bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Ephesians 5
Ephesians 5
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 6 →
1
Kale mufaananenga Katonda, ng'abaana abaagalwa;
2
era mutambulirenga mu kwagala, era nga Kristo bwe yabaagala mmwe, ne yeewaayo ku lwaffe okubeera ekirabo eky'evvumbe eriwunya obulungi era ssaddaaka eri Katonda.
3
Naye obwenzi n'obugwagwa bwonna n'okwegomba n'okwogerebwa tebyogerebwangako mu mmwe, kubanga ebyo tebigwanira batukuvu.
4
Tewaabeerangawo eby'ensonyi, newakubadde ebinyumizibwa eby'obusiru, newakubadde okubalaata, ebitasaana, naye waakiri wabeerengawo okwebazanga.
5
Kubanga ekyo mukitegeerera ddala nga tewali mwenzi, oba mugwagwa, oba eyeegomba, ye oyo asinza ebifaananyi, alina obusika mu bwakabaka bwa Kristo ne Katonda.
6
Omuntu yenna tabalimbanga n'ebigambo ebitaliimu, kubanga olw'ebyo obusungu bwa Katonda bujja ku baana abatawulira.
7
Kale temussanga kimu nabo;
8
kubanga edda mwali kizikiza, naye kaakano muli musana mu Mukama waffe, mutambulenga ng'abaana b'omusana
9
(kubanga ebibala by'omusana biri mu bulungi bwonna n'obutuukirivu n'amazima),
10
nga mukeberanga Mukama waffe ky'ayagala bwe kiri.
11
Temussanga kimu n'ebikolwa ebitabala eby'ekizikiza, naye waakiri mubibuulirirenga bubuulirizi;
12
kubanga kya nsonyi n'okubyogerako ebyo bye bakola mu kyama.
13
Naye ebigambo byonna, bwe bibuulirirwa, omusana gubirabisa, kubanga buli ekirabisibwa gwe musana.
14
Kyava ayogera nti, “Zuukuka, ggwe eyeebase, ozuukire mu bafu, Kristo anaakwakira.”
15
Kale mutunule nnyo bwe mutambulanga, si ng'abatalina magezi, naye ng'abalina amagezi;
16
nga mweguliranga ebbanga, kubanga ennaku zino mbi.
17
Kale temubeeranga basirusiru, naye mutegeerenga Mukama waffe ky'ayagala bwe kiri.
18
So temutamiiranga mwenge, kubanga mu gwo mulimu okwegayaggula, naye mujjulenga Omwoyo;
19
nga mwogereganyanga mu zabbuli n'ennyimba n'ebiyiiye eby'Omwoyo, nga muyimbanga, nga mumukubiranga ennanga mu mutima gwammwe Mukama waffe.
20
Mwebazanga Katonda Kitaffe ennaku zonna olwa byonna mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo.
21
Muwuliraganenga olw'okussamu Kristo ekitiibwa.
22
Abakazi, muwulirenga babbammwe, nga bwe muwulira Mukama waffe.
23
Kubanga omusajja gwe mutwe gwa mukazi we, era nga Kristo bw'ali omutwe gw'ekkanisa, omubiri gwe, era nga ye yennyini ye mulokozi waayo.
24
Naye ng'ekkanisa bw'ewulira Kristo, n'abakazi bwe batyo bawulirenga babbaabwe mu buli kigambo.
25
Abasajja, mwagalenga bakazi bammwe, era nga Kristo bwe yayagala ekkanisa, ne yeewaayo ku lwayo;
26
alyoke agitukuze ng'amaze okugirongoosa n'okuginaaza n'amazzi mu kigambo.
27
Alyoke agyereetere yennyini ekkanisa ey'ekitiibwa, nga terina bbala newakubadde olufunyiro newakubadde kyonna ekifaanana nga bino; naye ebeere entukuvu, eteriiko bulema.
28
Era bwe kibagwanidde bwe kityo abasajja okwagalanga bakazi baabwe bennyini ng'emibiri gyabwe bennyini. Ayagala mukazi we yennyini, yeeyagala yekka.
29
Kubanga tewali muntu eyali akyaye omubiri gwe yennyini, naye aguliisa agujjanjaba, era nga Kristo bw'ajjanjaba ekkanisa;
30
kubanga tuli bitundu bya mubiri gwe.
31
Omuntu kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we; nabo bombi banaabanga omubiri gumu.
32
Ekyama kino kikulu, naye njogera ku Kristo n'ekkanisa.
33
Naye era nammwe buli musajja ayagalenga mukazi we nga bwe yeeyagala yekka; n'omukazi assengamu bba ekitiibwa.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6