bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
John 19
John 19
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 20 →
1
Awo Piraato n'alyoka atwala Yesu n'amukuba emiggo.
2
Basserikale ne baluka engule y'amaggwa, ne bagimutikkira ku mutwe, ne bamwambaza olugoye olw'effulungu;
3
ne bajja w'ali ne bagamba nti, “Mirembe, Kabaka w'Abayudaaya!” Ne bamukuba empi.
4
Piraato n'afuluma nate ebweru, n'abagamba nti, “Laba mmufulumya ebweru we muli, mutegeere nga siraba musango ku ye.”
5
Awo Yesu n'afuluma, ng'atikkiddwa engule ey'amaggwa, era ng'ayambadde n'olugoye olw'effulungu. Piraato n'abagamba nti, “Laba omuntu oyo!”
6
Awo bakabona abakulu n'abaweereza bwe baamulaba, ne boogerera waggulu nga bagamba nti, “Komerera, komerera.” Piraato n'abagamba nti, “Mumutwale mmwe mumukomerere, kubanga nze siraba musango ku ye.”
7
Abayudaaya ne bamuddamu nti, “Ffe tulina etteeka n'olw'etteeka eryo agwanidde okufa, kubanga yeefuula Omwana wa Katonda.”
8
Awo Piraato bwe yawulira ekigambo ekyo, ne yeeyongera okutya;
9
n'ayingira nate mu kigango, n'agamba Yesu nti, “Oli wa wa?” Naye Yesu n'atamuddamu.
10
Awo Piraato n'amugamba nti, “Toyogera nange? Tomanyi nga nnina obuyinza obw'okukuta, era nnina obuyinza obw'okukukomerera?”
11
Yesu n'amuddamu nti, “Tewandibadde na buyinza bwonna ku nze, singa tebwakuweebwa okuva waggulu; ampaddeyo gy'oli kyavudde abeera n'ekibi ekisinga.”
12
Okusookera awo Piraato n'asala amagezi okumuta: naye Abayudaaya ne boogerera waggulu nga bagamba nti, “Bw'onoomuta oyo nga toli mukwano gwa Kayisaali: buli muntu yenna eyeefuula kabaka awakanya Kayisaali.”
13
Awo Piraato bwe yawulira ebigambo ebyo n'afulumya Yesu ebweru, n'atuula ku ntebe ey'emisango mu kifo ekiyitibwa Amayinja Amaaliire, naye mu Lwebbulaniya Gabbasa.
14
Lwali lunaku lwa kuteekateeka Okuyitako: zaali nga ziri essaawa mukaaga. N'agamba Abayudaaya nti, “Laba Kabaka wammwe!”
15
Awo bo ne boogerera waggulu nti, “Muggyeewo, muggyeewo mukomerere.” Piraato n'abagamba nti, “Nnaakomerera Kabaka wammwe?” Bakabona abakulu ne baddamu nti, “Tetulina kabaka wabula Kayisaali.”
16
Awo Piraato n'alyoka abawa Yesu okumukomerera. Awo ne batwala Yesu:
17
n'afuluma, nga yeetisse yekka omusaalaba gwe, n'atuuka mu kifo ekiyitibwa Ekyekiwanga, ekiyitibwa mu Lwebbulaniya Gologoosa.
18
Ne bamukomererera ku musaalaba mu kifo ekyo, era ne bakomerera n'abalala babiri wamu naye, eruuyi n'eruuyi, nga Yesu ali wakati.
19
Ne Piraato n'awandiika ebbaluwa n'agissa ku musalaba, ng'ewandiikiddwa nti, “YESU Omunazaaleesi KABAKA w'Abayudaaya.”
20
Awo ebbaluwa eyo bangi ku Bayudaaya ne bagisoma: kubanga ekifo kye baakomereramu Yesu kyali kumpi n'ekibuga: era yawandiikibwa mu Lwebbulaniya, ne mu Luyonaani, ne mu Luruumi.
21
Awo bakabona abakulu b'Abayudaaya ne bagamba Piraato nti, “Towandiika nti Kabaka w'Abayudaaya; naye nti oyo eyayogera nti Nze Kabaka w'Abayudaaya.”
22
Piraato n'addamu nti, “Kye mpandiise kye mpandiise.”
