bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
John 4
John 4
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 5 →
1
Awo Mukama waffe Yesu bwe yategeera nga Abafalisaayo bawulidde nti ayigiriza era abatiza bangi okusinga Yokaana,
2
(naye Yesu yennyini teyabatiza, wabula abayigirizwa be),
3
n'ava mu Buyudaaya, n'addayo e Ggaliraaya.
4
Era kyamugwanira okuyita mu Samaliya.
5
Awo n'atuuka mu kibuga eky'e Samaliya kye bayita Sukali, ekiriraanye olusuku Yakobo lwe yawa omwana we Yusufu.
6
Mwalimu oluzzi lwa Yakobo. Awo Yesu yali akooye olw'olugendo, n'amala gatuula awo ku luzzi, obudde zaali nga ssaawa mukaaga.
7
Omukazi Omusamaliya n'ajja okusena amazzi, Yesu n'amugamba nti, “Mpa ku mazzi nnyweko.”
8
Kubanga abayigirizwa be baali bagenze mu kibuga okugula emmere.
9
Awo omukazi Omusamaliya n'amugamba nti, “Ggwe Omuyudaaya, kiki ekikusabya nze omukazi Omusamaliya amazzi okunywa?” (Kubanga Abayudaaya nga tebatabagana na Basamaliya).
10
Yesu n'addamu n'amugamba nti, “Singa obadde omanyi ekirabo kya Katonda n'oyo akugamba nti Mpa nnywe bw'ali, ggwe wandimusabye, naye yandikuwadde amazzi amalamu.”
11
Omukazi n'amugamba nti, “Ssebo, tolina kya kusenya, n'oluzzi luwanvu; kale oggya wa amazzi ago amalamu?
12
Ggwe oli mukulu okukira jjajjaffe Yakobo, eyatuwa oluzzi luno, eyanywangamu ye n'abaana be n'ensolo ze?”
13
Yesu n'addamu n'amugamba nti, “Buli muntu yenna anywa amazzi gano ennyonta erimuluma nate,
14
naye anywa amazzi ago nze ge ndimuwa ennyonta terimulumira ddala emirembe gyonna; naye amazzi ge ndimuwa ganaafuukanga munda mu ye ensulo y'amazzi nga gakulukuta okutuuka ku bulamu obutaggwaawo.”
15
Omukazi n'amugamba nti, “Ssebo, mpa amazzi ago, ennyonta ereme okunnumanga, n'okukoma nkome okutambula olugendo luno lwonna okujjanga wano okusena amazzi.”
16
Yesu n'amugamba nti, “Genda oyite balo, okomewo wano.”
17
Omukazi n'addamu n'amugamba nti, “Sirina baze.” Yesu n'amugamba nti, “Oyogedde bulungi nti Sirina baze;
18
kubanga walina ba balo bataano, naye gw'olina kaakano si balo; ekyo ky'oyogedde mazima.”
19
Omukazi n'amugamba nti, “Ssebo, ndaba nti oli nnabbi.
20
Bajjajjaffe baasinzizanga ku lusozi luno; nammwe mugamba nti Yerusaalemi kye kifo ekigwana okusinzizangamu.”
21
Yesu n'amugamba nti, “Omukyala, nzikiriza, ekiseera kijja kye batalisinzizangamu Kitaffe ku lusozi luno newakubadde mu Yerusaalemi.
22
Mmwe musinza kye mutamanyi; ffe tusinza kye tumanyi; kubanga obulokozi buva mu Buyudaaya.
23
Naye ekiseera kijja, era kituuse, abasinza amazima lwe banaasinzizanga Kitaffe mu mwoyo n'amazima, kubanga Kitaffe anoonya abali ng'abo okubeera ab'okumusinzanga.
24
Katonda gwe Mwoyo; n'abo abamusinza kibagwanira okusinzizanga mu mwoyo n'amazima.”
25
Omukazi n'amugamba nti, “Mmanyi nga Kristo ajja (gwe bayita Eyafukibwako amafuta), ye bw'alijja alitubuulira ebigambo byonna.”
26
Yesu n'amugamba nti, “Nze nzuuno ayogera naawe.”
27
Amangu ago abayigirizwa be ne bajja; ne beewuunya kubanga abadde ayogera n'omukazi, naye tewali muntu eyabuuza omukazi nti, “Onoonya ki?” Oba eyabuuza Yesu nti, “Kiki ekikwogeza naye?”
