bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
John 2
John 2
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 3 →
1
Olunaku olwokusatu, ne waba embaga ey'obugole mu Kaana eky'e Ggaliraaya; ne nnyina Yesu yaliwo.
2
Yesu n'abayigirizwa be nabo baali bayitiddwa ku mbaga.
3
Naye omwenge bwe gwaggwaawo, nnyina Yesu n'amugamba nti, “Tebalina nvinnyo.”
4
Yesu n'amugamba nti, “Omukyala, Onvunaana ki? Ekiseera kyange tekinnaba kutuuka.”
5
Nnyina n'agamba abaweereza nti, “Ky'anaabagamba kyonna, kye mukola.”
6
Waaliwo amasuwa ag'amayinja mukaaga, agaateekebwawo olw'empisa ey'okutukuza kw'Abayudaaya, buli limu nga livaamu ensuwa nga bbiri oba ssatu.
7
Yesu n'abagamba nti, “Mujjuze amasuwa amazzi.” Ne bagajjuza okutuusa ku migo.
8
N'abagamba nti, “Musene kaakano, mutwalire omugabuzi w'embaga.” Ne bamutwalira.
9
Awo omugabuzi w'embaga bwe yalega ku mazzi agafuuse envinnyo, n'atamanya gy'evudde (naye abaweereza abaasena amazzi baamanya), omugabuzi w'embaga n'ayita awasizza omugole,
10
n'amugamba nti, “Buli muntu asooka kussaawo nvinnyo nnungi; naye abantu bwe bakkuta, n'alyoka assaawo embi; naye ggwe oterese ennungi okutuusa kaakano.”
11
Kano ke kabonero Yesu ke yasookerako okukola mu Kaana eky'e Ggaliraaya, n'alabisa ekitiibwa kye; abayigirizwa be ne bamukkiriza.
12
Awo oluvannyuma lw'ekyo n'aserengeta e Kaperunawumu, ye ne nnyina ne baganda be n'abayigirizwa be; ne bamalayo ennaku ntonotono.
13
Okuyitako okw'Abayudaaya kwali kunaatera okutuuka, Yesu n'ayambuka e Yerusaalemi.
14
Mu Yeekaalu n'asangamu abatunda ente n'endiga n'enjibwa, n'abawaanyisa effeeza nga bali ku mirimu gyabwe.
15
Naddira emigwa n'agikozesa nga embooko, n'abagoba bonna mu Yeekaalu, n'agobamu endiga n'ente; n'ayiwa effeeza ez'abawaanyisa effeeza, n'avuunika n'emmeeza zaabwe.
16
N'agamba abaali batunda enjiibwa nti, “Muggyeewo ebintu bino; muleme kufuula nnyumba ya Kitange nnyumba ya busubuzi.”
17
Abayigirizwa be ne bajjukira nga kyawandiikibwa nti, “Obuggya bw'ennyumba yo bulindya.”
18
Awo Abayudaaya ne baddamu ne bamugamba nti, “Kabonero ki k'otwolesa akakukozesa bino?”
19
Yesu n'addamu n'abagamba nti, “Mumenye Yeekaalu eno, nange ndigizimbira ennaku ssatu.”
20
Awo Abayudaaya ne boogera nti, “Yeekaalu eno yazimbirwa emyaka ana mu mukaaga (46), naawe oligizimbira ennaku ssatu?”
21
Naye yayogera ku Yeekaalu ya mubiri gwe.
22
Awo bwe yazuukizibwa mu bafu, abayigirizwa be ne bajjukira nti yayogera ekyo; ne bakkiriza ebyawandiikibwa, n'ekigambo Yesu kye yayogera.
23
Awo bwe yali mu Yerusaalemi ku Kuyitako, ku mbaga, bangi ne bakkiriza erinnya lye, bwe baalaba obubonero bwe yakola.
24
Naye Yesu n'atabeeyabizaamu kubanga yategeera bonna,
25
era yali teyeetaaga muntu yenna okumutegeeza eby'abantu; kubanga ye yennyini yategeera ebyali mu bantu.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21