisa lwa kukkiriza; so tekwava gye muli, kye kirabo kya Katonda,
9
tekwava mu bikolwa, omuntu yenna aleme okwenyumirizanga.
10
Kubanga ffe tuli mulimu gwe, abaatonderwa mu Kristo Yesu olw'ebikolwa ebirungi, Katonda bye yasooka okuteekateeka ffe okubitambulirangamu.
11
Kale mujjukire ng'edda mmwe, abaali ab'amawanga mu mubiri, Abakomole be bayita Abataakomolebwa, mu mubiri okukolebwa n'emikono;
12
nga mu biro biri mwali nga muli wala ne Kristo, mwali nga mubooleddwa mu kika kya Isiraeri, era mwali bannamawanga eri endagaano ez'okusuubiza, nga temulina kusuubira, nga temulina Katonda mu nsi.
13
Naye kaakano mu Kristo Yesu mmwe abaali ewala edda musembezebwa olw'omusaayi gwa Kristo.
14
Kubanga ye gye mirembe gyaffe, eyafuula byombi ekimu, n'amenyawo ekisenge ekya wakati ekyawula,
15
bwe yamala okuggyawo mu mubiri gwe obulabe, obwali ku bipande eby'ebiragiro n'amateeka; alyoke atonde omuntu omuggya mu kifo kyebyo byombi, okuleeta emirembe.
16
Era alyoke atabaganye byombi eri Katonda mu mubiri gumu olw'omusalaba, bwe yattira obulabe ku gwo.
17
N'ajja n'ababuulira emirembe mmwe abaali ewala, era n'emirembe abo abaali okumpi;
18
kubanga ku bw'oyo naffe tusobola okusembera eri Kitaffe mu Mwoyo omu.
19
Kale bwe mutyo temukyali bannamawanga na bayise, naye muli ba kika kimu n'abatukuvu, era ba mu nnyumba ya Katonda.
20
Kubanga mwazimbibwa ku musingi gw'abatume ne bannabbi, Kristo Yesu yennyini nga lye jjinja eddene ery'oku nsonda.
21
Mu ye buli nnyumba yonna, bw'egattibwa obulungi, ekula okubeeranga Yeekaalu entukuvu mu Mukama waffe;
22
era mu ye nammwe muzimbibwa wamu okubeeranga ekisulo kya Katonda mu Mwoyo.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6