23
Awo basserikale bwe baamala okukomerera Yesu, ne batwala ebyambalo bye, ne bateeka emiteeko ena, buli sserikale muteeko; n'ekkanzu ye: n'ekkanzu ye teyatungwa, yalukibwa bulukibwa yonna okuva waggulu.
24
Ne bagamba bokka na bokka nti, “Tuleme okugiyuzaamu, naye tugikubire akalulu, tulabe anaaba nnyiniyo,” ekyawandiikibwa kituukirire, ekyogera nti, “Bagabana ebyambalo byange, Era bakubira akalulu eky'okwambala kyange.” Awo basserikale ne bakola ebyo.
25
Naye awo awali omusaalaba gwa Yesu waali wayimiridde nnyina, ne muganda wa nnyina, Malyamu muka Kuloopa, ne Malyamu Magudaleene.
26
Awo Yesu bwe yalaba nnyina, n'omuyigirizwa gwe yali ayagala ng'ayimiridde kumpi, n'agamba nnyina nti, “Omukyala, laba, omwana wo!”
27
Oluvannyuma n'agamba omuyigirizwa nti, “Laba nnyoko.” Awo okuva mu ssaawa eyo omuyigirizwa oyo n'atwala nnyina eka ewuwe.
28
Oluvannyuma lw'ebyo, Yesu bwe yamanya nti kaakano ebigambo byonna bimaze okutuukirira, olw'okwagala okutuukiriza ebyawandiikibwa, n'agamba nti, “Nnina ennyonta.”
29
Waali wateekeddwawo ekibya ekijjudde omwenge omukaatuufu: awo ne bassa ku ezobu ekisuumwa ekijjudde omwenge omukaatuufu, ne bakitwala ku mumwa gwe.
30
Awo Yesu bwe yamala okuweebwa omwenge, n'agamba nti, “Kiwedde,” n'akutamya omutwe gwe, n'awaayo omwoyo gwe.
31
Awo Abayudaaya, kubanga lwali lunaku lwa Kuteekateeka, emirambo gireme okubeera ku musaalaba ku lunaku lwa Ssabbiiti (kubanga olunaku lwa ssabbiiti eyo lwali lukulu) ne basaba Piraato okubamenya amagulu gaabwe, balyoke baggibweko.
32
Awo basserikale ne bajja, ne basookera ku omu ne bamumenya amagulu, n'omulala eyakomererwa naye:
33
naye bwe bajja eri Yesu, ne balaba ng'amaze okufa, ne batamumenya magulu:
34
naye sserikale omu n'amufumita mu mbiriizi ze n'effumu, amangu ago ne muvaamu omusaayi n'amazzi.
35
Naye eyalaba n'ategeeza n'okutegeeza kwe kwa mazima: era oyo amanyi ng'ayogera amazima, nammwe mulyoke mukkirize.
36
Kubanga ebyo byabaawo, ekyawandiikibwa kituukirire nti, “Talimenyebwa ggumba.”
37
Era nate ekyawandiikibwa ekirala kigamba nti, “Balimulaba gwe baafumita.”
38
Awo oluvannyuma lw'ebyo Yusufu ow'e Alimasaya, eyali omuyigirizwa wa Yesu, naye mu kyama olw'okutya Abayudaaya, ne yeegayirira Piraato okuggya omulambo gwa Yesu ku musaalaba: awo Piraato n'akkiriza. Yusufu n'ajja, n'aggyako omulambo gwa Yesu.
39
Ne Nikoodemo n'ajja (eyasooka okujja gy'ali ekiro), ng'aleese ebitabule eby'envumbo ne akaloosi, obuzito bwabyo laateri nga kikumi (100).
40
Awo ne batwala omulambo gwa Yesu, ne baguzinga mu ngoye z'ekitaani wamu n'eby'akaloosa ebyo, ng'empisa y'Abayudaaya ey'okuziika bwe yali.
41
Awo mu kifo we yakomererwa waaliwo olusuku ne mu lusuku mwalimu entaana empya etannaba kuteekebwamu muntu.
42
Awo kubanga lwali lunaku lwa Kuteekateeka okw'Abayudaaya (era kubanga entaana yali kumpi) ne bassa omwo Yesu.
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 20 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21