bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Ephesians 4
Ephesians 4
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 5 →
1
Kyenva mbeegayirira nze omusibe mu Mukama waffe okutambulanga nga bwe kusaanira okuyitibwa kwe mwayitibwa,
2
n'obukkakkamu bwonna n'obuwombeefu, n'okugumiikiriza, nga muzibiikirizagananga mu kwagalana,
3
nga munyiikiranga okwekuuma obumu bw'Omwoyo mu kusibibwa n'emirembe.
4
Omubiri guli gumu, n'Omwoyo omu, era nga nammwe bwe mwayitibwa mu kusuubira okumu okw'okuyitibwa kwammwe;
5
Mukama waffe omu, okukkiriza kumu, okubatiza kumu,
6
Katonda omu, Kitaawe wa bonna, afuga byonna, ayita mu byonna, era ali mu byonna.
7
Naye buli muntu mu ffe yaweebwa ekisa ng'ekigera ky'ekirabo kya Kristo bwe kiri.
8
Kyava ayogera nti, “Bwe yalinnya waggulu, n'anyaga okunyaga, N'awa abantu ebirabo.”
9
(Naye ekigambo ekyo nti, “Yalinnya,” kitegeeza ki wabula okugamba nti era yakka mu njuyi eza wansi ez'ensi?
10
Eyakka era ye wuuyo eyalinnya waggulu ennyo okusinga eggulu lyonna, alyoke ajjuze byonna).
11
Era oyo n'awa abalala okubeera abatume, n'abalala bannabbi, n'abalala ababuulizi, n'abalala abalunda n'abayigiriza.
12
Olw'okuteekateeka abatukuvu, olw'omulimu ogw'okuweereza, n'olw'okuzimba omubiri gwa Kristo,
13
okutuusa lwe tulituuka fenna mu bumu obw'okukkiriza, n'obw'okutegeera Omwana wa Katonda, lwe tulituuka okuba omuntu omukulu okutuuka mu kigera eky'obukulu obw'okutuukirira kwa Kristo.
14
Tulemenga okubeera nate abaana abato, nga tuyuugana nga tutwalibwanga buli mpewo ey'okuyigiriza, mu bukuusa bw'abantu, mu nkwe, olw'okugoberera okuteesa okw'obulimba.
15
Naye, bwe twogeranga amazima mu kwagalana, tulyoke tukule okutuuka mu ye mu byonna, gwe mutwe, Kristo.
16
Mu oyo omubiri gwonna bwe gugattibwa obulungi ne gunywezebwa awamu buli nnyingo ng'ereeta ebyayo, ng'okukola mu kigera okwa buli kitundu bwe kuli, omubiri gweyongera okukula olw'okwezimba mu kwagalana.
17
Kyenva njogera kino ne ntegeeza mu Mukama waffe, mmwe mulemenga okutambula nate, era ng'ab'amawanga bwe batambula mu birowoozo byabwe ebitaliimu,
18
nga balina ekizikiza mu magezi gaabwe, nga baabooleddwa okuva mu bulamu bwa Katonda olw'obutategeera obuli mu bo, obuleetebwa okukakanyala okw'omutima gwabwe.
19
Baafuuka bakakanyanyavu, ne beewaayo mu bwenzi, okukolanga eby'obugwagwa bwonna mu kwegomba.
20
Naye mmwe temwayiga bwe mutyo Kristo;
21
nsuubira nga mwamuwulira, ne muyigirizibwa mu ye ng'amazima bwe gali mu Yesu.
22
Mweggyeko omuntu ow'edda agoberera embeera z'obulamu bwammwe ez'edda, eyayonooneka olw'okwegomba okw'obulimba;
23
era muzzibwe abaggya mu mwoyo ogw'ebirowoozo byammwe.
24
Mwambale omuntu omuggya, eyatondebwa mu kifaananyi kya Katonda mu butuukirivu ne mu butukuvu obw'amazima.
25
Kale mwambule obulimba, mwogerenga amazima buli muntu ne munne, kubanga tuli bitundu bya bannaffe fekka na fekka.
26
Musunguwalenga so temwonoonanga, enjuba eremenga okugwa nga mukyalina obusungu,
27
so temuwanga bbanga Setaani.
28
Eyabbanga alemenga okubba nate, naye waakiri afubenga, ng'akola ebirungi n'emikono gye, alyoke abeerenga n'eky'okumuwa eyeetaaga.
29
Buli kigambo ekivundu kireme okuvanga mu kamwa kammwe, naye ekirungi bwe kinaabangawo olw'okuzimba nga omuntu bwe yeetaaga, abawulira kibawenga ekisa.
30
So temunakuwazanga Mwoyo Mutukuvu owa Katonda, eyabateesaako akabonero okutuusa olunaku olw'okununulibwa.
31
Okukaawa kwonna n'obusungu n'obukambwe n'okukaayana n'okuvuma bibavengako, awamu n'ettima lyonna,
32
era mubeerenga n'obulungi mwekka na mwekka, abakwatibwa ekisa, nga musonyiwagananga, era nga Katonda bwe yabasonyiwa mu Kristo.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6