bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
John 1
John 1
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 2 →
1
Ku lubereberye waaliwo Kigambo, Kigambo n'aba awali Katonda, Kigambo n'aba Katonda.
2
Oyo yaliwo ku lubereberye awali Katonda.
3
Ebintu byonna byakolebwa ku bw'oyo; era awataali ye tewaali kintu na kimu ekyakolebwa.
4
Obulamu bwali mu ye; obulamu ne buba omusana gw'abantu.
5
Omusana ne gwaka mu kizikiza, so ekizikiza tekyagutegeera.
6
Waalabika omuntu, Katonda, gwe yatuma, erinnya lye Yokaana.
7
Oyo yajja ng'omujulirwa ategeeze eby'omusana, bonna balyoke bakkirize ku bubwe.
8
Oyo si ye musana, wabula omujulirwa ategeeza eby'omusana.
9
Waliwo omusana ogw'amazima ogwakira buli muntu, nga gujja mu nsi.
10
Yali mu nsi, ensi yakolebwa ku bubwe, era ensi teyamutegeera.
11
Yajja mu matwale ge, naye abaali mu matwale ge tebaamusembeza.
12
Naye bonna abaamusembeza yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda, be bakkiriza erinnya lye;
13
abataazaalibwa musaayi, newakubadde okwagala kw'omubiri, newakubadde okwagala kw'omuntu, naye abaazaalibwa Katonda.
14
Kigambo n'afuuka omubiri, n'abeerako gyetuli (ne tulaba ekitiibwa kye, ekitiibwa ng'ekyoyo eyazaalibwa omu yekka Kitaffe), ng'ajjudde ekisa n'amazima.
15
Yokaana n'amutegeeza ng'ayogerera waggulu nti, “Oyo gwe nnagamba nti ‘Ajja oluvannyuma lwange ansinga nze, kubanga ye yali wa lubereberye ku nze.’ ”
16
Kubanga ku kujjula kwe fenna twaweebwa, ekisa ekyeyongera ku kisa.
17
Kubanga amateeka gaaweebwa nga gayita mu Musa; ekisa n'amazima byajja nga biyita mu Yesu Kristo.
18
Tewali eyali alabye ku Katonda wonna wonna; Omwana eyazaalibwa omu yekka, abeera mu kifuba kya Kitaffe oyo ye yategeeza bwali.
19
Buno bwe bujulirwa bwa Yokaana bwe yategeeza Abayudaaya abaava e Yerusaalemi bwe baamutumira bakabona n'Abaleevi okumubuuza nti, “Ggwe ani?”
20
N'ayatula, n'ateegaana; nnabategeeza nti, “Si nze Kristo.”
21
Ne bamubuuza nti, “Kale ggwe ani? Ggwe Eriya?” N'agamba nti, “Si nze ye.” “Ggwe nnabbi oli?” N'addamu nti, “Nedda.”
22
Awo ne bamugamba nti, “Ggwe ani? Tulyoke tuddemu abatutumye. Weeyita ani?”
23
Yokaana n'abaddamu nti, “Nze ndi ddoboozi ly'omuntu ayogerera waggulu mu ddungu nti Muluŋŋamye oluguudo lwa Mukama, nga nnabbi Isaaya bwe yayogera.”
24
Abaatumibwa baali ba mu Bafalisaayo.
25
Ne bamubuuza, ne bamugamba nti, “Oba ggwe toli Kristo, oba Eriya, oba nnabbi oli, kale kiki ekikubatizisa?”
26
Yokaana n'abaddamu, ng'agamba nti, “Nze mbatiza na mazzi: wakati mu mmwe wayimiridde omuntu gwe mutamanyi,
27
ajja oluvannyuma lwange, so nange sisaanira kusumulula lukoba lwa ngatto ye.”
28
Ebyo byakolerwa Bessaniya, emitala wa Yoludaani, Yokaana gye yabatirizanga.
