bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
John 5
John 5
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 6 →
1
Oluvannyuma lw'ebyo ne waba embaga y'Abayudaaya; Yesu n'ayambuka e Yerusaalemi.
2
Naye mu Yerusaalemi awali omulyango gw'endiga waaliwo ekidiba, kye baayita mu Lwebbulaniya Besesuda, nga kiriko ebigango bitaano.
3
Mu bigango ebyo mwagalamirangamu abalwadde bangi nnyo, abazibe b'amaaso, abalema, abakoozimbye, [nga balindirira amazzi okubimba:
4
kubanga malayika yakkanga mu kidiba mu biseera ebimu n'abimbisa amazzi: oyo eyasookanga okukkamu, ng'amazzi gamaze okubimba, yawonanga obulwadde bwe yabanga nabwo.]
5
Waaliwo omuntu eyali n'endwadde nga yaakamala emyaka asatu mu munaana (38).
6
Yesu bwe yalaba oyo ng'agalamidde, n'ategeera nga yaakamala ennaku nnyingi, n'amugamba nti, “Oyagala okuba omulamu?”
7
Omulwadde n'amuddamu nti, “Ssebo, sirina muntu ansuula mu kidiba amazzi we geeserera, nze we njijira, omulala ng'ansoose okukkamu.”
8
Yesu n'amugamba nti, “Golokoka, weetikke ekitanda kyo, otambule.”
9
Amangu ago omuntu n'aba mulamu ne yeetikka ekitanda kye, n'atambula. Naye olunaku olwo lwali lwa ssabbiiti.
10
Awo Abayudaaya ne bamugamba oyo awonyezebbwa nti, “Leero ssabbiiti, kya muzizo ggwe okwetikka ekitanda kyo.”
11
Naye n'abaddamu nti, “Oli amponyezza ye yaŋŋambye nti Weetikke ekitanda kyo otambule.”
12
Ne bamubuuza nti, “Omuntu oyo ye ani eyakugambye nti, Weetikke ekitanda kyo otambule?”
13
Naye eyawonyezebwa yali tamanyi Yesu, kubanga Yesu yali amaze okugenda, ate nga abantu abaali mu kifo kiri nga bangi.
14
Oluvannyuma lw'ebyo Yesu n'amulaba mu Yeekaalu, n'amugamba nti, “Laba, oli mulamu; toyonoonanga nate, ekigambo ekisinga obubi kireme okukubaako.”
15
Omuntu oyo n'agenda n'abuulira Abayudaaya nti, “Yesu ye yamponya.”
16
Awo Abayudaaya kyebaava bayigganya Yesu kubanga yakolera ebyo ku ssabbiiti.
17
Naye Yesu n'abaddamu nti, “Kitange akola okutuusa kaakano, nange nkola.”
18
Awo Abayudaaya kyebaava beeyongera okusala amagezi okumutta kubanga tasobezza ssabbiiti yokka, era naye yayita Katonda kitaawe, nga yeefuula eyenkanankana ne Katonda.
19
Awo Yesu n'addamu n'abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti Omwana tayinza kukola kintu ku bubwe, bw'atalabira ku Kitaawe ng'akola; kubanga Kitaawe by'akola byonna, n'Omwana by'akola.
20
Kubanga Kitange ayagala Omwana, amulaga byonna by'akola yennyini; era alimulaga n'emirimu eminene egisinga egyo mmwe mwewuunye.
21
Kubanga Kitange bw'azuukiza abafu n'abawa obulamu, bw'atyo n'Omwana abawa obulamu bonna b'ayagala okuwa.
22
Kubanga Kitange n'okusala tasalira muntu musango, naye yawa Omwana okusala emisango gyonna;
23
bonna bassengamu Omwana ekitiibwa, nga bwe bassaamu Kitange ekitiibwa. Atassaamu Mwana kitiibwa, nga tassaamu kitiibwa Kitaawe eyamutuma.
24
Ddala ddala mbagamba nti Awulira ekigambo kyange, n'akkiriza oyo eyantuma, alina obulamu obutaggwaawo, so talijja mu musango, naye ng'avudde mu kufa okutuuka mu bulamu.
25
Ddala ddala mbagamba nti Ekiseera kijja era weekiri kaakano abafu lwe baliwulira eddoboozi ly'Omwana wa Katonda, n'abo abaliwulira baliba balamu.
26
Kuba nga Kitange bw'alina obulamu mu ye, bw'atyo bwe yawa Omwana okuba n'obulamu mu ye;
27
era yamuwa obuyinza okusala omusango, kubanga ye Mwana w'omuntu.
28
Temwewuunya ekyo; kubanga ekiseera kijja bonna abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye,
29
ne bavaamu; abo abaakolanga ebirungi balizuukirira obulamu; n'abo abaakolanga ebitasaana balizuukirira omusango.”
30
“Nze siyinza kukola kintu ku bwange: nga bwe mpulira, bwe nsala: n'omusango gwe nsala gwa nsonga; kubanga sinoonya bye njagala nze, wabula eyantuma by'ayagala.
31
Bwe nneewaako obujulirwa, obujulirwa bwange tebuba bwa mazima.
32
Waliwo omulala ampaako obujulirwa, era mmanyi nti obujulirwa bw'ampaako bwa mazima.
33
Mmwe mwatumira Yokaana ababaka naye n'akakasa amazima.
34
Si lwa kuba njagala obujulirwa bw'omuntu, naye njogera ebyo mmwe mulokoke.
35
Oyo yali ttabaaza eyaka, emasamasa, nammwe mwayagala okumala ekiseera kitono nga musanyukira mu kitangaala kye.
36
Naye obujulirwa bwe nnina bwe bukulu okusinga obwa Yokaana: kubanga emirimu Kitange gye yampa okutuukiriza, emirimu egyo gyennyini gye nkola, era gye gijulira nga Kitange ye yantuma.
37
Era Kitange eyantuma oyo yajulira ebyange. Eddoboozi lye temuliwulirangako n'akatono, newakubadde okulaba ekifaananyi kye.
38
Era n'ekigambo kye tekibeera mu mmwe: kubanga oyo gwe yatuma temumukkiriza.
39
Munoonya mu byawandiikibwa, kubanga mmwe mulowooza nti mu byo mulina obulamu obutaggwaawo; n'ebyo bye bitegeeza ebyange;
40
era temwagala kujja gye ndi okubeera n'obulamu.
41
Siweebwa bantu kitiibwa.
42
Naye mbategedde mmwe ng'okwagala kwa Katonda tekubaliimu.
43
Nze najja mu linnya lya Kitange, naye temunsembezza; omulala bw'alijja mu linnya lye ku bubwe mulimusembeza.
44
Mmwe muyinza mutya okukkiriza bwe mwagala okuweebwa ekitiibwa mwekka na mwekka ne mutanoonya kitiibwa ekiva eri Katonda ali omu yekka?
45
Temulowooza nti nze ndibaloopa eri Kitange: gyali abaloopa, ye Musa gwe musuubira.
46
Kuba singa mukkiriza Musa, nange mwandinzikirizza; kubanga oyo yampandiikako.
47
Naye bwe mutakkiriza oyo bye yawandiika, mulikkiriza mutya ebigambo byange?”
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21