28
Awo omukazi n'aleka ensuwa ye, n'agenda mu kibuga, n'abuulira abantu nti,
29
“Mujje mulabe omuntu aŋŋambye bye nnakolanga byonna; ayinza okuba nga ye Kristo?”
30
Ne bava mu kibuga, ne bagenda Yesu gye yali.
31
Mu kiseera ekyo abayigirizwa baali nga bamwegayirira nga bagamba nti, “Labbi, lya ku mmere.”
32
Naye n'abagamba nti, “Nnina eky'okulya kye ndya kye mutamanyi.”
33
Awo abayigirizwa ne boogera bokka na bokka nti, “Waliwo omuntu amuleetedde eky'okulya?”
34
Yesu n'abagamba nti, “Eky'okulya kyange kwe kukolanga eyantuma by'ayagala n'okutuukiriza omulimu gwe.
35
Mmwe temwogera nti Esigaddeyo emyezi ena okukungula kulyoke kutuuke? Laba, mbagamba nti Muyimuse amaaso mulabe ennimiro nga zimaze okutukula okukungulibwa.
36
Akungula aweebwa empeera, n'akuŋŋaanya ebibala olw'obulamu obutaggwaawo; asiga n'akungula basanyukire wamu.
37
Kubanga ekigambo kino bwe kiri bwe kityo eky'amazima nti, ‘Asiga mulala, n'akungula mulala.’
38
Nze nnabatuma okukungula kye mutaatengejjera; abalala baakola emirimu, nammwe muyingidde emirimu gyabwe.”
39
Ab'omu kibuga omwo Abasamaliya bangi ku bo abaamukkiriza olw'ekigambo ky'omukazi, eyategeeza nti Aŋŋambye bye nnakolanga byonna.
40
Awo Abasamaliya bwe baatuuka w'ali ne bamwegayirira abeere nabo; n'asulayo ennaku bbiri.
41
Bangi nnyo ne beeyongera okukkiriza olw'ekigambo kye,
42
ne bagamba omukazi nti, “Kaakano tukkiriza, si lwa kwogera kwo kwokka: kubanga twewuliridde fekka, n'okutegeera tutegedde nga mazima ono ye Mulokozi w'ensi.”
43
Ennaku ezo ebbiri bwe zaayitawo, n'avaayo n'agenda e Ggaliraaya.
44
Kubanga Yesu yennyini yategeeza nti, “Nnabbi mu nsi y'ewaabwe tebamussaamu kitiibwa.”
45
Awo bwe yatuuka e Ggaliraaya, Abagaliraaya ne bamusembeza, bwe baalaba byonna bye yakolera e Yerusaalemi ku mbaga, kubanga nabo baagenda ku mbaga.
46
Awo n'ajja nate e Kaana eky'e Ggaliraaya, gye yafuulira amazzi envinnyo. Era yaliyo omukungu wa kabaka, eyalina omwana we omulenzi yali alwalidde mu Kaperunawumu.
47
Oyo bwe yawulira nti Yesu avudde e Buyudaaya ng'atuuse e Ggaliraaya, n'ajja gy'ali, n'amwegayirira aserengete awonye omwana we; kubanga yali ng'agenda kufa.
48
Awo Yesu n'amugamba nti, “Bwe mutaliraba bubonero n'eby'amagero temulikkiriza n'akatono.”
49
Omukungu n'amugamba nti, “Ssebo, serengeta akaana kange nga tekannaba kufa.”
50
Yesu n'amugamba nti, “Genda; omwana wo mulamu.” Omuntu oyo n'akkiriza ekigambo Yesu ky'amugambye, n'agenda.
51
Bwe yali ng'akyaserengeta, abaddu be ne bamusisinkana ne boogera nti, “Omwana we mulamu.”
52
Awo n'ababuuliriza essaawa mwe yassuukidde. Awo ne bamugamba nti, “Jjo obudde nga ssaawa ya musanvu omusujja ne gumuwonako.”
53
Awo kitaawe n'ategeera nti mu ssaawa eyo Yesu mwe yamugambira nti, “Omwana wo mulamu;” ye n'akkiriza n'ennyumba ye yonna.
54
Kano ke kabonero ak'okubiri Yesu ke yakola ng'akomyewo e Buyudaaya okuva e Ggaliraaya.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21