bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Ephesians 3
Ephesians 3
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 4 →
1
Olw'ensonga eno, nze Pawulo, omusibe wa Yesu Kristo ku lwammwe ab'amawanga,
2
nsuubira nga mwawulira obuwanika obw'ekisa kya Katonda kye nnaweebwa ku lwa mmwe,
3
n'engeri ekyama ekyo gye kyantegeezebwamu mu kubikkulirwa, nga bwe n'awandiika edda mu bigambo ebitono.
4
Bwe munaasoma bino munaamanya okutegeera kwange okw'ekyama kya Kristo.
5
Ekyo ekitaategeezebwa baana b'abantu, mu mirembe egy'edda nga kaakano bwe kibikkuliddwa abatume be abatukuvu ne bannabbi mu Mwoyo.
6
Eno y'engeri ab'amawanga gye babeera, abasikira awamu, era ab'omubiri ogumu, era abassa ekimu mu byasuubizibwa mu Kristo Yesu olw'Enjiri.
7
Olw'Enjiri eno, nnafuulibwa omuweereza waayo, ng'ekirabo eky'ekisa kya Katonda bwe kiri kye nnaweebwa ng'okukola kw'amaanyi ge bwe kuli.
8
Nze, omuto okusinga abato ab'omu batukuvu bonna, nnaweebwa ekisa kino, okubuuliranga ab'amawanga obugagga bwa Kristo obutanoonyezeka;
9
n'okumulisizanga bonna balabe entegeka ye kyama kino bwe kiri, ekyakwekebwa okuva edda n'edda lyonna mu Katonda eyatonda byonna.
10
Kaakano ng'ayita mu kkanisa, Katonda ayagala amanyise amagezi ge amangi, eri abaamasaza n'ab'obuyinza mu bifo eby'omu ggulu.
11
Ekyo yakitegeka okuva edda nedda, n'akituukiririza mu Kristo Yesu Mukama waffe.
12
Mu ye mwe tuggya obuvumu, n'obugumu okumusemberera olw'okumukkiriza.
13
Kyenva nsaba mmwe mulemenga okuddirira olw'ebibonoobono byange ku lwammwe, ebyo kye kitiibwa kyammwe.
14
Kyenva nfukaamirira Kitaffe,
15
buli kika eky'omu ggulu n'eky'oku nsi kwe kiggya erinnya,
16
abawe mmwe, ng'obugagga bw'ekitiibwa kye bwe buli, okunywezebwa n'amaanyi mu Mwoyo gwe mu muntu ow'omunda.
17
Kristo atuulenga mu mitima gyammwe olw'okukkiriza; mubeerenga n'emmizi, munywezebwenga mu kwagala,
18
mulyoke muweebwe amaanyi okukwatanga n'amagezi awamu n'abatukuvu bonna obugazi n'obuwanvu n'obugulumivu n'okugenda wansi bwe biri,
19
n'okutegeera okwagala kwa Kristo okusinga okutegeerwa, mulyoke mujjulire ddala n'okutuukirira kwonna okwa Katonda.
20
Kale oyo ayinza okukola ennyo okusingira ddala byonna bye tusaba oba bye tulowooza, ng'amaanyi bwe gali agakolera mu ffe,
21
aweebwenga ekitiibwa mu kkanisa ne mu Kristo Yesu okutuusa emirembe n'emirembe egitaggwaawo. Amiina.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6