29
Olunaku olwokubiri Yokaana n'alaba Yesu ng'ajja gy'ali, n'agamba nti, “Laba, Omwana gw'endiga gwa Katonda, aggyawo ebibi by'ensi!
30
Ye wuuyo gwe nnayogerako nti, ‘Emabega wange ejjayo omuntu ansinga: kubanga ye yali ow'olubereberye ku nze.’
31
Nange saamumanya: naye nze najja nga mbatiza na mazzi, ye alyoke ayolesebwe eri Isiraeri.”
32
Yokaana n'abategeeza ng'agamba nti, “Nnalaba Omwoyo ng'ava mu ggulu ng'ejjiba; n'abeera ku ye.
33
Nange saamumanya; naye yantuma kubatiza na mazzi, ye yaŋŋamba nti, ‘Ggw'oliraba Omwoyo ng'akka ng'abeera ku ye, oyo ye abatiza n'Omwoyo Omutukuvu.’
34
Nange ne ndaba, era mbakakasa nti oyo ye Mwana wa Katonda.”
35
Olunaku olwaddirira nate Yokaana yali ayimiridde n'abamu ku bayigirizwa be babiri;
36
n'atunuulira Yesu ng'atambula, n'agamba nti, “Laba, Omwana gw'endiga owa Katonda!”
37
Abayigirizwa abo ababiri ne bawulira ng'ayogera, ne bagoberera Yesu.
38
Yesu n'akyuka n'abalaba nga bamugoberera, n'abagamba nti, “Munoonya ki?” Ne bamugamba nti, “Labbi” (amakulu gaakyo nti Omuyigiriza), “osula wa?”
39
N'abagamba nti, “Mujje, munaalabawo.” Ne bajja ne balaba w'asula; ne basula ewuwe olunaku olwo: obudde bwali nga ssaawa ya kkumi (10).
40
Andereya, muganda wa Simooni Peetero, ye omu ku bali ababiri abaawulira Yokaana ng'ayogera, ne bamugoberera.
41
Ye n'asooka okulaba muganda we ye Simooni, n'amugamba nti, “Tulabye Kristo,” amakulu gaakyo nti Eyafukibwako amafuta.
42
N'amuleeta eri Yesu. Yesu n'amutunuulira, n'agamba nti, “Ggwe Simooni omwana wa Yokaana: onooyitibwanga Keefa,” (amakulu gaalyo nti Peetero, eritegeeza nti Olwazi).
43
Olunaku olwaddako Yesu n'asalawo okugenda e Ggaliraaya, n'asanga Firipo, n'amugamba nti, “Ngoberera.”
44
Naye Firipo yali w'e Besusayida, mu kibuga kya Andereya ne Peetero.
45
Firipo n'alaba Nassanayiri n'amugamba nti, “Tulabye oyo Musa gwe yawandiikako mu mateeka ne bannabbi, Yesu, omwana wa Yusufu, ow'e Nazaaleesi.”
46
Nassanayiri n'amugamba nti, “Mu Nazaaleesi muyinza okuvaamu ekintu ekirungi?” Firipo n'amugamba nti, “Jjangu olabe.”
47
Yesu n'alaba Nassanayiri ng'ajja gy'ali, n'amwogerako nti, “Laba Omuisiraeri wawu, ataliimu bukuusa!”
48
Nassanayiri n'amugamba nti, “Wantegeerera wa?” Yesu n'addamu n'amugamba nti, “Firipo bw'abadde tannakuyita, bw'obadde mu mutiini, ne nkulaba.”
49
Nassanayiri n'amuddamu nti, “Labbi, ggwe Mwana wa Katonda; ggwe Kabaka wa Isiraeri.”
50
Yesu n'addamu n'amugamba nti, “Kubanga nkugambye nti nkulabye mu mutiini okkirizza? Oliraba ebikulu okukira ebyo.”
51
N'amugamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Muliraba eggulu nga libikkuse, ne bamalayika ba Katonda nga balinnya era nga bakkira ku Mwana w'omuntu.”
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21