bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Zechariah 1
Zechariah 1
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 2 →
1
Mu mwezi ogw'omunaana, mu mwaka ogwokubiri ogw'obufuzi bwa Daliyo, ekigambo kya Mukama kyajja gy'ali Zekkaliya, omwana wa Berekiya, omwana wa Iddo, nnabbi, nga kyogera nti,
2
“Mukama yasunguwalira nnyo bajjajjammwe.
3
Naye kaakano bagambe nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Mudde gye ndi, bw'ayogera Mukama w'eggye, nange ndidda gye muli, bw'ayogera Mukama.
4
Temuba nga bajjajjammwe bannabbi ab'edda be baakoowoolanga nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, ‘Kale muve mu makubo gammwe amabi ne mu bikolwa byammwe ebibi,’ naye ne batampulira era ne batampuliriza.
5
Bajjajjammwe bali ludda wa? Ne bannabbi baba balamu emirembe gyonna?
6
Naye ebigambo byange n'amateeka gange, bye nnalagira abaddu bange, bannabbi, tebyabasanga bajjajjammwe? Ne bakyuka ne boogera nti Nga Mukama w'eggye bwe yalowooza okutukola ffe, ng'amakubo gaffe bwe gali n'ebikolwa byaffe nga bwe biri, bw'atyo bwe yatukola.”
7
Olunaku olw'abiri mu nnya, olw'omwezi ogw'ekkumi n'ogumu, gwe mwezi Sebati, mu mwaka ogwokubiri ogwo bufuzi bwa Daliyo, ekigambo kya Mukama kyajja eri Zekkaliya, omwana wa Berekiya, omwana wa Iddo, nnabbi, nga kyogera nti,
8
“N'atunula ekiro; era, laba, omuntu nga yeebagadde embalaasi ya lukunyu, era ng'ayimiridde wakati w'emiti emikadasi egyali mu kiwonvu; n'emabega we embalaasi, eza lukunyu n'eza kikuusikuusi n'enjeru.
9
Awo ne njogera nti, ‘Ayi mukama wange, ebyo biki?’ Malayika eyali ayogera nange n'aŋŋamba nti, ‘Naakwolesa ebyo bwe biri.’
10
Omuntu eyali ayimiridde wakati w'emikadasi n'addamu n'ayogera nti, ‘Ebyo Mukama by'atumye okutambulatambula ku nsi.’
11
Ne biddamu malayika wa Mukama eyali ayimiridde wakati w'emikadasi ne byogera nti, ‘Tutambuddetambudde ku nsi, era laba, ensi yonna eteredde ewummudde.’
12
Malayika wa Mukama n'addamu n'ayogera nti, ‘Ayi Mukama w'eggye, olituusa wa obutasaasira Yerusaalemi n'ebibuga bya Yuda, bye waakanyiikaalirira emyaka ensanvu (70)?’
13
Mukama n'addamu malayika eyali ayogera nange ebigambo ebirungi, ebigambo eby'essanyu.
14
Malayika eyali ayogerera nange n'aŋŋamba nti, ‘Yogerera waggulu ng'ogamba nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye; nkwatiddwa Yerusaalemi ne Sayuuni obuggya, obuggya obungi.
15
N'obusungu obungi nsunguwalidde amawanga abawummula; kubanga nze nnanyiigako katono, bo ne bongera ku kubonaabona okwo.’
16
Mukama kyava ayogera bw'ati nti, ‘Nkomyewo e Yerusaalemi n'ekisa; ennyumba yange erizimbibwa omwo, bw'ayogera Mukama w'eggye, n'omugwa gulireegebwa ku Yerusaalemi.’
17
Yogerera waggulu nate ng'ogamba nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Oliboolyawo ebibuga byange ne byanjaala olw'okulaba ebirungi; oliboolyawo Mukama n'asanyusa Sayuuni, oliboolyawo ne yeeroboza Yerusaalemi.’ ”
18
Ne nnyimusa amaaso gange ne ntunula; era, laba, amayembe ana.
19
Ne ŋŋamba malayika eyali ayogera nange nti, “ Ago maki?” N'anziramu nti, “Gano ge mayembe agaasaasaanya Yuda ne Isiraeri ne Yerusaalemi.”
20
Mukama n'anjolesa abaweesi bana.
21
Ne njogera nti, “ Abo bajja kukola ki?” N'ayogera nti, “Gano ge mayembe agaasaasaanya Yuda omuntu n'okuyimusa n'atayimusa mutwe gwe; naye bano bazze okugasaggula, okusuula amayembe g'amawanga agaayimusizanga ejjembe lyabwe ku nsi ya Yuda okugisaasaanya.”
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14